John Akii-Bua

Bisangiddwa ku Wikipedia


 

John Akii-Bua (3 Ogwekkuminebiri 1949 – 20 Ogwomukaaga 1997) yali muddusi wa Uganda omubuusi w'obusenge era omuwanguzi w'emisinde gino eyasooka mu ggwanga lye Uganda ne Afrika okutwaliza awamu.[1] Mu 1986, yeyawangula omudaala gwa ffeeza ogw'emisinde gya Olympic Order.[2]

Ebimukwatako[kyusa | edit source]

Akii-Bua yakuzibwa mu famire y'abaana 43 okuva mu taata omu n'ebakyala munaana,[3][4] Akii-Bua yatandika emisinde nga muddusi w'embiro enyimpi ez'okubuuka obusenge naye yalemererwa okuyitamu okugenda mu misinde gya 1968.[4] Nga atendekebwa omutendesi enzalwa ya bungereza Malcolm Arnold, yaddizibwa ku misinde gy'okubuuka obusenge mu mmita 400.[5] Oluvanyuma lw'okumalira mu ky'okuna mu mizannyo gya 1970 Commonwealth Games n'okuddukira mu budde obw'edakiika 1971, ssi yeyayagalwa ennyo mu misinde gya 1972 Summer Olympics mu Munich, olw'obutaba n'abumanyirivu mu kuvuaganya. ng'ebyo bizze ku bbali, empaka ezo yeziwangula era nateekawo likodi y'ensi yonna ey'eddakiika 47.82 newankubadde yaddukira mu lukuubo lw'omunda. Yasubwa empaka za 1976 Olympics era n'okubisana n'omuddusi wa Amerika Edwin Moses olw'okwegolima okwaliwo mu Uganda n'ensi endala ez'omu Afrika.[4]

Ng'omukwasi w'amateeka, Akii-Bua y'alinyisibwa eddaala omukulembeze w'eggwanga Idi Amin era n'aweebwa ennyumba ng'ekirabo olw'obukugu bwe mu misinde. Gavumenti ya Amin bweyagibwawo, yagenda ne famire mu Kenya olw'okutya okulabibwa nga eyali akolagana n'omulabe era nga kino ky'ava ku ye okuba mmemba w'ekika ky'aba Lango, nga abangi kubbo baali baatulugunyizibwa Amin,[6] wabula Amin ye yalaba Akii-Bua ng'ekyokulabirako ekirungi eky'aba Lango. Mu Kenya, yateekebwa mu nkambi y'ababundabunda era okuva eyo, yagyibwayo kkampuni y'engato zeyali ayambala eya Puma era n'abeera mu Germany. Yakolera Puma emyaka 3–4. Yakiikirira Uganda n'ate mu misinde gya 1980 Summer Olympics.[4] Oluvanyuma yakomawo mu Uganda n'afuuka omutendesi.[7]

Akii-Bua y'afa ssemwandu, ku myaka 47, n'abaana bakawonawo kkuminomu. Yaziikibwa mu kitiibwa.[5] Kizibwe we musambi wa mupiira mu mawanga g'ebulaaya David Obua, ne mugandawe Lawrence Ogwang yavuganya mu kubuuka okukolebwa ku musenyu okuyitibwa long jump ne triple jump mu misinde gya 1956.[4]

Ekigambo kya "akii-buas" ky'atuuka okutegeeza "okudduka" mu Uganda.[8]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]