John Babiiha
John Babiiha (17 Ogwokuna 1913 - Ogwokusatu 1982) yali Munnabyabufuzi, Munnayuganda, mulunzi era mulimi. Yali Omumyuka wa Pulezidenti wa Uganda eyasooka wansi w'ekibiina kya Uganda People's Congress ekyali kikulemberwa Apollo Milton Obote.[1][2] Era yaweereza nga Minisita w'amagana wansi wa Milton Obote. ki kkirizibwa nti yeyatandikawo ekibiina kya Uganda People's Congress Party mu 1959 ne Obote, Sam Odaka ne Felix Rwambarari.[2]
Ebimukwatako n'emisomo gye
[kyusa | edit source]Babiiha yazaalibwa nga 17 Ogwokuna 1913 mu Toro, ekibuga ekikulu eky'obwakabaka bw'oBugwanjuba bwa Uganda.[2]
Babiiha yasomera ku St Joseph's College, Mbarara ne St Mary's College, Kisubi. Oluvanyuma yafuna Sikaala mu Makerere University College, gye yafunira Dipuloma mu busawo bw'ebisolo.
Emirimu gye
[kyusa | edit source]Babiiha yatandiika okukola nga omusawo w'ebisolo okuva mu 1939 okutuusa mu 1946, lw'eyegatta ku Gavumenti y'Obwakabaka bwa Toro, nga omuwandiisi n'oluvanyuma omumyuka w'omuwanika mu Paalamenti ya wano.
Babiiha mu 1954 yalondebwa Paalamenti ya Toro okwegata ku lukiiko lwa Uganda olukulu olwa Legislative Council. Yesimbawo ku ky'omubaka mu Paalamenti owa Toro ey'omumasekkati mu kulonda kwa 1958, ng'omukulembeze w'ekibiina kye ekya Uganda Peoples’ Union Party era n'addamu mu kulonda kw'abonna mu Gwokusatu 1961, nga yawangula ekifo kye emirundi ebiri. Babiiha yali yagatta ekibiina kye n'abalala okwegatta ku Uganda Peoples’ Congress ekya Milton Obote mu 1960; oluvanyuma nafukka ssentebe w'ekibiina. Obote yamuwa ekifo mu Kabinenti ye eyasooka mu Gwekkumi 1962, mu kaseera k'ameefuga, nga Minisita w'amagana, emizannyo n'ebyobuvubi.[3][2]
Babiiha era yaweerezaako nga Omumyuka wa Pulezidenti eyasooka oluvannyuma lw'okugyibwawo kw'enkola y'obwakabaka mu 1967.[4][2]
Obulamu bwe obw'ebyobufuzi
[kyusa | edit source]Babiiha yafuna obuyinza ku Gavumenti obw'akaseera akagere era n'alangirira akaseera mu Ggwanga akaakatyabaga nga 19 Ogwekkuminebiri 1969, nga omukulembeze w'ekibiina kya Uganda People's Congress era eyali Pulezidenti wa Uganda Milton Obote bweyafuna obuvune mu lulumbagana olw'ali lw'akolebwa okumutemula.[2]
Okufa kwe
[kyusa | edit source]Oluvanyuma lw'olutalo lw'amagye mu 1971, Babiiha yawummula mu bwangu n'agenda mu Ffaamu ze. Omukolo gwe ogw'omulujjude mu myaka ebiri gw'ali gwa Idi Amin, Pulezidenti wa Uganda, bweyamusindikira world goodwill mission mu Gusooka, 1973. Babiiha yafa mu Gwokusatu 1982[2] era yaziikibwa mu makage mu kyalo ky'e Kibimba, mu Munisipalite y'e Fort Portal.[4]
Laba na bino
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-03. Retrieved 2022-12-03.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ 2.0 2.1 2.2 2.3 2.4 2.5 2.6 https://www.newvision.co.ug/articledetails/1509882
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-03. Retrieved 2022-12-03.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ 4.0 4.1 http://ugandaradionetwork.com/story/babiiha-family-struggling-to-survive-await-benefits