Jump to content

Jessica Naiga

Bisangiddwa ku Wikipedia


  Jessica Naiga Ayebazibwe, (née Jessica Naiga), era nga ye Naiga Ayebazibwe, (1 Ogusooka 1965 – 25 Ogwomukaaga 2018) yali Munnayuganda, munnamateeka ra omulamuzi eyaweereza ng'omulamuzi wa Kkooti ya Uganda enkulu, okuva nga 29 Ogwokuna 2014.[1]

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | edit source]

Yazaalibw mu Uganda era n'asomera ku masomero aga bulijjo mu misomo gye egya Pulayimale ne sekendule. Yafuna Diguli esooka mu mateeka, okuva ku Ssettendekero wa Makerere, Yunivasite ya Gavumenti esinga obukulu n'obunene mu Uganda. Era yafuna Dipuloma mu kukwasisa amateeka, gye yafunaokuva ku Law Development Centre mu Kampala, ekibuga ky'eggwanga ekikulu era ekisinga obunene. Yali Mmemba mu kibiina ky'abannamateka ba Uganda.[2]

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Nga tannaba kulondebwa mu kkooti enkulu, okumala emyaka musanvu okuva mu 2007 okutuusa mu 2014, Yakola nga munnamateka w'ekitongole kya Uganda National Environment Management Authority.

Yatandiika emirimu egy'obwannamateeka mu 1992 nga munnamateka mu Kkamouni ya Bazire D’bango and Company Advocates. Bweyava mu kibiina ky'abannamteeka, yaweebwa omulinu mu kitongole ky'emisolo ekya, Uganda Revenue Authority. Yaweereza eyo okumala emya 10 ng'akwasaganya by'omusolo.

Oluvanyuma lw'okulondebwa kwe mu Kkooti enkulu, yateekebwa mu Divizoni ekwasaganya ensonga za Famire.

Obulamu bwe obw'omunda

[kyusa | edit source]

Omukyala ow'ekitiibwa Jessica Naiga Ayebazibwe ya maama wa baana basatu.

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

[kyusa | edit source]