Jump to content

Joy Kabatsi

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Joy Kabatsi, also Joy Kabatsi Kafura (1 Ogwokubiri 1954),[1] Munnayuganda Munnamateeka, mulimi era munnabyabufuzi. Mu Gusooka 2020, ye yali Minisita omubeezi ow'byentambula mu Kabinenti ya Uganda, okuva mu Gwekkumi 2019.[2] Ava mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement.

Ng'ebyo tebinnatuukawo, okuva mu Gwomukaaga nga 6, 2016 okutuusa nga 14 Ogwekkuminebiri 2019, yaweereza nga Minisita omubeezi ow'amakolero g'ebisolo mu Kabinenti ya Uganda. Y'adda mu bigere bya Bright Rwamirama, eyali asuuliddwa okuva mu Kabinenti.[3] Okusinziira ku kifo kye eky'obwa Minisita, yali mmemba mu Paalamenti ya Uganda eye 10 (2016 okutuusa 2021).[4]

Obuto bwe n'emirimu gye

[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Sembabule, mu Buganda, Uganda, nga 1 Ogwokubiri 1954. Yasomera ku Bweranyangi Girls' Senior Secondary School mu misomo gye egya O-Levo. Yakyusibwa n'atwalibwa ku Namasagali College mu misomo gye egya A-Levo, yatikkirwa mu 1973. Yasomera ku University of Dar es Salaam, nga yatikkirwa Diguli mu mateeka mu 1981. Oluvanyuma, yafuna Dipuloma mu kukola amateeka okuva ku Law Development Centre.[5]

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Emirimu gye yagitandiika mu 1982, ng'omutendesi mu ttendekero lya National Institute of Public Administration, mu Lusaka, Zambia, nga yaweereza mu busobozi obwo okutuusa 1987. Okuva mu 1987 okutuusa 1988, yaweereza ng'akulembera World University Service International, nga n'ayo esangibwa mu Lusaka, Zambia. Yakomawo mu Uganda mu 1988 era yakolera ne ku Minisitule y'ebyensimbi, okubalirira n'ebyenkulakulana (Uganda), nga yaweerezako mu Bbanka y'ensi.

Mu 1997 yakyusibwa n'atwalibwa mu kitongole kya Uganda Revenue Authority (URA), nga yakolera eyo okutuusa mu 2001, nga akulira n'okulondoola enkugaanya y'omusolo (mu mateeka). okuva mu 2002 okutuusa 2004, yaweereza nga omumyuka akulira ekitongole kya URA. Okuva awo, y'adda mu Offisi ya Pulezidenti, nga yali aweereza nga akulira dipaatimenti y'abannamateeka okuva mu 2009 okutuusa mu 2012. Nga tannaba kulondebwa mu kifo ekyo, Kabatsi yali mutunzi w'amata. Abadde Mneja wa Entuutsi Rural Enterprise Limited', okuva mu 2005.

Y'esimbawo ku ky'omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y'e Sembabule mu Paalamenti ya Uganda, emirundi esatu egy'omuddiringanwa naye nga awangulwa.[6][7] Nga 6 Ogwomukaaga 2016, yalondebwa nga Minisita omubeezi ow'amakolero g'ebisolo.[8]

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

[kyusa | edit source]