Jennifer Musisi

Bisangiddwa ku Wikipedia
Jump to navigation Jump to search

Jennifer Ssemakula Musisi munnamateeka omunnayuganda era omukozi wa Gavumenti. Ye mukulembeze w'ekibuga eyasooka okuva mu nteekateeka ya Bloomberg Harvard city leadership ku kitebe ky'essomero lya Harvard kennedy mu Cambrigde, Massachusetts, United States. Yalondebwa mu kifo kino mu Gatonnya wa 2019.


Yaweerezaako nga Nampala w'ekibuga kampala eyasooka.Yalonddebwa omukulembeze wa Uganda mu kifo kino mu Kafuumuulampawu wa 2011 nga kiddirira enkyukakyuka empya n'asikira kampala city council. yakwasibwa yaafeesi nga 15. kafuumuulampawu.2011. Nga 27. Kasambula. 2014, omukulembeze w'eggwanga yadda n'amulonda ku kisanja eky'okubiri okumala emyaka esatu ekyatandika nga 14. Kafuumuulampawu. 2014. Endagaano ye yazzibwa obuggya mu Kafuumuulampawu wa 2017 nga yali ya kutambula okuva nga 15.kafuumuulampawu 2017 okutuuka nga 14/Kafuumuulampawu.2020.

Wabula nga 15.10.218, yawaawo ebbaluwa esaba okuwummula nga Nampala w'ekibuga Kampala okuva nga 15.Ntenvu.2018


EBIMUKWATATAKO N'OKUSOMA KWE.

Musisi yazaalibwa mu Kampala mu kitundutundu ky'amasekkati ga Uganda mu kyaka gya 1960. Yasomera eddaala lya "O Level" ku Tororo Girls School mu Tororo Disiturikiti. Oluvannyuma yeegatta ku King's Collage Buddo mu Disiturikiti y'e Wakiso okumaliriza emyaka gye ebiri egyasembayo ku ddaala lye erya ssekendule (S5 - S6). Yava e Buddo mu 1982 nga y'asinze banne mu kibiina. Yakolako nga omumyuka w'akulira abayizi ku King's College Buddo.

M.[1][2]

Mu 1982, yayingira Ssettendekero ya Makerere University, Ssettendekero asinga obukulu mu Uganda gye yasomera amateeka. Yamaliriza Diguli ye eyasooka mu mateeka mu 1986 (LLB). Mu mwaka ogwaddako yafuna dipulooma mu by'enkwata y'amateeka okuva ku Law Development Centre mu Kampala, e kibuga kya Uganda ekikulu. Oluvannyuma yafuna diguli eyookubiri mu buweereza bwa gavumenti okuva ku Makerere University. Alina ebisaanyizo ebirala mu by'enzirukanya y'emirimu, emisoro, n'amateeka bye yafuna okuva ku matendekero agatali gamu nga kw'ogasse Harvard Law school ne Ssettendekero wa George Washington University mu United States. Olukala olujjuvu olw'ebisaanyizo n'okutendekebwa kwa musisi bye bino wammanga.

  • OBUYIGIRIZE N'EBISAANYIZO EBIRALALA.
  • Diguli eyookubiri mu Buweereza bwa gavumenti, Makerere University, Kampala, Uganda (1996 -1997)
  • Dipulooma mu nzirukanya y'amateeka, Law Development centre, Kampala Uganda (1985 -1986)
  • Diguli esooka mu mateeka, Makerere University, Kampala , Uganda (1982 -1985).
  1. Empty citation (help) 
  2. Empty citation (help)