Jump to content

John Mikloth Magoola Luwuliza-Kirunda

Bisangiddwa ku Wikipedia


 

John Mikloth Magoola Luwuliza-Kirunda (5 Ogwomunaana 1940 – 8 Ogwomunaana 2005) yali musawo wa Uganda ow'amaanyi nga yaweerezaako mu buvunanyizibwa obw'enjawulo mu Gavumenti ya Idi Amin , nga y'aweereza nga Minisita ow'ensonga z'omunda mu Uganda era nga Omuwandiisi w'ekibiina kya Uganda People's Congress, ng'ekifo ekyo yakiweerezaamu okumala emyaka ebiri.[1][2]

Obulamu bwe obw'omubuto

[kyusa | edit source]

John Mikloth Magoola Luwuliza-Kirunda yazaalibwa nga 5 Ogwomunaana 1940 mu Busembatia, Disitulikiti y'e Iganga , mu Divizoni y'e Busoga, mu Buvanjuba bwa Uganda.[1] Yali kizibwe w'omu ku ba Minisita ba Uganda abaali ab'amaanyi Shaban Nukutu.[3]

Emisomo gye

[kyusa | edit source]

Luwuliza-Kirunda yasomera ku Busoga College ku lusozi lw'e Mwiri, mu Disitulikiti y'e Jinja mu Uganda okuva mu 1948 okutuusa mu 1959.[1] Eyo gy'eyafunira emikwano emingi era nga mu bbo mwemwava bannabyabufuzi ab'amaanyi mu kibiina kya Uganda People's Congress.[4] Oluvanyuma yegatta ku ssetendekero wa Makerere University mu Kampala okuva mu 1960 okutuusa mu 1967, era n'agezesa obuyigirize bwe mu Yunivasite ya University Teaching Hospital of Birmingham era ne mu Yunivasite ya Royal Liverpool University Hospital mu Bungereza okuva mu 1968 okutuusa mu 1971.[1]

Emirimu gye yakola

[kyusa | edit source]

Emirimu gye egy'obusawo

[kyusa | edit source]

Luwuliza-Kirunda yali musawo omukugu era ow'amaanyi mu kisaawe ky'okujjanjaba n'okwetoloola emirimu gye egy'obusawo. Yatikkirwa era nafukka omusawo omukugu mu kujjanjaba abakyala n'okuzaalisa abakyala b'embuto okuva mu Royal College of Obstetricians and Gynaecologists mu London mu 1978, oluvanyuma lwokuyita ebigezo by'obwa mmemba mu Royal College of Obstetricians and Gynaecologists (MRCOG).[5][6] Emirimu gye yagitandikira mu ddwaliro ly'e Mulago Hospital mu Kampala, Uganda, ng'omukugu mu kujjanjaba abakyala saako n'okubazaalisa ng'eyo yakolerayo mu 1971.[1]

Oluvanyuma lw'omwaka nga yegezaamu mu ddwaliro lya Mulago Hospital, Yayingira okusomesa obusawo. Yali lekikyala ku Makerere Medical School okuva mu 1972 okutuusa mu 1974, oluvanyuma nafuuka lekikyala omukugu okuva mu 1974 okutuusa 1976, n'oluvanyuma nafuulibwa addirira pulofeesa okuva mu 1976 okutuusa mu 1977.[1]

Yeyongerayo n'emurimu gye ng'omusawo omukugu ebulaaya, nga asomesa mu Yunivasite y'abasawo eya University of Nairobi Medical School ne mu University of Zambia School of Medicine nga lekikyala omukugu mu 1978.[1]

Emirimu gye egy'ebyobufuzi

[kyusa | edit source]

Okuggyako emirimu gye egy'obusawo ne Pulofeesa omujjanjaba abakyala saako n'okubazalisa, John Mikloth Magoola Luwuliza-Kirunda yali omu ku bannabyabufuzi ab'amaanyi mu Gavumenti ya Apollo Milton Obote ey'okubiri, era yali amannyikiddwa nga "ow'amaanyi" era "omuvumu" mu by'obufuzi bya Busoga ne Uganda.[2] yali mmemba w'ekibiina kya Uganda People's Congress okuva mu 1960, era yali Muwandiisi w'ekibiina kya Uganda People's Congress mu 1966 okumala emyaka ebiri.[1]

Ng'akyakola nga lekikyala omukugu mu kisaawe ky'okujjanjaba abakyala n'okubazaalisa, Luwuliza-Kirunda yetaba mu Uganda National Liberation Front. Wansi w'obukulembeze bwa Gavumenti ya Uganda National Liberation Front eya Paulo Muwanga wamu n'akakiiko ka Pulezidenti aka Uganda, Luwuliza-Kirunda yaweereza nga Minisita w'abakozi okuva mu Gwokutaano 1980 okutuusa mu kalulu Uganda aka bonna aka 1980 mu Gwekkuminebiri 1980. Mu kaseera ako, Luwuliza Kirunda yaweereza nga omuwandiisi wa Uganda People's Congress, ekyaleetera akalulu ka 1980 ekibiina kya Uganda People's Congress bwekyawangula ebifo 75 ku bifo 126.[7][8]

Apollo Milton Obote yaddamu n'afuuka Pulezidenti wa Uganda mu 1980, mweyalondera Luwuliza-Kirunda okubeera Minisita ow'ensonga z'omunda mu Uganda, nga mu kulondebwa kwe yakolerako n'emirimu gy'obukulu bwa Poliisi ya Uganda n'omukulembeze w'amagye eg'enjawulo n'amakomera.[2] Nga 10 Ogwokutaano 1981, yaggalawo empapula z'amawulire nnya omwali Weekly Topic ne Citizen era n'asiba abasunsuzi b'empapula zino olw'okufulumya emboozi ezaali z'ogera ku Luwuliza Kirunda ne ba mmemba abagagga abalala abaali ku lusegere lwa Obote.[2] Yasiba abantu nkumi n'ankumi nga muno mwa'alimu ne kizibwe we John Kirunda olw'okuvvola ekifaananyi kya Apollo Milton Obote.[2]

Era yakolerako eby'enjigiriza mu Uganda, naddala mu muluka gwa JIK ogwali gukola obwali Obwakabaka bwa Busoga (JIK kitegeeza Jinja, Iganga, ne Kamuli).[2] Yaddabiriza amasomero omwali Busoga College, Wanyange Girls' School, ne Kiira College Butiki, n'azimba n'amasomero amapya aga sekendule nga Kisiki College, Nkuutu Memorial Secondary School, Bubinga Girls' School, ne Nakabugu Girls' School.[2][9]

Mu 1985, John Mikloth Magoola Luwuliza-Kirunda yaleka ekifo ky'obwa Minisita w'ensonga z'omunda mu ggwanga nafuuka Minisita w'ensonga z'ebweru wa Uganda mu umpimpi,[10][11] nga tannava mu Uganda mu lutalo lwa 1985 Ugandan coup d'état n'okuddukira mu Kenya.[1]

Ebikwata ku bulamu bwe

[kyusa | edit source]

John Mikloth Magoola Luwuliza-Kirunda yawasa Margaret Marjorie Kaluma mu 1974. Bombi bazaala omwana omulenzi omu n'abawala bana. Luwuliza-Kirunda bagenda ebulaaya oluvanyuma lw'olutalo lw'ekiyekera olwa 1985 Ugandan coup d'état, ng'abeera Nairobi, Kenya mu myaka gya 1990 ne mu Zimbabwe mu 2000.[1]

Okufa kwe

[kyusa | edit source]

Nga 8 Ogwomunaana 2005, John Mikloth Magoola Luwuliza-Kirunda yaffiira mu kalwaliro k'omukyalo e Zimbabwe.[2]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]