Jesuit Refugee Service

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Jesuit Refugee Service (JRS) kitongole ky'abakatoliki n'ekigendererwa eky'okuweereza, n'okulwanirira eddembe ly'abanoonyi b'obubudamo n'abalala abaasindikirizibwa n'okukkiriza nti bagya kuwona, kuyiga n'okugera ebiseera by'abwe eby'omumaaso. Kyatandikibwawo mu Gwekkuminogumu 1980 ng'omulimu gwa Society of Jesus, JRS ky'awandiikibwa mu butongole nga 19 Ogwokusatu 2000 mu kibuga kye Vatican ng'ekibiina. Ekirowoozo ky'okutandikawo JRS ky'ava ku mukulembeze omusukkulumu Jesuits, Pedro Arrupe, ey'asikirizibwa ebikolwa bya bantu ab'ettabu aba Vietnamese boat people.[1] JRS erina pulogulaamu mu mawanga agasoba mu 50. Emirimu gy'akyo giri mu bisaawe nga eby'enjigiriza, obuyambi obw'obunnambiro, eby'obulamu, obulamu obw'abulijjo, okubudabuda, n'okuwagira embeera z'abantu ababulijjo. JRS era yetaba mu kulwanirira emirimu gy'eddembe ly'obuntu. Mu mulimu okukakasa nti abanoonyi b'obubudamo baweebwa eddembe ly'abwe mu bujjuvu nga bw'ekibaweebwa mu 1951 Geneva Convention relating to the Status of Refugees[2] n'okukola n'okunweza obukuumi obuweebwa abantu abkakibwa okuva mu mawanga g'abwe okufuuka ababudami (IDPs).[3] Ekitebe kya JRS kisangibwa mu Rome ku Society's General Curia. Dayilekita ow'okuntiko ye Rev. Thomas H. Smolich SJ.

Ebyafaayo[kyusa | edit source]

JRS yatandikibwawo mu Gwekkuminogumu 1980 Fr. Pedro Arrupe SJ, eyali akulira ekibiina kya Society of Jesus, okwanukula ekibinja eky'ettabu ekya Vietnamese boat people okusumulula abantu abaali bakosebwa olutalo.[4]

Oluvanyuma lw'olutalo lwa Vietnam mu 1975, abantu nkumi na nkumi okuva mu Bukkikaddyo bwa Vietnamese bayabulira amaka gaabwe, nga batolokera ku bwatyo ng'abayita ku ssemayanja w'omu Bukiikaddyo bwa China. Bangi ku bbo tebasimatuka mu lugendo; battibwa abanyaguluzi b'okumazzi, abamu babbira olw'omuyaga n'amayengo g'okunyanja. Fr Arrupe yakwatibwa era n'asalawo okusitukiramu. Yakowoola aba Jesuits "wakiri okteewo enkyukakyuka mu mbeera eno ey'akasambatuko." 

Fr Arrupe yawandika amasaza agasoba mu 50 aga Jesuit okusinzira ku mbeera okusobola okumanyisa Jesuits, n'oluvanyuma abasajja 27,000 okwetoloola ensi yonna, abateekebwa mu bifo eby'enjawulo okukwasaganya ensonga z'okulwanirira abantu. Obwegugungo bwe bwabalukawo mu masekkati ne Latin America, Obukiikaddyo bw'obuvanjuba bwa Europe, n'okwetoloola Africa, JRS yakula m bwangu okuva mu kuyamba abantu abakosebwa olutalo Vietnam mu nkambi entonotono mu Bukiikaddyo bw'obuvanjuba bwa Asia okutuuka okukola n'abanoonyi b'obubudamu okwetoloola ensi yonna. 

Emyaka 20 oluvanyuma lw'okutandikibwawo, JRS yawandikibwa mu butongole ng'ekitongoe kye kibuga kye Vatican nga 19 Ogwokusatu 2000.[5]

Leero, Jesuit Refugee Service ekola mu mawanga 45 n'abantu abasoba mu 724,000, ng'abasinga ku bbo Basiraamu. Okugyako elinnya, abantu 65 abaweereza, abakozi 1,800 ba mmemba mu Society of Jesus.[6]

Ekigendererwa[kyusa | edit source]

Ekigendererwa kya JRS kuweereza n'okuwalwanirira eddembe ly'obuntu ku lw'ababundabunda n'abo abaakakibwa okuva mu maka gaabwe olw'olutalo okusobola okubawonya, okuyiga, n'okugeera ebiseera by'abwe eby'omumaaso.

Ng'ekitongole ky'obwannakyewa eky'ensi yonna ku nsonga z'abantu, JRS egenda mu maaso n'okussa mu nkola ekirowoozo kya magis owa Ignatius of Loyola, omutandisi wa Jesuits. Ekimu ku bikulu eby'ayogerwa mu lukungaana lwa Jesuit General Congregation olwa 35 mu (2008) kwali kutuukirira bantu mu buntu, ennono, ediini n'enjawukana mu buwangwa eri abo abayawukana okuva ku bagalwa baabwe,[7] omulimu ogw'akakasibwa ba Paapa babiri.[8] Olugendo lw'okunoonya abantu abalala kituusizza aba JRS mu bifo ababundabunda gy'ebatulugunyizibwa, 'okutyoboola eddembe lyabwe: enkambi z'ababundabunda ez'abulijjo, ebifo awakumirwa abantu n'amakomera, ebifo ebirimu okwekalakaasa, ebitundu by'ensalo ne mu bibuga wakati omuli Iraq ne Syria.[9]

Nga 24 Ogwokutaano 2019, omukulu wa Jesuit Arturo Sosa Jesuits yagiyita "okwewaayo okugya" eri JRS wamu ne Jesuits' enkola ey'abatume eya gunjibwawo Pope Francis. Era nga kitundu ku nkola ey'okuzimba JRS empya eya "Offiisi z'amawanga ez'amaanyi era ezigya okunweza enkulakulana mu bintu ebitali bimu." JRS yanyonyola ebintu by'asoosowaza ebya 2019-2023 nga, "enkulakulana y'okuzza enkolagana n'okwewaayo; Omutindo gw'obuweereza mu byenjigiriza eby'omukibiina n'ebirala; pulogulaamu z'okukyusa mu mbeera z'eby'obulamu okukulembera mu okubeera mu mbeera ennungi n'okulwanirira eddembe ly'ababundabunda."[10]

JRS ye yeyama okwewaayo ku Agenda y'okugema 2030, n'ekigendererwa okwongera ku muwendo gw'ensi mu kufuna eddagala (vaccines) mu wagira ebigendererwa bya Sustainable Development Goals.[11]

Abanoonyi b'obubudamo[kyusa | edit source]

Mu kusalawo ani ow'okukola naye, JRS yakizuula nti enkola y'ebitongole eby'aliwo yalimu okukugira kungi.[12] Ekyo ky'avirako enkola ya 'de facto refugee' to all "Abantu abafunaanibwa olw'obuvo bwaabwe, ediini, ebibiina mwebawangalira n'ebibiina by'ebyobufuzi"; eri "abakosebwa obutabanguko bw'emmundu, enkola z'ebyenfuna ezitali ntuufu oba ebibalukawo olw'embeera y'obutonde"; ne, "ensonga ezikwata ku bantu", eri abantu abakakibwa okuva mu bifo byabwe, omuli, abantu ba bulijjo" abagyibwa mu maka gaabwe olw'empaka mu ngeri y'emu ey'okutulugunyizibwa ng'ababundabunda wabula abo abataasala nsalo."[13]

Olw'okunyonyola okwo kugendera okutya olw'okutulugunyizibwa, ebitongole by'omubitundu bya Africa (African Union 1969) ne Latin America (Organisation for American States 1984) z'afuna okunyonyolwa omuli okugobaganya abantu ebyagwawo olw'okuggwa kw'ebyenfuna okuva ku bwegegungo. JRS ewangula lwa "nyongereza" okuwa ekitiibwa embeera z'obuntu eri ababundabunda.[14]

UNHCR[kyusa | edit source]

Ku mukutu gwa website ogw'amawanga amagate ku nsonga z'ababundabunda ogwa United Nations High Commissioner for Refugees, lipoota ezinyonyola z'akolebwa ku mirimu gya JRS wansi w'emitendera gino: Lipoota z'eggwanga, Alipoota ezivudde mu by'okunonyereza, obutabo, ebiwandiiko by'amateeka, abekenenya/abogerezi/ enkola egobererwa/ lipoota z'ebitundu eby'enjawulo, ne alipoota ezivudde mu kukubaganya ebirowoozo.

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. http://en.radiovaticana.va/news/2015/11/14/pope_francis_meets_with_jesuit_refugee_service/1186797
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2023-08-01. Retrieved 2023-05-30.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. http://en.jrs.net/
  4. https://www.bc.edu/content/dam/files/centers/humanrights/pdf/M%20%20Raper%20symposium%20paper%20March%202013.pdf
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2023-08-01. Retrieved 2023-05-30.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. https://www.ncronline.org/blogs/faith-and-justice/jrs-accompanying-serving-and-advocating-refugees
  7. http://www.sjweb.info/35/documents/Decrees.pdf
  8. https://w2.vatican.va/content/benedict-xvi/en/speeches/2008/february/documents/hf_ben-xvi_spe_20080221_gesuiti.html
  9. http://ncronline.org/blogs/faith-and-justice/jesuit-refugee-service-brings-help-syria-crisis
  10. https://reliefweb.int/report/world/renewed-commitment-jesuit-refugee-service-letter-superior-general
  11. "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-10. Retrieved 2023-05-30.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  12. https://opil.ouplaw.com/view/10.1093/law:epil/9780199231690/law-9780199231690-e866
  13. http://reliefweb.int/report/world/expert-statement-internally-displaced-persons
  14. https://web.archive.org/web/20180114212117/https://www.jrsusa.org/accompaniment

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]

Lua error: Invalid configuration file.41°54′4.94″N 12°27′38″E / 41.9013722°N 12.46056°E / 41.9013722; 12.46056