Josephine Nabukenya
Josephine Nabukenya Munnayuganda omulwanirizi w'eddembe ly'abantu abalina ekimwadde kya HIV/AIDS era alina akawuka ka sirimu HIV/AIDS.[1] Aweereza ku Stephen Lewis Foundation Youth nga coordinator wa pulogulaamu z'abavuka ku Yunivasitte y'e Makerere University Johns Hopkins University (MUJHU). Yaweebwa engule ya Queen’s Young Leader Award mu mwaka gwa 2016 olw'emirimu gye gyeyakola mu kumanyisa abantu ku kilwadde kino.[2][3][4] Ye w'ekibiina kya Elizabeth Glaser Pediatric AIDS Foundation (EGPAF)'s Ariel Club.[1] Yomu ku bakulembeze abato abakulira mu kutiisibwa n'ebafuuka abavumu era abakulembeze abavuka abamaanyi abafuba okuwa abaana abalala ly'okubeerawo nga basnyufu era nga bwe bamira eddagala lyaabwe.[5]
Obulamu bw'emabega
[kyusa | edit source]Josephine Nabukenya abadde abeera n'akawuka ka mukenenya aka HIV okuva mu buto naye yali tamanyi mbeera ye eno okutuusa bweyalina emyaka munaana bweyagwa ku baluwa eyali ewandikiddwa maama we eyamubuulira ekituuffu.[2] Ye omuli ne maama we, taata, ne muganda we omuto omuwala bonna balina akawuka ka siriimu aka HIV naye Josephine ne muganda we bombi bazaalibwa n'akuwaka kano.[2] Bwe yategeeza abantu ku mbeera y'obulamu bwe, yatandika okufuna obujanjabi.[2] Josephine yayanirizibwa mu kibiina kya Elizabeth Glaser Pediatric AIDS Foundation’s Ariel Club mu kaseera katini bwe yatandika okufuna obujanjabi bwaantiretroviral therapy mu ddwaliro lya wansi.[2] Oluvanyuma yafuuka omukulembeza nga facilitator mu Ariel Club, nakumbera munkuugaana okuyamba abaana abalala okukiriza embeera yabwe oy'okubeera ne HIV era banoonye obujanjabi bwe beetaaga okusigala nga balamu bulungi.[2] Mu bissera bye yali ku Ariel, yakozessa olugero lwe okulungamya obalala okulwanisa ebizibu byona ebiysangibwa abo abalina akawuuka ka HIV.[2] Era yakozesa omubuvum mu suubi ly'obulamu bwe obwanwerera ddala.[2] Okutuusa kati Josephine yeyongedde okwogera nga Ambassador wa EGPAF nga ayita mu mirimu gye ne Ariel Clubs mu Uganda okwogerea mu maaso ga ba mmemba ba U.S. Congress.[2] Olugero lwe lw'ongedde okuwa abalala esuubi okuyiga ku kilwadde kya HIV era okulwaanisa obuswaavu obutekeddwa kw'abo abamulina era n'okusosolebwa.[2]
Josephine Nabukenya yalaba maama we, Margaret Lubega, nga alwaana n'ekilwadde era olunaku lumu n'asalawo okugenda mu ddwaliro lya Mulago National Referral Hospital eyo jye yasabba okukebelebwa. Yadde, yali muto nnyo okuteegeera ekyaali kigenda mu maaso era ajjukira ku genda mu ddwaliro lya Mulago National Referral Hospital era n'okuzannya n'abaana beyasangayo abamu ku keeki n'ebyokunwa.[6]
Yatandikawo Young General Alive (YGA), ekitongoole ekyasooka okubaamu Lubega, maama w'omwana omulala n'omwaana era n'omulwadde omulala gwe baali basisinkanye mu Ddwaliro ly'e Mulago mu kukyala okumu. Mu 2005, Makerere University - Johns Hopkins University Research Collaboration (Mujhu) yabayamba okutongoza ekibiina kyaabwe.[5]
Emisomo
[kyusa | edit source]Alina diguli mu Social Work okuva mu Yunivasitte y'e Makerere mu Uganda.[2]
Emirimu
[kyusa | edit source]Mu 2005, wansi wa EGPAF, yakiikirira abaana abasigibwa akawuuka era naabo abalina akawuka ka HIV/aids mu US congress.[5]
Laba ne
[kyusa | edit source]- Queen's Young Leader Award
- Stephen Lewis Foundation
- Yunivasitte y'eJohns Hopkins
- Elizabeth Glaser Pediatric AIDS Foundation
- [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Makerere_University Yunivasitte y'e Makerere]
Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ 1.0 1.1 https://www.newvision.co.ug/news/1428165/ugandan-2016-queen-leaders-award-winners
- ↑ 2.00 2.01 2.02 2.03 2.04 2.05 2.06 2.07 2.08 2.09 2.10 https://www.pedaids.org/about/egpaf-ambassadors/josephine-nabukenya/ Cite error: Invalid
<ref>
tag; name ":0" defined multiple times with different content - ↑ http://www.queensyoungleaders.com/awardee/josephine-nabukenya/
- ↑ https://chimpreports.com/queen-elizabeth-to-honour-ugandan-youth/
- ↑ 5.0 5.1 5.2 https://www.newvision.co.ug/tag/prof-josephine-nabukenya/ Cite error: Invalid
<ref>
tag; name ":1" defined multiple times with different content - ↑ https://www.monitor.co.ug/Magazines/Life/Nabukenya-uses-her-HIV-positive-status-to-empower-children/689856-3255624-4mnxesz/index.html