Jump to content

Jovanice Twinobusingye

Bisangiddwa ku Wikipedia
Twinobusingye Jovanice.jpg

Jovanice Twinobusingye ey'e kumineemu munabyabufuzi Omunayuganda, munamateeka atuula kukakiiko akakola amateeka era omukyala oubaka akiikirira Disitulikiti ya Kiruhura mu Paalamenti ya Uganda ey'e kumineemu.[1][2][3][4][5] Y'omu kubali mu kibiina kya National Resistance Movement oba kiyite NRM.[1][3][6] Atuula kukakiiko ka Paalamenti akakola mukuwereza abantu, wamu ne gavumenti z'ebitundu, nga kakubiriza Hon. Onzima Godfrey.[7]

Emirimu gye nga munabyabufuzi

[kyusa | edit source]

Twinobusingye yawangulwa Mary Begumisa webaali bavuganya ku ani yali agenda okuweebwa tikiti y'okukiikirira NRM ku ky'omukyala omubaka eyali agenda okukiikirira Sembabule mu Paalamenti.[8] Yawangula akamyuufu ka NRM oluvannyuma lw'okuwangula Nuweahereza Phionah ne Mwiine Sheillah okufuuka eyali agenda okukwatira NRM bendera mu kulonda kwa bonna mu Uganda okwa 2021.[2] Twinobusingye yawangula okulonda kwa bonna okwa 2021 okufuula omukyala eyali agenda okukiikirira Disitulikiti ya Kiruhura mu Paalamenti ya Uganda eye kumineemu.[4]

Twinobusingye yali ou kumusingi gwa Rebecca Kadaga bweyali atongoza okusaba kwe okwesimbawo ekisanja eky'okusatu mu ofiisi, bweyali mu kakuyege w'okwagala okuddamu okumulonda ku Speke Resort e Munyonyo mu Kampala.[9]

Emirimu emirala

[kyusa | edit source]

Twinobusingye yali omu babaka ba Paalamenti ya Uganda abaakabira ng'embeera embi enguudo za konsitituweensi ye gyezaalimu, wabula nga banamateeka baali bawagira gavumenti okwongera amaanyi munkozesa y'enguudo, nga kino kyayisibwa Alex Ruhunda, mu kaseera k'okukomekereza sabiiti y'okulaba nga buli omu abeera mu mbeera nungi ng'akozesa enguudo mu ggwanga lyonna. Yagamba nga bwebaalina enguudo embi, nga kiva kumbaliriza embi eya Minisitule evunaanyizibwa ku by'emirimu n'entambula.[10][2]

Obukuubagano

[kyusa | edit source]

Twinobusingye yawakanya ebyava mu kulonda kwa kamyuufu ka NRM aka 2020, bweyali awanguddwa Mary Begumisa mu lwokaano lwani eyali agenda okuweebwa tikiti ya NRM okwesimbawo ku ani yali agenda okuvuganya ku kifo ky'omukyala eyali agenda okukiikirira Sembabule mu Paalamenti. Joy Kabasti eyawakanya naye ebyava mu kulonda kuno yali agamaba abalondesa abasinga mu ma gombolola agamu baawambibwa okumala esaawa eziwera, webaali bagaba obukonge kwebalondera mu Disitulikiti webaalina okulondera, nga agamba tewali wano byava mu kulonda webaali bisobola kubeera nga byali byesigamwako.[8]

Twinobusingye yali omu ku bana abaali ku musanvu mu kibiina kya kamyuufu ka National Resistance Movement mu konsitituweensi za Mawogola Ey'obukiika Ddyo ne mu Bugwanjuba,[11] Disitulikiti ya Sembabule abaagana okukozesa nanga muntu mu kamyuufu ka NRM mu 2020 nga eky'okugobererwa ekyayisibwa Tanga Odoi, nga buli mulonzi yali wa kwolesa nanga muntu ye, nga tanakirizibwa kulonda oyo gweyali ayagala. Odoi yategeeza nga akaiiko akavunaanyizibwa ku by'okulondesa bwekaali kagenda okusengeka abakungu abaali bagenda okulonda, olw'ensonga nti baali baagala kugyamu bataali batuuze mungeri y'okukwasaganya abaali bagaala okucankalanya era n'ategeeza nti okukozesa ebikwogerako bino kwali kwakulemesa abantu okuddamu okulonda enfunda eziwera, nadala nga bava mu konsitituweensi endala. Twinobusingye yawa ensoga bbiri olw'okugaana kwe, ng'eyasooka yali nti abalonze bangi baali basuula kaadi zaabwe oba nga beewandiisa wabula nga tebazikima nga yo ku kitongole ekivunaanyizibwa ku by'okuwandiisa abantu ekya NIRA. Ensonga ey'okubiri yali nti abalonze bangi baali balimbiddwa abaali beesimbyewo abatuuka n'okubawambako nanga muntu zaabwe nga eky'okwekuumisa oluvannyuma lw'okubeera nga baali baabawa enguzi.[12]

Laba ne bino

[kyusa | edit source]
  1. Rebecca Kadaga
  2. Flora Natumanya
  3. Disitulikiti ye Sembabule

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 https://www.newvision.co.ug/articledetails/103076
  2. 2.0 2.1 2.2 https://www.independent.co.ug/mps-decry-poor-state-of-roads-in-constituencies/
  3. 3.0 3.1 https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/twinobusingye-jovanice-10420/
  4. 4.0 4.1 "Archive copy". Archived from the original on 2024-05-21. Retrieved 2024-03-30.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. https://pearlpost.co.ug/news/politics/list-of-winners-and-losers-of-2021-member-of-parliament-elections/
  6. http://www.ugandadecides.com/aspirant.php?profile=2795
  7. https://parliamentwatch.ug/committees/committee-on-public-service-and-local-government/
  8. 8.0 8.1 https://www.independent.co.ug/minister-kabasti-three-others-in-sembabule-reject-results/
  9. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/kadaga-takes-on-oulanyah-3336450
  10. https://www.parliament.go.ug/news/5506/mps-decry-poor-state-roads-constituencies
  11. https://elitenewsug.com/nrm-electoral-commission-has-released-the-list-of-nominated-canidates-in-2020-primaries/
  12. https://www.independent.co.ug/candidates-reject-use-of-national-ids-in-sembabule-nrm-primaries/