Jump to content

Jotham Tumwesigye

Bisangiddwa ku Wikipedia

Jotham Tumwesigye Munamateeka Omunnayuganda era omulamuzi eyakawereza nga Omulamuzi mu Kkooti ya Uganda Enkulu okuviira ddala mu 2009.[1][2]

Obulamu bwe n'obuyigirize bwe

[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu myaka gya 1948.[2] Yatikirwa okuva kutendekero lya Makerere University mu 1974, ne Diguli mu By'amateeka. Alina ne Dipulooma mu by'okwenyigira mu Mateeka.[2]

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Oluvannyuma lw'okubeera ng'amazze okutikirwa okuva kutendekero eribangula ba namateeka eriyitibwa Law Development Centre,yakolako nga ssaabawaabi wa gavumenti mu Minisitule ya Uganda evunaanyizibwa ku by'amateeka okutuusa mu 1981.[3]

Wkati wa 1981 ne 1986, yabeerako mu buwangaguse mu Kenya, gyeyali omusomesa kutendekero lya Kenya Institute of Administration; ng'etendekero lino ensangi zino kimannyikiddwa nga Kenya School of Government.[2] Y'omu kubaali ku kibinja ekyakola Ssemateeka wa Uganda mu 1995. Oluvannyuma, n'awereza nga Saabawaabi wa Gavumenti, gyeyava okubeera ssentebe w'Akakiiko ka Uganda akavunaanyizibwa ku By'eddembe Ly'abantu.[4] Okuva mu 2000 okutuuka mu 2009, yawereza nga Saabawaabi wa Gavumenti. Mu 2009, yaweebwa omulimu gw'okubeera nga yali agenda kukolera mu Kkooti ya Uganda Enkulu.[3][4]

Ebirala byeyateeka ngako esira

[kyusa | edit source]

Okwongereza ku mirimu gye ku Kkooti Enkulu, Jotham Tumwesigye yali agatako okukola nga eyali akulira akakiiko akaali kakwasisa empisa z'abanamateeka. Yeeyali akiikirira banamateeka mu Uganda ku kakiiko akavunaanyizibwa ku by'emirimu gy'abanamateeka, ekifo kyeyatwala okuva ku eyali Saabalamuzi, Bart Magunda Katureebe.[5] Asembyeyo nga awereza nga ssentebe w'ekitongole ekivunaanyiziba ku by'omutuuze n'okuyingira ssaako okufuluma eggwanga, agamu ku matabi ga Minisitule ya Uganda evunaanyizibwa ku by'Ensonga z'Omunda mu Ggwanga.[3][4]

Laba nebino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | edit source]

Ewalala w'oyinza okubiggya

[kyusa | edit source]