Joana Ntaja

Bisangiddwa ku Wikipedia

Joana Ntaja (25 Mukutulansanja 1984 – 8 Mukutulansigo 2015) yali munnabyabufuzi wa Malawi era meeya omukyala eyasooka mu Zomba, ekibuga kya Malawi ekikadde, wakati wa Kasambula 2014 ne Mugulansi 2015. Yali akolagana ne Democratic Progress Party.

Ebyafaayo n'obuyigirize[kyusa | edit source]

Ntaja yazaalibwa Cathyreen Chimgoga Chakhaza ku Queen Elizabeth Central Hospital (QECH) mu Blantyre, Malawi. Okusinziira ku kubuuzibwa kwe yawa nga yaakamala okulondebwa nga meeya, yasomera mu masomero ga pulayimale ag'enjawulo nga "St. Pius, St Anthony, Zomba Police n'amaliriza ku Balaka Primary School".[1] Oluvannyuma yasomera Balaka ne St. Marys Secondary Schools. Oluvannyuma yakola emisomo gy'omuwandiisi mu Michiru Secretarial College. Okuva eyo, yasomera ku Lilongwe Technical College n'afuna Advanced Diploma in Business Management.[1]

Omulimu[kyusa | edit source]

Ng'ali ku Democratic Progressive Party (DPP), Ntaja yaweereza nga Kansala wa Zomba Central Ward ku Zomba City Council.

Nga 14 Ogwomusanvu 2014, Ntaja yalondebwa nga meeya ow'omukaaga mu lukiiko lw'ekibuga Zomba era omukazi eyasooka mu kifo ekyo.

Ntaja yali memba wa

Obulamu bw'omuntu n'okufa[kyusa | edit source]

Oluvannyuma lw'okwemulugunya ku musujja gw'ensiri n'obuzibu mulubuto, Ntaja yalangirirwa nti afudde nga 8 Mugulansigo 2015 mu ddwaliro lya Mwaiwathu Private Hospital e Blantyre.[2] Yafiirwa bba, Rashid Mussa n'abaana basatu.

Ntaja yaziikibwa ku kyalo Mteje mu Chigumula

Ebijulizo[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :0
  2. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :1

Enkolagana ey'ebweru[kyusa | edit source]