Jump to content

Josephine Nambooze omusajja omulala

Bisangiddwa ku Wikipedia

Josephine Nambooze munnayuganda Omusawo, omukugu mu by'obulamu bya bantu, munnabyanjigiriza, omunoonyereza ku by'obujjanjabi . Ono kakensa wa by'abulamu mu Yunivaasite eye Makerere University School of Public Health . Nambooze ye mukyala eyasooka okuva mu East Africa okutuukiriza ebisaanyizo by'okubeera omusawo mu myaka egya 1959.

Ebyafaayo n’obuyigirize

[kyusa | edit source]

Nambooze yazaalibwa Nsambya, ekyaalo mu Kampala eri Joseph Lule omusomesa w’amasomero ne Maria Magdalena Lule omukyala ow’awaka. Ye mukulu ku baana 13. Yasomera mu St. Joseph's Primary School Nsambya, ne Mount Saint Mary's College Namagunga . Ng'ali e Namagunga, yasoma amasomo ga ssaayansi. Olw’okuba mu kiseera ekyo mu ssomero lino tewaalingawo laboratory, yasoma emisomo gye egya ssaayansi mu Namilyango College, essomero lya siniya ery’abalenzi abasulamu kilommita 25.5(16 mi) Obuvanjuba bwa Namagunga.

Mu makkati g’emyaka egya 1950, yayingizibwa mu Makerere University School of Medicine okusoma eddagala ly'abantu, omukyala eyasooka mu byafaayo by’essomero lino. Oluvannyuma lw'okutikkirwa e Makerere, yakola amasomo aga Postgraduate e Bungereza ne Amerika, olwo n'adda mu Uganda mu 1962.

Obumanyirivu

[kyusa | edit source]

Yeegatta ku bakozi ku yunivaasite eye Makerere mu 1962 ng’omusomesa we by’obulamu bw’abantu n’eby'obulamu bya bakyala abali embuto n’abaana. Yaweebwa obuvunaanyizibwa bw’okulabirira eddwaaliro erya Kasangati Health Centre, ekifo ekisomesebwamu essomero lya Makerere University School of Public Health . Oluvannyuma yafuuka omusomesa omukulu, omuyambi wa kakensa, era kakensa omujjuvu. Era abaddeko omukiise w’ekitongole ky’ebyobulamu ekye'ensi yonna (WHO) e Botswana era nga y'akulira obuyambi bw'obuweereza bw'eby'obulamu mu nkulaakulana mu kitongole ekya WHO e Brazzaville, Congo. [1]

Laba ne

[kyusa | edit source]

Ebijulizidwa

[kyusa | edit source]
  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named Academic

Emikutu emirala

[kyusa | edit source]