Joe Oloka-Onyango

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Joe Oloka-Onyango Munnayuganda Munnamateeka era musomesa.[1] Pulofeesa wa mateeka mu Ssettendekero wa Makerere mu ssomero elisomesa amateeka gy'eyali omukwasi w'empisa era Dayilekita w'ekitongole ky'eddembe ly'obuntu ekya Human Rights and Peace Centre (HURIPEC).[2] Mufumbo eri Prof Sylvia Tamale, era munnamteeka, musomesa era mulwanirizi w'eddembe ly'abantu. Balina abaana ab'obulenzi babiri; Kwame Sobukwe Ayepa ne Samora Okech Sanga.

Obuto bwe[kyusa | edit source]

Oloka-Onyango yasoma eby'amateeka ku Ssettendekero wa Makerere ne Dipuloma ey'enyongereza mu kutaputa amateeka eya Diploma in Legal Practice okuva mu ssomero ly'amateeka erya Law Development Center mu Kampala, nga tannafuna Diguli ey'okubiri mu mateeka eya Master of Laws ne Diguli ya okuva ku Harvard Law School.[3] Mukenkufu mu nkola egoberera Ssemateeka n'eddembe ly'obuntu mu nkola ya Africa.[3]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Prof Oloka-Onyango yaweerezaako nga mmemba mu kakiiko k'amawanga amagatte akakubiriza n'okutumbula eddembe ly'obuntu aka UN Sub-Commission on the Promotion and Protection of Human Rights, nga alipoota ekulira eby'okunonyereza ddembe ly'obuntu okwetoloola ensi yonna eya UN Special Rapporteur, era ng'omuwabuzi ey'ebuzibwako pulogulaamu ez'enjawulo nga United Nations Development Programme, Akakiiko k'amawanga amagatte akakwasaganya ensonga z'abanoonyi b'obubudamu aka United Nations High Commissioner for Refugees n'ekitongole ky'ebyobulamu ekya World Health Organization. Era aweereza ku kakiiko akawabuzi akakulembera ebitongole ebirwanirizi by'eddembe ly'obuntu ebitakola magoba mu North America, Europe ne Africa.

Akyaddeko ku Yunivasite ez'enjawulo okwetoloola ensi yonna nga Pulofeesa omuli Oxford, Cape Town ne United Nations University mu Tokyo. Mu 2014–2015, akaseera ke ak'okuwummulamu yakamalira mu kusoma ng'ali ku sikaala ku Yunivasite ya George Washington University (GWU) mu USA wamu ne Stellenbosch Institute of Advanced Studies (STIAS) mu South Africa.

Essomo lya Prof Oloka-Onyango nga Pulofeesa ly'eyatuuma Ghosts & the Law, mwalimu okunoonyereza okuva mu nsonda ez'enjawulo, ng'ebitategerekeka ku nsonga ez'etobeseemu eby'obufuzi mu Uganda era kyalina akakwate ku kulwanirira eddembe ly'obuntu era wamu n'omulimu gwe gyakola ku nkola egoberera Ssemateeka, enkola y'okugabanya obuyinza, okussa mu nkola ebikolwa eby'okulwanirira eddembe ly'obuntu, obwetwaze bw'essiga eddamuzi, engombo y'enkola ey'obukulembeze bwa "Pulezidenti" n'engeri endala ez'enkola engunjufu. Mu ssomo lino, yekennenya ensonga ez'enjawulo ezikwata ku Uganda v Commissioner of Prisons, Ex Parte Matovu n'obulabe bw'ebyateeka ku kutaputa amateeka mu Uganda okutuusa n'ekaakano.[4][5]

nga 5 Gwokutaano, 2016, yatandiika essomo lye mu ssomero ly'amateeka ku Ssetendekero wa Makerere, nga yayanjula olupapula olw'atuumibwa "Enter the Dragon, Exit a Myth: The Contested Candidacy of John Patrick Amama Mbabazi".[6]

Ogwokutaano nga 9, 2016, Prof Oloka-Onyango ne banne abalala 8 okuva ku ssomero ly'amateeka ku Makerere University bawaayo okusaba kw'abwe mu Kkooti ya Uganda ensukkulumu okuweebwa akaseera okwetaba mu musango ogw'ali gwawabirwa ku nsonga z'akalulu k'obwa pulezidenti mu 2017 agwali wakati wa, Amama Mbabazi v. Yoweri Museveni n'akakiiko k'ebyokulonda, nga Amici Curiae. Guno gwafuuka omulundi ogusooka mu byafaayo by'okulonda mu Uganda Kkooti ensukkulumu okuwulira n'okukkiriza okusaba okwengeri eyo. Bannamateeka bano omwenda mwalimu; Oloka-Onyango, Sylvia Tamale, Christopher Mbazira, Ronald Naluwairo, Rose Nakayi, Busingye Kabumba, Daniel Ruhwheza, Kakungulu Mayambala ne Daniel Ngabirano. Ng'ekitundu ku by'ebawaayo, bawabula Kkooti okuyisa ebiragiro ebikugulira ng'engeri y'okukwasaganyamu ebyo eby'ali biweeredwayo akakiiko k'eby'okulonda n'Eggwanga ku nsonga z'okulonda. Mu nsalawo eno, Kkooti yakawangamula nti;

"Tuli bamativu nti abasabye bakakasizza likodi mu kulwanirira eddembe ly'obuntu, enkola egoberera Ssemateeka n'obukulembeze obulungi. Balina obukugu bw'akika ky'awanggulu nnyo era bakoze okunoonyereza ku nsonga ezifaanagana nga zino nga bwe bijuliziddwa mu biwandiiko by'abwe."

Emisango gye yakolako[kyusa | edit source]

Prof Oloka-Onyango munnamateeka era y'etabye mu misango egy'enjawulo egy'assemateeka ne mu kisaawe ky'okulwanirira eddembe ly'obuntu. Ye yakulemberamu mu kuwaaba omusango gwa Constitutional Petition No. 8 ogwa 2014, "Oloka-Onyango & n'abalala 9 v. Ssabawaabi wa Gavumenti",[7] Mu kkooti etaputa Ssemateeka, yali awakanya akawayiro ku nsonga z'okulya abisiyaga aka Anti Homosexuality Act of 2014. Era yali omu ku bawaabi mu musango gwa No. 2 of 2003, "ekibiina ky'abakazi bannamateeka mu Uganda n'abalala 5 v. sabawaabi wa Gavumenti" eky'asomooza ku buwaayiro obuwerako obw'ali bukwata ku nsonga z'okwawukana nga bukontana n'eddembe eliri mu Ssemateka ku mwenkanonkano mu bantu bonna awatali kusosola wadde okwawula mu kikula ky'abantu n'eddembe ly'abakazi.[8]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Egimu ku mirimu gya Prof Oloka-Onyango mulimu:

  • Eby'obufuzi, enkola y'obwa Demokulasiya n'obusomesa mu Uganda: Omusango gwa Ssettendekero wa Makerere (Daraja Press, 2021)[9]
  • Okwonger okwekennenya ku nsonga z'amateeka mu Uganda[10]
  • The National Resistance Movement,“Grassroots Democracy”, n'enkola ey'effugga bbi mu Uganda[11]
  • Controlling Consent: Okulonda kwa Uganda mu 2016 – by'asunsulwa J. Oloka-Onyango ne Josephine Ahikire (2016)[12]
  • "When Courts Do Politics" (Cornell University, 2016)
  • "Enter the Dragon, Exit a Myth: The Contested Candidacy of John Patrick Amama Mbabazi" (2016)[13]
  • "From Expulsion to Exclusion" (2016)
  • "Befriending the Judiciary: Behind and Beyond the 2016 Supreme Court Amicus Curiae Rulings in Uganda" – J Oloka-Onyango and Christopher Mbazira (2016)[14]
  • "Battling over Human Rights: Twenty Essays on Law, Politics and Governance" (Langaa Publishing, 2015)[15]
  • "Debating Love, Politics and Identity in East Africa: The Case of Kenya and Uganda" in the African Journal of Human Rights (2015)[16]
  • "Human Rights and Public Interest Litigation in East Africa: A Bird's Eye View" in the George Washington University International Law Review (2015)[17]
  • "Unpacking the African Backlash to The International Criminal Court (ICC): The Case of Uganda and Kenya" (2015)[18]
  • "Police Powers, Politics and Democratic Governance in Post-Movement Uganda (2011)
  • Okusukkuluma ku bigambo ebisendasenda: okuzaamu amaanyi mu kulwanirira eby'enfuna n'eddembe ly'obuntu mu Africa[19]
  • okwekubamu tooki ku kumalirira: Ebizibu mu biseera by'omumaaso ku nsonga za Demokulasiya mu ky'asa ekipya[20]
  • Embeera y'amateeka n'ebyensimbi mu by'obufuzi okuva kukuvujirirwa kw'ebulaaya mu Uganda[21]
  • Ekibuuzo ku Buganda mu By'obufuzi bya Uganda[22]
  • Embeera embi: Eddembe ly'obuntu, okutulugunyizibwa n'embeera y'abanoonyi b'obubudamo n'abakyala ab'enjawulo mu Africa[23]
  • Human rights, the OAU Convention and the refugee crisis in Africa: Forty years after Geneva[24]
  • Constitutional transition in Museveni's Uganda: new horizons or another false start?[25]
  • Bitches at the academy: Gender and academic freedom at the African university[26]
  • Uganda's 'Benevolent'Dictatorship[27]
  • Police Powers, Human Rights and the State in Kenya and Uganda: A Comparatice Analysis[28]
  • The place and role of the OAU Bureau for refugees in the African refugee crisis
  • The Dynamics of Corruption Control and Human Rights Enforcement in Uganda: The Case of the Inspector General of Government[29]
  • Uganda: studies in living conditions, popular movements, and constitutionalism[30]
  • Decentralization without human rights?: local governance and access to justice in post-movement Uganda.[31]
  • Who's watching'Big Brother'? Globalisation and the protection of cultural rights in present-day Africa[32]
  • Governance, Democracy and Development in Uganda Today: A socio-legal Examination[33]
  • Poverty, human rights and the quest for sustainable human development in structurally-adjusted Uganda[34]
  • Forced Displacement and the Situation of Refugee and Internally Displaced Women in Africa[35]
  • Movement-Related Rights in the Context of Internal Displacement[36]
  • 'Taming'the President: Some Critical Reflections on the Executive and the Separation of Powers in Uganda[37]
  • Development Financing: The Case of the Uganda Development Bank.[31]
  • Age-based discrimination and the rights of the elderly in Uganda: conference paper[38]
  • Obote: A Political Biography
  • The personal is political, or why women's rights are indeed human rights: An African perspective on international feminism[39]
  • Liberalization Without Liberation: Understanding the Paradoxes of Opening the Political Spaces in Uganda[40]
  • Pastoralism, crisis and transformation in Karamoja.[41]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. https://web.archive.org/web/20110724235035/http://www.alliancesforafrica.org/editorial.asp?page_id=29
  2. Onyango, Joe Oloka (2016-01-12).
  3. 3.0 3.1 https://web.archive.org/web/20160620024909/http://pilac.mak.ac.ug/node/102
  4. http://www.monitor.co.ug/artsculture/Reviews/Prof-Oloka-Onyango-talks-ghosts-law/691232-2959534-15hpila/index.html
  5. https://news.mak.ac.ug/2015/11/professor-oloka-onyango-delivers-inaugural-lecture-ghosts-and-law
  6. http://www.law.mak.ac.ug/news/professor-joe-oloka-onyango-presents-inaugural-school-law-staff-seminary
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2018-10-04. Retrieved 2023-05-19.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  8. see Articles 21, 31 and 33 of Uganda's 1995 Constitution.
  9. https://darajapress.com/publication/politics-democratization-uganda
  10. Oloka-Onyango, J. (2020-06-02).
  11. https://www.taylorfrancis.com/chapters/edit/10.4324/9780429045660-7/national-resistance-movement-grassroots-democracy-dictatorship-uganda-oloka-onyango
  12. https://africaworldpressbooks.com/controlling-consent-ugandas-2016-election-edited-by-j-oloka-onyango-and-josephine-ahikire/
  13. Oloka-Onyango, J. (2016).
  14. Oloka, -Onyango J.; Mbazira, Christopher (2016-03-15).
  15. Oloka-Onyango, J. (2015).
  16. Oloka-Onyango, J. (2015).
  17. Oloka-Onyango, J. (2015).
  18. Oloka-Onyango, Joe (2020)
  19. Oloka-Onyango, J. (1995–1996).
  20. Oloka-Onyango, J. (1999–2000).
  21. Oloka‐Onyango, J.; Barya, J.J. (1997-06-01)
  22. Oloka‐Onyango, J. (1997).
  23. Oloka-Onyango, J. (1995–1996)
  24. Oloka-Onyango, Joe (1991).
  25. Oloka-Onyango, J. (1995).
  26. Tamale, Sylvia; Oloka-Onyango, J. (1997).
  27. Oloka-Onyango, J. (1998-08-30).
  28. Oloka-Onyango, J. (1990).
  29. https://academic.oup.com/crawlprevention/governor?content=%2fijrl%2farticle-abstract%2f6%2f1%2f34%2f1547965
  30. Mamdani, Mahmood; Oloka-Onyango, Joe (1994).
  31. 31.0 31.1 (137–155). {{cite journal}}: Cite journal requires |journal= (help); Missing or empty |title= (help)
  32. Oloka, -Onyango Joe (2005-01-01).
  33. http://citeseerx.ist.psu.edu/messages/downloadsexceeded.html
  34. Oloka-Onyango, J. (2000).
  35. Oloka-Onyango, Joe (1998).
  36. Oloka-Onyango, J. (2010).
  37. Oloka-Onyango, Joe (1995).
  38. Oloka, -Onyango Joe (2009-03-01).
  39. Oloka-Onyango, J.; Tamale, Sylvia (1995).
  40. Oloka-Onyango, J. (2005).
  41. Oloka-Onyango, Joe; Gariyo, Zie; Muhereza, Frank (1993).

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]

  • [ ]