Jump to content

Jennifer Nansubuga Makumbi

Bisangiddwa ku Wikipedia
Jennifer Nansubuga Makumbi

Jennifer Nansubuga Makumbi (eyazaalibwa mu gya 1960) munna Uganda nga asinzira mu British, omuwandiisi w'obutabo mu era muwandiisi w'emboozi ennyimpi.[1] Akatabo keyawandiika ku Diguli ye eyokusatu, The Kintu Saga, kaalondebwa okuba ku lukalala[2] era nekawangula Kwani? Manuscript Project mu 2013.[3] Kaafulumizibwa Kwani Trust mu 2014 wansi w'omutwe Kintu.[4][5][6] Emboozi ze enyimpi zeyayita, Manchester Happened, zafulumizibwa mu 2019.[7] Yalondebwa okuba ku lukalala lwa 2014 Commonwealth Short Story Prize olw'emboozi ye "Let's Tell This Story Properly",[8] nafundikira nga ye muwanguzi w'ettwale lya Afirika.[9] Yeyasukkuluma mubawanguzi ba 2014 Commonwealth Short Story Prize.[10][11] Yateekebwa ku lukalala olusoka mu 2014 Etisalat Prize for Literature.[12] Musomesa wa Creative Writing ku Lancaster University.[13] Mu 2018, yaweebwa engule ya Windham-Campbell Prize mu ttuluba ly'okukuba obufananyi mubutaliiwo.[14] Mu 2021, akatabo ke The First Woman kaawangula empaka za Jhalak Prize.

Abeera Manchester n'omwami we, Damian,nemutababi we, Jordan.[15]

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | edit source]

Jennifer Nansubuga Makumbi yazaalibwa era yakulira Kampala, Uganda. Ye mwana omukulu owa Anthony Kizito Makumbi kyokka nga wakusatu ewa Evelyn Nnakalembe. Bazadde be baayawukana nga wamyaka ebiri era yamala emyaka ebiri nga abeera ne jjajja we omusajja Elieza Makumbi. Ku mulembe gwa Idi Amin, taata we, omukozi wa bbanka, yakwaatibwa naayisibwa bubi nnyo. Newankubadde nga yataasibwa okuttibwa, yafuna obuzibu ku bwongo bwe ekyamuliko ennaku zonna ez'obulamu bwe. Makumbi yakuzibwa ssenga we, Catherine Makumbi-Kulubya. Yawangaala ne famile ye okusooka e Nakasero, ate oluvanyuma nadda e Kololo.

O-level yagisomera ku Trinity College Nabbingo ate A' level ku King's College Budo. Yakola diguli ye esooka mu by'enjigiriza nga yanweza nnyo okusomesa Oluzungu ne Literature mu Luganda okuva ku Islamic University Mu Uganda, ng'eno yakola ku university magazine, eyitibwa The IUIU Mirror. Makumbi yatandikira Nakasero High okusomesa, essomero lya A-level yokka, oluvanyuma yasomesa emyaka munaana ku Hillside High School, essomero mu Uganda erisomesa abaana okuva munsi yonna.

Ebiseera ebyo yawandiika omuzannyo, Sitaani Teyebase, mu Luganda ogwazanyibwa mu mpaka za inter-zone competition. Omuzannyo guno gwegwasinga mu mpaka era negutambula mu makanisa mangi ag'abaseveniside mu Kampala.

Mu mwezi gwa Mutunda wa 2001, yegatta ku Manchester Metropolitan University okukola diguli ye ey'okubiri mu Creative Writing. Yamaliriza digulu ye ey'okusatu mu Creative writing okuva ku Lancaster University.[16] Makumbi yasomesa nga omusomesa ow'ekiseera ku matendekero aga waggulu agatali gamu mu UK ng'asomesa Oluzungu ne Creative Writing. Okuwandiika kwe kwesigamiziddwa nnyo ku kugereesa kw'abaganda naddala, enfumo, engero, emboozi ez'edda,[17][18]

Okuwandiika

[kyusa | edit source]

Makumbi yatandika okuwandiika ku myaka 15, bweyawandiika, naakulemberamu era nalaga omuzanyo mu mpaka z'essomero. negubeera gw'akusatu. Yawandiika omuzannyo omulala nga wa myaka 18 nagwo negubeera gw'akusatu. Bweyali mu siniya ey'okusatu, yawandiika omuzannyo gwe ogw'asooka mu mpaka z'okuvuganya mu bayizi, negubeera gw'akusatu. Yawandiika omuzannyo gwe ogw'okubiri era mu mpaka z'okuvuganya mu bayizi ku A-level, era nagwo negubeera gw'akusatu. Emizannyo gino gyonna gyawandikibwa mu Luzungu.[16] Mu 1994, yatandika okuwandika buli lunaku mungeri y'ebitontome okusobola okugyawo n'okukyusa engeri gyeyali awuliramu kuba yali ayita mu mbeera enzimu mu bulamu bwe. Yawandiika ebitontome ebisoba mu 50 naye tewali n'omu gweyabibulirako. Yatandika okuwandiika emboozi mu 1998 nga asomesa mu Kampala.[19]

Okuwandiika kwa Makumbi kwesigamiziddwa nnyo ku ngero. Yakizuula nti engero zaali ngazi era nga asobolera ddala okuwandiika ku nsonga yonna, engeri ezenjawulo, n'ebika by'okuwandika byonna nga tasanze buzibu bwonna. Agambye nti "yakizuula nti okukozesa engero ezaali zimanyikidwa nti zibbowa era nga tezikyanyumisa era nga 'nkoowu' kyanjayo amakulu mangi ag'ebyo byeyali awandiise ekintu kyeyali tasuubira era nga kino yali tayinza nakukikakasa oba okukinnyonnyola muntu yenna."[20] Kikulu nnyo okukitegeera nti ebigendererwa bye mukukozesa engero ez'edda mumboozi enjiiye si kyabutakyuka n'okulemera ku bikadde nga bwekirowoozebwa bulijjo mu kuwandiika mu Afirika. Akozesa okugereesa nga awandiika kubanga kimuyamba nnyo mukuwandiika mu buwangwa bw'Abaganda. Era lwakuba engero zikozesebwa nnyo mu lulimi lwe, kimuwa obuvumu okukukozesa mu kuwandiika kwe.[21][22]

Ebiwandiiko bye bifulumizibwa aba African Writing Online and Commonword. Akulembera ne ba African reading group ARG! mu Manchester, ekiteeka esiira ku bawandiisi mu Afirika abatamanyikidwa.[15] Mu 2012, Emboozi ye enyimpi eyitibwa "The Accidental Seaman" yafulumizibwa mu Moss Side Stories aba Crocus Books. Mu 2013, ebitoontome bye ebiyitibwa "Free Range" ne "Father cried in the kitchen" byafulumizibwa mu Sweet Tongues.[8]

Akatabo keyawandiika mukusoma kwe ku diguli ey'okusatu,The Kintu Saga, kaawangula Kwani? Manuscript Project, engule empya ewebwa abawandiisi mu Afirika ab'emboozi enyimpi ezitafulumizibwangako.[23][24][25][26] era nekafulumizibwa wansi w'omutwe Kintu mu 2014,[27] akaatekebwa ku lukalalal oluwanvu olutali lusunsulemu olwa Etisalat Prize for Literature.[12] Yalondebwa okubera ku lukalala olumpi olwa 2014 Commonweath Short Story Prize nga'avuganya n'abalala babiri okuva mu Afirika, (Adelehin Ijasan okuva e Nigeria ne Michelle Sacks okuva e South Africa),[28][29][30][31] era nga yeyafuuka omuwanguzi nga akozesa embooze gyeyayita "Let's Tell This Story Properly".[32][33][34]

Mu Gwokussatu 2018, yali omu ku bawandiisi omunaana abaaweebwa Ekirabo kya Windham-Campbell Prize, ng'agamba nti: "Kintu ayogera ku byafaayo ebifaanagana eby'okugwa kw'ekika ky'abantu abaakolimirwa - ab'ekika kya Kintu - n'okweyongera kw'eggwanga lya Uganda ery'omu kiseera kino. Ng'alina eddoboozi ery'ekyewuunyo era ery'amaanyi erikwataganya emboozi ez'obuwangwa n'abantu, enfumo, n'ebintu bya Bayibuli, Makumbi avumimirira nnyo eby'obufuzi n'amadiini. Abavumirira ennyo, Aaron Bady agambye nti "Kintu anoonya olunyiriri lw'ebbula ly'ebintu bino, mu nkola y'okulaga ebintu ebipya ebinaabaawo mu biseera eby'omu maaso mu kitabo ky'omu Afirika".[14]

Bwe yabuuzibwa C. A. Davids mu 2018 ku The Johannesburg Review of Books, Makumbi yagamba nti: "Abazungu balina obuyinza bungi nnyo ku, n'okufuga, ebitabo byaffe. Ebitabo bye baagala - ebitera okwogera ku Bulaaya - bye bafulumya, byebinoonyerezebwako, byebiwandiikiddwako mu mpapula z'amawulire era bye byoka ebimanyikiddwa nemu bitabo bya Afirika. Ekyo kya bulabe. Tulina okuggya obuyinza okuva ku bugwanjuba n'okusalawo ebitabo byaffe, ebikubibwa abafulumya ebitabo by'omu Afirika n'abanoonyereza ku Afirika.[35]

Makumbi y'omu kwabo abaawaayo ekitabo ekiyitibwa New Daughters of Africa ekyafulumizibwa Margaret Busby mu 2019.[36]

Ekitabo kya Makumbi eky'okubiri, The First Woman (2020) - ekyafulumizibwa mu Amerika wansi w'omutwe A Girl Is a Body of Water - kyafuna ettutumu lingi. Alex Clark yakinnyonnyola mu The Guardian nga "okusoma okw'essanyu, okw'omuganyulo ... amaanyi gaakyo gava mu magezi gaakyo ag'amaanyi n'obulungi bw'omuntu we omukulu",[37] era mu World Literature Today, Adele Newson-Horst yakiyita "spellbinding".[38] Okutendereza okulala kwava mu The Washington Post, Bethanne Patrick we yayogerera ku "Makumbi's glorious telling",[39] ng'ate The New York Times yakomekkereza nti: "Omusomi tasobola kwewala omukwano oguletebwa emboozi eno. Ennyimba za Makumbi tezisobola kuziyizibwa era zireetera okukwatibwako, n'obwegendereza, okutegeeza, okutegeerera ddala amazima agatali gamu mu ndowooza z'amagezi. 'A Girl Is a Body of Water' ewa ebirabo okusoma asinga.[40] Omukenkufu mu New African (Zimbabwe) yawandiika nti "katabo kalungi eri abakazi, ku bakazi, akasanidde okusomebwa buli musajja ayagala okutegeera ebikwata ku bakazi."[41] Omukazi eyasooka yaweebwa ekirabo kya 2021 Jhalak Prize eky'akatabo k'omwaka.[42][43]

Ebyafulumizibwa

[kyusa | edit source]

Obutabo

[kyusa | edit source]

Ekkunganiro ly'emboozi enyimpi.

[kyusa | edit source]

Emboozi enyimpi

[kyusa | edit source]

Ebiwanguddwa n'ebitiibwa bye

[kyusa | edit source]

Ebijjuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. http://www.africabookclub.com/?p=13736
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2017-08-19. Retrieved 2024-04-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2016-12-17. Retrieved 2024-04-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. http://www.kwani.org/new/press_releases/82/kwani_trust_launch_awardwinning_writer_jennifer_nansubuga_makumbis_debut_novel_kintu.htm
  5. http://www.monitor.co.ug/artsculture/Reviews/Jennifer-Makumbi-narrates-the-Ugandan-story-in-Kintu/-/691232/2363676/-/nhbwom/-/index.html
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2018-10-07. Retrieved 2024-04-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. https://www.theguardian.com/books/2019/jun/02/manchester-happened-jennifer-makumbi-freshwater-akwaeke-emezi-zonal-marking-michael-cox-review
  8. 8.0 8.1 "Archive copy". Archived from the original on 2014-07-04. Retrieved 2024-04-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. "Archive copy". Archived from the original on 2014-09-23. Retrieved 2024-04-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  10. https://thecommonwealth.org/news/ugandan-jennifer-makumbi-wins-commonwealth-short-story-prize
  11. https://www.theguardian.com/books/2014/jun/13/commonwealth-short-story-prize-uganda-reputation
  12. 12.0 12.1 http://bookslive.co.za/blog/2014/11/06/south-africans-dominate-the-longlist-for-2014-etisalat-prize-for-literature/
  13. "Archive copy". Archived from the original on 2017-07-01. Retrieved 2024-04-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  14. 14.0 14.1 https://brittlepaper.com/2018/03/jennifer-makumbi-honoured-165000-windhamcampbell-prize-7/
  15. 15.0 15.1 http://www.lancaster.ac.uk/news/articles/2013/jennifer-makumbi-award-win/
  16. 16.0 16.1 http://www.lancaster.ac.uk/fass/english/postgrad/creativewriting/students/makumbi.htm
  17. http://jennifermakumbi.net/?page_id=6
  18. https://jennifermakumbi.net/
  19. "Archive copy". Archived from the original on 2014-05-12. Retrieved 2024-04-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  20. https://www.theeastafrican.co.ke/magazine/Oral-tradition-pays-off-for-Jennifer-Makumbi-/434746-2355262-sh3e84/index.html
  21. http://jennifermakumbi.net/?page_id=34
  22. https://granta.com/contributor/Jennifer-Nansubuga-Makumbi/
  23. http://www.transculturalwriting.com/?p=2160
  24. http://www.vanguardngr.com/2013/08/jennifer-makumbi-wins-kwani-manuscript-prize-2/
  25. http://allafrica.com/stories/201307031394.html
  26. http://www.africanwriterstrust.org/awts-jennifer-nansubuga-makumbi-wins-the-kwani-manuscript-project/
  27. http://lithub.com/in-kintu-a-look-at-what-it-means-to-be-ugandan-now/
  28. "Archive copy". Archived from the original on 2017-09-07. Retrieved 2024-04-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  29. http://www.africabookclub.com/?p=15780
  30. http://www.thenigerianvoice.com/news/144259/1/african-authors-shortlisted-for-2014-commonwealth-.html
  31. "Archive copy". Archived from the original on 2020-09-28. Retrieved 2024-04-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  32. "Archive copy". Archived from the original on 2017-09-18. Retrieved 2024-04-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  33. http://bookslive.co.za/blog/2014/06/14/jennifer-nansubuga-makumbi-wins-the-2014-commonwealth-short-story-prize/
  34. "Archive copy". Archived from the original on 2023-03-28. Retrieved 2024-04-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  35. https://johannesburgreviewofbooks.com/2018/08/06/we-should-wrench-the-power-away-from-the-west-and-determine-our-own-canon-jennifer-nansubuga-makumbi-talks-to-ca-davids-about-her-novel-kintu/
  36. https://www.nation.co.ke/lifestyle/weekend/New-Daughters-of-Africa-a-must-read-for-women-writers/1220-5422114-s2c04fz/index.html
  37. https://www.theguardian.com/books/2020/oct/30/the-first-woman-by-jennifer-nansubuga-makumbi-review-coming-of-age-in-uganda
  38. https://www.worldliteraturetoday.org/2021/summer/girl-body-water-jennifer-nansubuga-makumbi
  39. https://www.washingtonpost.com/entertainment/books/a-girl-is-a-body-of-water-is-a-poignant-coming-of-age-tale-about-womens-hard-won-wisdom/2020/09/22/0687c014-fd04-11ea-9ceb-061d646d9c67_story.html
  40. https://www.nytimes.com/2020/09/01/books/review/a-girl-is-a-body-of-water-jennifer-nansubuga-makumbi.html
  41. https://newafricanmagazine.com/26929/
  42. https://brittlepaper.com/2021/05/jennifer-nansubuga-makumbi-wins-2021-jhalak-prize-for-the-novel-the-first-woman/
  43. https://oneworld-publications.com/2021/05/26/jhalak-prize-winner-jennifer-makumbi/
  44. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named bbc

Enkolagana ez'ebweru

[kyusa | edit source]