Jump to content

John Musinguzi Rujoki

Bisangiddwa ku Wikipedia

John Musinguzi Rujoki (yazaalibwa c. 1973), Munnayuganda omumanyi mu kubala era omukulembeze w'ekitongole omukulu nga aweereza nga omukulu mu Kulaba enzirukanya y'emirimu mu Kitongole Ekiwooza Ky'omusolo mu ggwanga, okuva nga 2 Ogwokuna 2020.[1]

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | edit source]

Musinguzi yazaalibwa mu Rubirizi, Uganda nga asuubirwa okuzaalibwa mu 1973. Nga amaze okusomera ku masomero g'omukitundu, yaweebwa ekifo mu Ntare School, essomero ly'abalenzi bokka ery'ekitiibwa erisangibwa mu kibuga ky'eMbarara, nga eno gyeyasomera siniya ey'omukaaga. Oluvannyuma yaweebwa ekifo ku Makerere University, nga eno y'e Ssettendekero ya Gavumenti, esinga obukulu n'obunene mu Uganda. Eno yatikkirwa ne where he graduated with a Diguli ya Sayansi mu By'okubala. Yeeyongerayo ku University of Greenwich, esangibwa mu Bungereza, nga eno yatikkirwa ne Diguli Ey'okubiri eya Sayansi mu bya Kompyuta n'okukola Information Systems.[2]

Omulimu gwe

[kyusa | edit source]

Mu 2000, Rujoki yaweereza nga akulira eby'ensimbi n'okubalirira mu Special Revenue Protection Services (SRPS), nga kino ky'ekitongole ky'amagye ekikwatagana n'ekitongole Ky'eggwanga Ekiwooza Omusolo ekya URA. Ekitongole kino kyebazibwa nnyo olw'okumalawo okukukusa ebyamaguzi ku nsalo za Uganda ku Nyanja Nalubaale.[3]

Mu Gwokuna okukulembera mu URA, nga omukulu mu kulaba enzirukanya y'emirimu nga adda mu bigere bya Doris Akol, eyali aweerezza okumala omwaka gumu n'emyezi etaano ku myaka ena gyebaali bakkaanyako mu buwandiike. Mu nnaku nkaaga mu kifo kino, abakulu bana abaali bakola mu ekitongole baasaba okulekulira era okusaba kwabwe nekukkirizibwa ab'akakiiko akaddukanya ekitongole.[3][4]

Ebirala ebimukwatako

[kyusa | edit source]

Okwongereza ku mirimu gye emirala, Rujoki aweereza nga Ssentebe w'akakiiko akakulira Ekitongole kya National Information Technology Authority (NITA-U), okuva mu Gwekkumi gwa 2019.[3] Era ye muwi w'amagezi omukulu ku nsonga Z'ebyempuliziganya ne Tekinologiya ow'omukulembeze w'eggwanga okuva mu 2015.[2] Mu busobozi bwe. nga Akulira okulaba enzirukanya y'emirimu, atuula ku kakiiko akakulira Ekitongole Ekiwooza Ky'omusolo mu Ggwanga akatuulako abantu omusanvu bga beyaddira mu bigere bwe baakolanga.[5]

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. https://www.softpower.ug/new-era-at-ura-as-musinguzi-rujoki-assumes-office-as-6th-commissioner-general/
  2. 2.0 2.1 https://www.monitor.co.ug/News/National/Musinguzi-Rujoki-man-wielding-big-axe-URA/688334-5568328-10onvgnz/index.html
  3. 3.0 3.1 3.2 https://www.ceo.co.ug/john-musinguzi-rujoki-a-portrait-of-the-reformer-at-uganda-revenue-authority/
  4. https://www.monitor.co.ug/News/National/URA-begins-new-era-integrity-four-more-senior-staff-exit/688334-5567768-71viwr/index.html
  5. https://www.monitor.co.ug/News/National/Government--URA--board-members--Kasaija-Finance/688334-3517272-myksv3z/index.html