Joyce Kakuramatsi Kikafunda

Bisangiddwa ku Wikipedia

  

Joyce Kakuramatsi Kikafunda Munnayuganda, muyivu, era musomesa eyaweereza nga Ambasada wa Uganda mu Bungereza okuva mu 2013.[1] Pulofeesa w'eby'obulimi n'emmere mu Makerere Yunivasite, yetabye mu Pulojekiti z'okulwanyisa obwavu n'okendeeza ku ndya embi mu baana.[2] Yali mmemba ku kakiiko ak'esigika ak'ettendekero lya International Rice Research Institute okuva mu 2010-2015.

[3]

Obuto bwe n'emisomo gye

Kikafunda yazaalibwa mu myaka gya 1950 mu kyalo ky'e Rwengyeya, Kararo Parish, Ggombolola y'e Kyeizooba, Disitulikiti y'e Bushenyi, eri omugenzi Erieza ne Ednance Kakuramatsi.[4]Ye mwana ow'okuna mu baana omukaaga wabula ye yekka akyali omulamu n'olwekyo abadde n'abantu bangi abamwesigamyeko okulabirira n'okuweerera. Yasomera ku Gayaza High school era nga OG atambulidde ku ngombo y'essomero eya "towanikanga"[5]. Mu 1976, Kikafunda yatikkirwa Diguli mu By'obulimi ku Ssettendekero wa Makerere. Oluvanyuma lwa Diguli y'e mu by'obulimi, yagenda mu Canada okusoma Diguli ey'okubiri mu by'okulima emmere ne tekinologiya mu Yunivasite ya Saskatchewan. [6][7]


Emirimu gye

Ku nkomerero y'omwaka 1980, yakomawo mu Uganda era n'alondebwa nga omusomesa w'essomo lya Food science and Technology erya ly'akatandiikibwawo. Yakulembera Dipaatimenti eno okumala emyaka 12. Mu 1993, yaddayo mu University of Reading, UK, ng'eno gye yatikkirwa PhD mu Food science and nutrition[8]. Mu 1998, yalinnyisibwa ku ddaala lya lekikyala omukulu ow'essomo lya Food science and Technology. Mu 2006, yalondebwa ku kifo ky'omumyuka wa Pulofeesa nga tannafuulibwa pulofeesa ajjude ekifo ekisinga ku ddaala lya Yunivasite mu 2009. Mu kiseera kye ng'ali mu buyinza, yakulemberamu okutandiikawo essomo lya (MSc Food Science and Technology ne MSc in Applied Nutrition)[9]

Ebimukwatako eby'omunda

Joyce mufumbo eri Dr.Joseph Kikafunda ow'ekitongole ekikwasaganya eby'okunoonyereza ku by'obulimi ekya National Agricultural Research Organisation[10][11][12][13] nga amulinamu abaana babiri.[14]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]