Jump to content

Johnson Twinomujuni, omuwandiisi w’ebitabo

Bisangiddwa ku Wikipedia

Johnson Twinomujuni [1]mulabirizi wa Kkanisa ya Uganda[2] : okuva mu 2017 aweerezza nga Omuulabirizi wa West Ankole [3].

Twinomujuni yazaalibwa mu 1968 e Muko mu Disitulikiti y’e Mbarara . Yasomera mu ttendekero lya African Bible College e Malawi ; Seminaliyo y’eby’eddiini eyalongoosebwamu e Jackson, Mississippi, mu Amerika ; ne Uganda christian university . Yatuuzibwa ku bu dyankoni mu Gwekkumi n'ebbiri mu 1998, ate mu Gwekkumi n'ebbiri 1999 naatuuzibwa okubeera omubuulizzi. Twinomujuni abadde aweereza ekkanisa mu Kibingo Parish, mu bulabirizi bw’e Ankole, ng’omukwanaganya w’Emisomo gy’Obulabirizi mu bulabirizi bw’e Ankole, Owebyeddini ku Maryhill High school, owebyeddini ku St. Luke’s Chapel Mbarara University of Science and Technology, era ng’omusomesa ow’ekiseera ekigere ku mpisa z’Ekikristaayo, Endagaano Enkadde, Endagaano Empya n'Endowooza z'Ensi mu Bishop Stuart University.

Era yaliko omu ku baatandikawo era omukulu w’ettendekero lya Uganda Bible Institute e Mbarara mu Uganda. Yatukuzibwa n’okutuuzibwa ku ntebe y’Omulabirizi nga 28 May 2017 mu Lutikko ya St. Peter’s, Bweranyangi, Bushenyi.[4]

Ebjuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. https://www.pmldaily.com/oped/2020/01/bishop-johnson-twinomujuni-response-to-pastor-bugingos-attack-on-the-church-and-marriage-as-a-lifetime-institution.htmlPML Daily
  2. https://mknewslink.com/bishop-johnson-twinomujuni-calls-for-unity-in-west-ankole-diocese/
  3. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1496497/west-ankole-diocese-bishop-tips-students
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2018-01-16. Retrieved 2024-08-31.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)