Joyce Moriku
Joyce Moriku era gwebamannyi nga Joyce Kaducu yazaalibwa nga 21 Ogwokuna mu 1969, nga Munayuganda eyakuguka mu by'okujanjaba abaana n'eddwadde zaabwe, omusomesa era nga munabyabufuzi. Ye Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku by'enjigiriza bya pulayimale mu kabineeti empya eyatandika mu 2021. Mu kusooka yali Minisita Omubeezi Ow'eby'obulamu ebitandikirwaako mu Kabineeti ya Uganda. Yalondebwa mu kifo kino nga 6 Ogwomukaaga mu 2016, ng'adira Sarah Achieng Opendi mu bigere eyali afuuse Minisita Omubeezi Ow'eby'obulamu, n'emirimu egy'enjawulo.[1] Akola nga Omubaka wa Paalamenti Omukyala omulonde akiikirira Disitulikiti ye Moyo mu Paalamenti eye kumi okuva mu 2016 okutuuka mu 2021.[2]
Obulamu bwe n'okusoma kwe
[kyusa | edit source]Dr. Moriku yazaalibwa mu Disitulikiti ye Moyo, mu bitundu bya West Nile mu Bukiika Ddyo bwa Uganda, nga 21 Ogwokuna mu 1969. Yasomera ku Laropi Primary School gyeyatandikira n'okumalira eby'enjigiriza bye ebisokerwaako. Yasomerako ku Metu Senior Secondary School, erisinganibwa e Moyo, ng'eno gyeyatuulita S4, nga tanaba kugenda ku Sacred Heart Senior Secondary School e Gulu gyeyasomera n'okumalirira S6.[2]
Mu 1997, yagenda ku Yunivasite y'e Mbarara gyebayigiriza ku bikwatagana n'eby'eddagala, ng'eno gyeyasoma obusawo bw'okujanjaba abantu, n'atikirwa ne Diguli mu busawo wamu ne Diguli mu kulongoosa mu 2002. Mu 2005, yafuna Dipulooma mu by'okuteeka teeka pulojekiti n'okuzidukanya okuva ku Yunivasite ye Gulu. Oluvannyuma yayingira Yunivasite ye Makerere gyebatendekera obusawo e Mulago, ng'eno gyeyafunira Diguli ey'okubiri mu kujanjaba abaana n'enddwadde zaabwe mu 2008. Oluvannyuma neera, mu 2005, Yunivasite ye Gulu yamuwa Diguli ey'okusatu mu by'okusoma n'akuguka mu by'emisuwa.[2]
Emirimu gye mubusawo
[kyusa | edit source]Oluvannyuma lw'okufuna Diguli ye esooka, yagenda okufuna obukugu mu by'okujanjaba mu Ddwaliro lya Lacor e Gulu, okuva mu 2002 okutuuka mu 2003. Wakati wa 2003 ne 2005, yali akola nga omukwanaganya w'abasawo ku kitongole ekivunaanyizibwa mu kulwanyisa akawuka ka siriimu mu Uganda, ng'asinziira Gulu. Okuva mu 2005 okutuuka mu 2008, yali akola nga omusawo omukugu mu ddwaliro ly'e Mulago. Oluvannyuma lw'ekyo, yakolako nga akulira abasawo okumala omwaka gumu mu ddwaliro lya Mildmay Clinic nga lisinganibwa ku luguudo lw'e Ntebbe, okuva 2008 okutuuka mu 2009. Okuva mu 2010 okutuuka mu 2015, yali akola nga omusomesa w'abasawo abajanjaba abaana n'enddwadde zaabwe ku Yunivasite y'e Gulu, nga kuno kweyaongereza okuwereza nga omujanjabi w'abaana n'eddwadde zaabwe eyali yeebuzibwaako mu Ddwaliro ly'e Gulu.[2]
Emirimu gye nga munabyabufuzi
[kyusa | edit source]Mu 2016, yayingira eby'obufuzi nga avuganya mu Konsitituweensi nga omukyala eyali ayagala okukiikirira ya Disitulikiti ya Moyo. Yawangula ng'era ye mubaka eyaliko nebaddamu nebamulonda mu Paalamenti eye kumi okuva mu 2016 okutuuka mu 2021.[3] Nga 6 Ogwomukaagamu 2016, yaweebwa ekya Minisita avunaanyizibwa ku By'obulamu ebisokerwaako.[4]
Obulamu bwe
[kyusa | edit source]Mukyala mufumbo ng'era baawe ye Omukenkufu Kaducu, nga musomesa ku Yunivasite y'e Gulu.[3]
Laba ne bino
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwaamu
[kyusa | edit source]- ↑ https://web.archive.org/web/20161007121926/http://www.monitor.co.ug/blob/view/-/3235304/data/1345443/-/3o16hn/-/Museveni%27s+cabinet.pdf
- ↑ 2.0 2.1 2.2 2.3 https://web.archive.org/web/20180718234538/https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=189
- ↑ 3.0 3.1 http://www.monitor.co.ug/News/National/Who-are-the-new-faces-in-Museveni-s-Cabinet-/-/688334/3237208/-/mc8gbv/-/index.html
- ↑ https://www.scribd.com/doc/314964607/New-Cabinet