Jump to content

Joint Energy Environment Projects

Bisangiddwa ku Wikipedia

  

Joint Energy Environment Projects (JEEP) kitongole ekitakola magoba mu Uganda ekyatandikibwawo mu 1983[1] Ruth Kiwanuka oluvanyuma lw'okutema emiti n'okukulukuta kw'ettaka lwe by'ayanjulwa ng'ebyentiisa eri ebyobulamu n'embeera ya Bannayuganda. Ekigendererwa kya JEEP kya kulwanyisa okwononebwa kw'obutonde n'okukuuma eby'obugagga by'omuttaka nga bayita mu kutendeka, n'okumanyisa abantu nga bayita mu misomo ku kukuuma obutonde bwensi.[2] JEEP ekola esigiri ezikekkereza amasanyalaze n'okutekayo ebyuma ebikozesa amaanyi g'enjuba okukozesa omuddo nga batuukira ddala ku balimi b'omukyalo.[3]

Ekisaawe ky'obukugu bwaabwe

[kyusa | edit source]

JEEPS essira elissa ku kukyusa mu nneyisa, okuzimba obusobozi, embeera y'ebifo ebyenjawulo/obutonde, ekikula ky'abantu / Abakyala okuweebwa omwagaanya, okulwanirira eddembe ly'obuntu/Enkola ey'okuddukirira, embeera z'abantu mwebawangalira, okunoonyereza, okumanyisa abantu mu bulango, okutendeka, okusimba emiti, okuzimba n'okutumbula amasigiri agakekereza amasanyale, n'amasanyalaze g'enjuba.[4][5]

Obukugu obulala obw'ekitongole

[kyusa | edit source]

JEEP emanyisiza abantu ku nkekereza y'amasanyalaze g'ekiyungu mu abantu 16,000 mu Disitulikiti 13, era n'etendeka abantu abakunukkiriza 16,000 okukola essigiri ezikekereza enku okuva mu bitoomi mu Disitulikiti 15.[6] JEEP esomeseza abantu abasoba mu bukadde 10 era n'okuzimba ebyoto byamasomero 49, amalwaliro, amakomera, Yunivasite, n'amatendekero amalala.[7]

Be bakolagana n'abo

[kyusa | edit source]

JEEP mu kaseera kano ekolagana ne FAO Uganda, Nordic Folke center for renewable energy ne Energy North in Denmark ekikwasaganya pulojekiti z'okukuuma obutonde bw'ensi.[7]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. https://cleancooking.org/sector-directory/joint-energy-environment-projects-jeep/
  2. https://cleancooking.org/sector-directory/joint-energy-environment-projects-jeep/
  3. https://cleancooking.org/sector-directory/joint-energy-environment-projects-jeep/
  4. https://cleancooking.org/sector-directory/joint-energy-environment-projects-jeep/
  5. https://www.betterplace.org/en/organisations/8444-joint-energy-and-environment-projects-jeep
  6. https://cleancooking.org/sector-directory/joint-energy-environment-projects-jeep/
  7. 7.0 7.1 https://pciaonline.org/jeep/ Cite error: Invalid <ref> tag; name ":1" defined multiple times with different content