Jessica Alupo

Jessica Rose Epel Alupo, amanyiddwa nga Jessica Alupo, ye mumyuka wa Pulezidenti wa Uganda owoomwenda, eyalondebwa mu kifo kino okuva mu 2021. Munnayuganda, munnabyabufuzi, omusomesa era munnamaggye eyawummula. Yaweerezaako nga Minisita w'ebyenjigiriza n'ebyemizannyo mu Kabineeti ya Uganda, wakati wa 2011 ne 2016. Era ye mubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y'e Katakwi mu Palamenti ya Uganda.[1]
Obuto bwe n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]
Yazaalibwa mu Disitulikiti ya Katakwi nga 23 Ogwokutaano,1974. Yasomera ku Apuuton Katakwi Primary School. Oluvannyuma n'agenda ku Kangole Girls School gye yamalira S4. S6 yagituulira ku Ngora High School.
Alupo yakolako ogw'okutunda ebyokulya ku dduuka ly'essomero nga tanaba kugenda okusoma koosi y'okutendekebwa byakubeera muserikale ku ttendekero lya Uganda Junior Staff College e Jinja. Alina Diguli ta Bachelor of Arts in political science and linguistics, gye yafuna mu 1997 okuva ku Yunivasite ye Makerere. Diguli ye ey'okubiri eyasooka, yali Master of Arts in international relations and diplomacy, nga nayo yagifunira ku Yunivasite y'e Makerere mu 2008. Alina ne Dipuloma mu by'okudukanya n'okulabirira embeera z'abantu gyeyafuna mu 2008 okuva kutendekero lya Uganda Management Institute (UMI). Diguli ye ey'okubiri mu by'okudukanya n'okulabirira embeera z'abantu yabifuna mu 2009, okuva ku Yunivasite ye Makerere.[2]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Emyaka egiyise, abadde akola emirimu egy'enjawulo okubadde:
- Nga omusomesa ku Katakwi High School mu tawuni ya Katakwi, mu Disitulikiti ya Katakwi esinganibwa mu Buvanjuba bwa Uganda
- Nga eyali alagirira kutendekero lya Uganda Urban Warfare Training School e Singo, mu Disitulikiti ye Nakaseke, mu bitundu bya masekati ga Uganda
- Nga mbega w'amagye mu Chieftaincy of Military Intelligence mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu.
Mu 2001, yayingira mu by'obufuzi nga yeesimbyewo ku ky'omubaka omukyala eyali agenda okukiikirira Disitulikiti ye Katakwi. Yeesimbawo ku tikiti y'ekibiina kya National Resistance Movement (NRM). Yawangula era nebaddamu okumulonda mu 2006. Mu 2009, yaweebwa eky'okubeera minisita omubeezi ow'ensonga z'abavubuka n'abaana.[3] Mu 2011, baddamu nebamulonda okukiikirira konsitituweensi ye mu Paalamenti.Munkyuka kyuka ya kabineeti nga 27 Ogwokutaano mu 2011,yakuzibwa n'agenda ku kya minisita w'eby'enjigiriza eby'emizannyo.[4] Yadira Namirembe Bitamazire mu bigere, eyali asuliddwa okuva mu kabineeti.
Obulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Alupo mukyala mufubo ng'era baawe ye Innocent Tukashaba.[5] Kigambibwa nti ayagala nnyo eby'okusoma, okukuunga abantu wamu n'okutambula engendo empaavu.[6][7]
Ebijiliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Samuel Muhimba (14 June 2021). "Parliament approves Jessica Alupo as Vice President of Uganda". Nile Post Uganda. Kampala. Retrieved 16 June 2021.
- ↑ Uganda Parliament (2011). "Profile of Alupo Jessica Rose Epel". Parliament of Uganda. Archived from the original on 4 March 2016. Retrieved 6 December 2014.
- ↑ Vision Reporters (17 February 2009). "New Appointees Excited About Jobs". New Vision (Kampala). Archived from the original on 11 December 2014. Retrieved 6 December 2014.
- ↑ Mukasa, Henry (28 May 2011). "Museveni Names New Cabinet". New Vision (Kampala). Archived from the original on 11 December 2014. Retrieved 6 December 2014.
- ↑ Katende, Norman (9 July 2011). "Minister Jessica Alupo Introduces Today". New Vision (Kampala). Archived from the original on 11 December 2014. Retrieved 6 December 2014.
- ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1008465/minister-jessica-alupo-introduces
- ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1007803/wedding-album