Jump to content

Josephine Okot

Bisangiddwa ku Wikipedia

Josephine Okot munayuganda, mukyala omusuubuzi, mutandisi w'emirimuera avunaanyizibwa ku nsonga z'ekikugu. ye mutandisi, avunaanyizibwa ku ntambuza y'emirimu buli lunaku era mu kampuni eya Victoria Seeds Limited. Ekola ku by'obulimu nga bya bizinensi esangibwa mu Uganda ekola ku kusunsula,okusiba n'okutunda ensigo eri abalimi munsi eziri mu mawanga agali mu Great Lakes mu Afirika.

Ebyafaayo n'okusoma

[kyusa | edit source]

Okot yazaalibwa mu disitulikiti y'e Gulu, mu kitundu eky'omu mambuka aga Uganda. Yasomera ku Makerere University Business School (MUBS) era n'afuna okutendekebwa okuva mu Harvard Business School n'okuva mu Stanford Graduate School of Business, byombi mu U.S. Okot alina okutendekebwa okw'amaanyi n'obumanyirivu mu bizinensi ez'eby'obulimi n'obulunzi. Kigambibwa nti alina Master of International Business, okuva mu Washington International University.

Emirimu

[kyusa | edit source]

Okot yatandikawo Victoria Seeds Limited mu 2004, ng'ekigendererwa ekisooka nga kwe kuwa abalimira awafunda ensigo ez'omutindo, nga basookera mu ggwanga munda oluvannyuma badde ku bitundu.

Kkampuni ya Okot yafuna obukakafu bw'ensimbi okuva mu pulojekiti ya USAID, ekyamusobozesa okufuna ensimbi ez'entandikwa. Victoria Seeds Limited erina akakwate n'abalimi 900 ab'omu byalo, ng'abasinga kubbo bakyala. Kkampuni etunda ebika by'ensigo kumpi ebika 100, okuyita mu matundiro agasoba mu 400 agatunda ebikwatagana n'abasuubuzi b'eby'obulimi. Mu Ogwomunaana ogwa 2011, kampuni yafuna obukadde obusukka mu US$2.5 n'abakozi nga 140.

Okuva mu 2013, Victoria Seeds Limited yekumira ebifo bisatu eby'okukungula ensigo (a) ekifo ekisooka e Gulu, Northern Uganda ekyatandikibwawo mu 2004 (b) ekifo eky'okubiri ekiri mu kibuga Masindi, mu Western Region ya Uganda, ekyatongozebwa mu 2011 ne (c) ekitebe ekikulu ekya kkampuni ekipya n'ekifo ekigya ekiri mu Kampala Industrial and Business Park, mu Namanve, Kira Municipality, Wakiso District, ekyatandikibwa mu 2012.

Awaadi

[kyusa | edit source]

Mungeri ey'okusiima amaanyi ge, okulemerako n'okubangula, Okot yafuna ebirabo by'eggwanga n'ebweru w'eggwanga omuli awaadi nga Yara Prize mu 2007. Mu 2009, yafuna ekirabo kya Oslo Business for Peace Award olw'okutumbula empisa n'engeri z'okubeera n'obuvunaanyibwa mu nkola ez'obusuubuzi. Mu 2013 Victoria Seeds yafuna ekirabo kya Uganda Responsible Investment Award mu Best Seed Company 2013.

Laba era

[kyusa | edit source]

Ebyawandiikibwa

[kyusa | edit source]

Enkolagana ez'ebweru

[kyusa | edit source]