Jose Chameleone
Joseph Mayanja yazalibwa enaku z'omwezi nga 30 mu mwezi ogw'okuna mu mwaka gwa 1979),[1] ng'asinga kumannyikwa nga Jose Chameleone munayuganda omuyimbi ng'akuba ennyimba ekika kya AfroBeat. Chameleone atera kuyimba mu lulimu oluganda, oluzungu n'oluswayiri Yatandika okuyimba mu ntandikwa y'emyaka gya 1990 ng'ali mu ggwanga ly'e Kenya ne kampuni y'abayimbi eya Ogopa Deejays, eyali ey'e Kenya ebiseera ebyo. Engeri Chameleone gy'ayimbamu atabikamu engeri y'ebivuga bya Uganda 'Ugandan folk', central African rumba, zouk, naatekamu ne reggae.[2]
Obulamu bwe n'eby'okusoma kwe
[kyusa | edit source]Joseph Mayanja yazalibwa omwami Gerald ne Prossy Mayanja enaku z'omwezi nga 30 mu mwezi ogw'okuna mu mwaka gwa 1979 mu disitulikiti y'e Kampala. Mwana wa kuna ku munaana abaazalibwa mu famire yabwe. Yagenda okusoma nga yasooka ku Nakasero Primary School, gyeyava okugenda ku Mengo Senior Secondary School, Kawempe Muslim Senior Secondary School, Katikamu Seventh Day Adventist Senior Secondary School, ne Progressive Senior Secondary School.[3]
Olugendo lwe mu bya muziki
[kyusa | edit source]Chameleone yatandika omulimu gw'okubeera omuyimbi mu mwaka gwa 1996 bweyali akola nga DJ mu kifo ekidigidirwamu kyebaali bayita 'Missouri night club' ekyali kisingaanibwa mu Kampala. Oluvannyuma yaweebwa endagaanoi aba kampuni ewandiika abayimbi okuva e Kenya gyebaali bayita Ogopa Deejays, abaafulumya oluyimba lwe olwali lusooka lwebaali bayita, "Bageya" nga yali n'omuyimbi okuva e Kenya gwebaali bayita Redsan.[2] Okuyita mu bulamu bwe bwonna akutte ennyimba ku butaambi obubadde obwetuunzi nga, Mama Mia, Mambo Bado, Jamila, Kipepeo, Bageya, Shida za Dunia, Bayuda, ne Njo Karibu. Wadde nga ennyimba zze za tutumu okwetoloola semazinga wa Afrika, abawagizi bbe n'abasinga okuziwuliriza basinga kuva mu bitundu by'amasekati ga Afrika omuli amawanga nga Congo, Rwanda, Burundi, Kenya, Uganda ne Tanzania.
Entambi
[kyusa | edit source]Jose Chameleone yafulumya olutambi lwe olwali lusooka mu mwaka gwa 2000 ng'okutuuka mu 2013, yali amazze okufulumya omugate gwa ntaambi 13 okwali ennyimba ez'enjawulo nga Kipepeo, Shida za dunia, Valu valu, Bayuda, Badilisha, Sweet Banana ne lwebayita Champion. Ezimu nnyimba zze ezaasinga okubeera ez'etutumu kwaliko "Valu valu", "Jamila", "Shida za dunia", Bayuda, "Tatizo", "Nkwagala nyo", "Kipepeo", "Dorotia" ne "Kipepeo". Yayimbira mu maaso gwa namungi w'omuntu eyali ku kisaawe kya Lugogo Cricket Oval mu Kampala.
Bageya, lwafulumizibwa mu mwaka gwa 2000, Mama Mia mu 2001, Njo Karibu ne The Golden Voice mu 2003, Mambo Bado mu 2004, Kipepeo mu 2005, Shida za Dunia mu 2006, Sivyo Ndivyo ne Katupakase mu2007, Bayuda mu 2009, Vumilia mu 2010, Valu Valu mu 2012, Badilisha mu 2013, Tubonge mu 2014, Wale wale mu 2015, Sili Mujjawo mu 2016, Sweet Banana mu 2017, Champion mu 2018.[3]
Kampuni ewandiika n'okubangula ebitone by'abayimbi
[kyusa | edit source]Y'akulira ekibiina ky'abayimbi ekimannyikiddwa nga Leone Island, ng'abayimbi ab'enjawulo bayise mu kibiina kino nga omugenzii Mosey Radio, Weasel, omugenzi AK 47, King Saha, Papa Cidy, ne Pallaso, Melody, Yung Mulo ne Big Eye.
Emirimu emirala
[kyusa | edit source]Eyaliko omwegezi wa palamenti ya Uganda, Rebecca Kadaga, yawa Chameleone ekitiibwa ky'okubeera omubaka w'eby'obulambuzi mu Busopga 'Ambassador of the Busoga Tourism Initiative'. Y'akulembera ekibiina kyebayita He also Directs Chameleone Foundation ng'ebirubirirwa byakyo bya kukulakulanya talaanta z'abavubuka nadala aba wansi abatalina abafaako ssaako n'okukulakulanya engeri gyebakolamu ebintu byabwe. [4]
Chameleone y'omu ku bayimbi abakozesa obumannyifu bwabwe n'eby'obugagga okulaba nga bayamba okukendeeza obwavu, n'okukola kakuyege w'okulaba ng'abantu bamannya engeri gyebayinza okwewalamu obulwadde bwa mukeneya oba siriimu.[5][6]
Aymbiddeko mu mawanga g'ebweru okuli Amerika, Bungereza, Sweden, Belgium,[7] Malaysia, China, South Afrika, D.R Congo , Zambia, Malawi, South Sudan, Girimaani, ne Switzerland n'endala nnyingi.
Obulamu bwe
[kyusa | edit source]Chameleone yawasa Danielle Atim, ng'abafumbo bano balina abaana bataano okuli ;Abba Marcus Mayanja, Alfa Joseph Mayanja, Alba Shyne Mayanja, Amma Christian Mayanja ne Xara Amani Mayanja abasomera n'okubeera mu Amerika.
Yeesimbawo ku bwa ofiisi y'okubeera loodi meeya wa Kampala mu mwaka gwa 2021.[8]
Ennyimba zze
[kyusa | edit source]Entaabi
[kyusa | edit source]Omwaka | Entaabi | Kampuni z'ayimbiddemu |
---|---|---|
2000 | Bageya | Ogopa Deejays |
2001 | Mama Mia | |
2002 | Njo Karibu | |
2003 | The Golden Voice | |
2004 | Mambo Bado | |
2005 | Kipepeo | |
2006 | Shida za Dunia | |
2007 | Sivyo Ndivyo | |
2007 | Katupakase | |
2009 | Bayuda | |
2010 | Vumilia | |
2012 | Valu Valu | |
2013 | Badilisha | |
2015 | Wale Wale | |
2016 | Sili Mujawo | |
2017 | Sweet Banana, Superstar, Mshamba | |
2018 | Champion, Mateeka, Kilabe
Tatizo |
|
2020 | Baliwa, Bolingo ya Nzambe | |
2021 | I am Joseph - Coming Soon |
Z'ayimbye yekka
[kyusa | edit source]
By'awangudde
[kyusa | edit source]- 2004 Pearl of Africa Music Awards (PAM Awards) – Omuyimbi w'omwaka n'oluyimba lw'omwaka olwa "Jamila"[9]
- 2005 Pearl of Africa Music Awards (PAM Awards) – Omuyimbi w'ennyimba z'ekika kya 'Afro Beat' asinga oba ekibiina, n'oluyimba olugwa mu tuluba lya Afro Beat olusinga olwa "Kipepeo" [10]
- 2004 Tanzania Music Awards – Olutaambi olusinga mu buvanjuba bwa Afrika olwa "Bei Kali"[11]
- 2005 Tanzania Music Awards – Olutaambi olusinga mu buvanjuba bwa Afrika olwa "Jamila"[12]
- 2006 Pearl of Africa Music Awards (PAM Awards) – Omuyimbi w'ennyimba z'ekika kya 'Afro Beat' asinga oba ekibiina[13]
- 2006 Kisima Music Awards – Oluyimba lwa Uganda olusinga olwa Mama Rhoda ne vidiyo y'oluyimba okuva mu Uganda eyali esinga eya Mama Rhoda
- 2007 Kisima Music Awards – Oluyimba lwa Uganda olwali lusinga olwa Sivyo Ndiviyo lweyakuba ne Professor Jay[14]
- 2014 HiPipo Music Awards lwaterekebwa mu naku z'omwezi 18 mu mwezi ogw'okumineebiri mu mwaka gwa 2014 mu kyuma kya Wayback– Oluyimba lwa mwaka olwa "Badilisha"
- 2013 African Entertainment Awards – IOmuyimbi omusajja munsi yonna eyali asinga [15]
- 2014 HiPipo Music Awards waterekebwa mu naku z'omwezi 18 mu mwezi ogw'okumineebiri mu mwaka gwa 2014 mu kyuma kya Wayback – Omuyimbi wa ZOUK omusajja eyali asinga n'oluyimba lwebayita "Badilisha"
- 2015 All Africa Music Awards (AFRIMA) – Omuwandiisi w'ennyimba eyali ow'omwaka [16]
- 2018 Galaxy Zzina Music Awards – ekirabo ky'eyaliko ow'etutumu mu kisaawe ky'okuyimba, 'Legend Award'[17][18]
By'alondeddwamu
[kyusa | edit source]- 2003 Kora Awards – Omuyimbi w'omubuvanjuba bwa Afrika eyali asinga[19]
- 2004 Kora Awards – Omuyimbi w'omubuvanjuba bwa Afrika eyali asinga[20]
- 2006 MOBO Awards – Best African Act[21]
- 2007 MTV Europe Music Awards – Best African Act
- 2012 Tanzania Music Awards – Oluyimba lw'omubuvanjuba olwali lusinga olwa Valu Valu[22]
- 2014 World Music Awards (mu biti busatu) –Omuyimbi omusajja eyali asinga, Eyali asinga okuyimba mu buliwo munsi yonna 'World Best Live Act & World Best Performer[23]
- 2015 MTV Africa Music Awards – MAMA Evolution Award[24]
- ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://kenyanlife.info/jose-chameleone/ - ↑ 2.0 2.1
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.howwebiz.ug/JChameleone/biography - ↑ 3.0 3.1
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.newvision.co.ug/articledetails/1509734 - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20220819154621/https://redpepper.co.ug/speaker-kadaga-for-tubonge-concert/ - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20210602215623/http://afrobios.com/-Chameleon - ↑
{{cite book}}
: Empty citation (help)https://link.springer.com/book/10.1057%2F9781137546975 - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20081010152350/http://www.busaramusic.com/database/artists.php?whereartistlike=%25Jose%20Chameleone%25 - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://allafrica.com/stories/201906050404.html - ↑ https://web.archive.org/web/20050204005728/http://pamawards.com/index.php?option=com_frontpagePAM Awards: 2004 Winners
- ↑ https://web.archive.org/web/20070702053829/http://pamawards.com/pages/2005.phpPAM Awards: 2005 Winners & Nominees
- ↑ https://web.archive.org/web/20041204012935/http://www.kilitimetz.com/winners.htmlTanzania Music Awards: Winners 2004
- ↑ https://web.archive.org/web/20060904080403/http://www.kilitimetz.com/2005/awards/winnersTanzania Music Awards: 2005 Winners
- ↑ https://archive.today/20121204190055/http://www.ugandaonline.net/2006PAM Awards 2006 Winners
- ↑ http://www.kisimaawards.co.ke/kminner.asp?cat=winners07Kisima Awards Winners 2007 Template:Webarchive
- ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.modernghana.com/music/22512/official-nominees-list-for-the-2013-african-entertainment-aw.html - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20171201032507/https://afrima.org/english/index.php/media2/news-update/171-2015-all-africa-music-awards-afrima-winners-list - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.galaxyfm.co.ug/2019/03/23/full-list-of-zzina-award-winners-2018-2019/ - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://bigeye.ug/zzina-awards-2018-heres-the-full-list-of-nominees/ - ↑ https://web.archive.org/web/20040302070738/http://www.koraawards.co.za/english/musicawards_finalists_res03.asp?Category_en=Best+Artist+-+East+AfricaKora Awards Nominees 2003
- ↑ http://www.yeahbo.net/KoraAwardsWinners2004.xlsKora Awards Nominees 2004 Template:Webarchive
- ↑ https://web.archive.org/web/20070928063807/http://www.ippmedia.com/ipp/guardian/2006/09/01/73555.htmlIPP Media: Jose Chameleon nominated for UK Music Awards In 2006
- ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)http://www.bongo5.com/kili-awards-2012-nominees-hawa-hapa-02-2012/ - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)http://chimpreports.com/17208-chameleone-nominated-for-world-music-awards - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20191010154319/http://m.dstv.com/news/mama-evolution-award-nominees-20150630