Jessica Nabongo

Bisangiddwa ku Wikipedia

Jessica Nabongo yazaalibwa mu mwezi Gwokutaano 15, 1984 Munnayuganda ate nga mu Merica ayagala nnyo okutambula ng'akozesa omutimbagano ​ate amanyiddwa ng'akyusa obulamu bw'abalala.[1] YYe mukyala omuddugavu owookubiri okulwanyisa buli ggwanga wansi w’enjuba eno oluvannyuma lwa Woni Spotts, eyakyalira buli ggwanga ne ssemazinga mu mwaka gwa 2018.[2] [3] Mu gw'ekkumi nga 6, 2019 yali atuuse mu ggwanga lye erisembayo erya Seychelles.

Obuto bwe n'eby'okusoma kwe[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Detroit, Michigan [4] abazadde be nga Bannayuganda. Yasomera ku St. John's University mu kibuga New York City gye yafunira Ddiguli mu by'olulimi olungereza ne yeyongerayo mu London School of Economics, gye yafunira ddiguli ey'okubiri mu by'enkulakulakula.[5][6][7]

Omulimu gwe[kyusa | edit source]

Newankubadde yatandika okutabaala amawanga ku myaka mukaaga, bwe yamaliriza siniya, yakolera Kkampuni etunda eddagala okumala emyaka ebiri, yasomesaako Olungereza e Japan era yakolako ng'omukugu eyebuuzibwako mu kibiina ky'amawanga amagatte mu bya Food and Agriculture Organization, nga tannafuuka mutalaaga Mawanga.[8] yatandikawo Kkampuni eyitibwaJet Black, eteekateeka eng'endo mu mawanga ga Africa, wamu n'okutunda ebikozesebwa mu kutambula okugeza engoye empandiikeko nga (T-shirts) n'amaliba ga Ppaasipooti. Omukyala ono era watuttumu nnyo abantu gwe bagoberera ennyo, ng'akola ne woteeri mu ngeri y'okwaniriza ennung'amu.[9][10][11]

Ensi z'atambudde[kyusa | edit source]

Bwe gwatuukira omwaka 2016, yali amaze okutalaaga amawanga 60. Mu 2017, yasalawo okukyalira amawanga gonna 193 mu nsi yonna. Okusinziira ku babaka bwe yateeka ku kibanja kye ekya Instagram, yatuuka mu ggwanga erya 195 ku lukalala lwe mu gw'ekkumi nga 6, 2019 nga lyali lya Seychelles.

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. https://medium.com/airbnbmag/jessica-nabongo-is-the-first-black-woman-to-travel-the-entire-world-c8150242309d
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2023-02-07. Retrieved 2023-02-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://www.pulse.ng/bi/lifestyle/woni-spotts-tells-us-how-she-became-the-worlds-most-travelled-black-woman/957ktmb
  4. https://www.okayafrica.com/ugandas-jessica-nabongo-is-the-first-black-woman-to-visit-every-country-in-the-world/
  5. https://www.nbcnews.com/news/nbcblk/nabongo-became-first-black-woman-document-her-visits-all-193-n1069036
  6. {{cite news}}: Empty citation (help)https://www.vibe.com/2019/10/jessica-nabongo-first-black-woman-to-visit-every-country-in-the-world
  7. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.vibe.com/2019/10/jessica-nabongo-first-black-woman-to-visit-every-country-in-the-world
  8. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.outsideonline.com/2403731/jessica-nabongo-first-black-woman-visit-every-country
  9. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.forbes.com/sites/alexandratalty/2018/04/10/how-jessica-nabongo-will-become-the-first-black-woman-to-visit-every-country/
  10. {{cite web}}: Empty citation (help)https://abc7chicago.com/5605592/
  11. https://www.pulse.ng/bi/lifestyle/jessica-nabongo-finally-completes-her-quest-to-become-the-first-black-woman-to-visit/6ftmhsx