Janepher Mbabazi Kyomuhendo

Bisangiddwa ku Wikipedia

Janepher Mbabazi Kyomuhendo ( yazaalibwa nga: 24-Ogwekkuminebiri-1979) Munnayuganda mubazi wa bitabo era nga yaweereaako ng'omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y'e Kagadi[1] mu Paalamenti ya Uganda 10th. Yali ava mu kibiina kya National Resistance Movement (NRM).[2][3][4] Era yaddamu n'alondebwa mu kifo ky'omubaka Omukyala akiikirira Disitulikiti y'e Kagadi mu Paalamenti ya Uganda 10th.[5]

Obuto bwe n'emisomo gye[kyusa | edit source]

Janepher Mbabazi Kyomuhendo yasomera ku Nyakayojo Secondary School mu misomo gye egya Ordinary level era n'afuna Satifikeeti ye eya Uganda Certificate of Education mu 1996. Ebigezo bye eby'akamalirizo ebya Uganda Advanced Certificate of Education yabikolera ku Kinoni Girls School mu 1998. Oluvanyuma yeyongerayo ne misomo gye ku Yunivasite y'e Nkumba ng'eno gyefunira Diguli ye mu kukwasaganya bizinensi eya Bachelor of Business Administration mu 2004. N'oluvanyuma yeyongerayo nafuna Diguli ey'okubiri eya Master of Business Administration era ku Nkumba Yunivasite nga yagimaliriza mu 2009.

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Janepher Mbabazi Kyomuhendo yakola nga Maneja wa Kkamuni ya AIM Engineering (U) Ltd okuva mu 2005 - 2007. Yali omubalirizi w'ebitabo ow'omunda mu Ddwaliro ly'e Mengo Hospital okuva mu 2007 okutuusa 2009. Yafuuka maneja w'ebyensimbi n'enzirukanya mu Kkampuni ya AIM Engineering (U) Ltd okuva mu 2009 okutuusa 2012. Mu kkampuni ya ILISO Consulting (Pty) Ltd, yali Maneja era akwasaganya eby'ensimbi okuva mu 2012 okutuusa 2015. Yafuuka omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y'e Kgadi mu Paalamenti ya Uganda ey'ekkumi okuva mu 2016 okutuusa 2021.[6]

Mmemba ku kakiiko akakwasganya ensimbi za Gavumenti aka Committee of Public Accounts (Commissions, Statutory Authorities and State Enterprises-COSASE) Committee era yalondebwa okubeera memba ku kakiiko akakwasaganya okuzimba ebizimbe bya Gavumenti aka Physical Infrastructure committee.[3]

Ebirala by'eyakola[kyusa | edit source]

Yagaba entamu n'ensimbi eri ebibiina ebiwola n'okutereka ssente (SACCOS), yavujirira emizannyo gy'okubaka n'okusamba omupiira, yasasula ebisale by'abayizi 20 mu Ttendekero ly'ebyemikono, yagaba enkumbi, amasowaani, mu offiisi ya LC1 okukola ku mikolo gy'okukitundu, yagaba sikaala eri abayizi abaali baleebya bannabwe.

Laba na bino[kyusa | edit source]

  1. Olukala lw'aba mmemba ba Paalamenti ya Uganda ey'ekkuminemu
  2. National Resistance Movement
  3. Disitulikiti y'e Kagadi

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/parliament-grows-to-431-mps-1667592
  2. https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=512
  3. 3.0 3.1 "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2022-12-07. Retrieved 2024-03-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2021-08-03. Retrieved 2024-03-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. https://dailyexpress.co.ug/2021/01/19/full-list-mps-elected-in-uganda-2021/
  6. https://www.ec.or.ug/election/woman-member-parliament-kagadi-district