Jump to content

Judith Adong

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Adong Judith MunnaUganda omuwandiisi w'emizannyo era omulagirizi wa firimu.[1] Yasoma era natikkibwa ku Yunivasite y'e Makerere, gye yasomera okuwandiika n'okuzannya firimu. Mu mwezi gwa Kasambula 2011, y'e muwandiisi yekka eyavva ku lukalu lwa Afirika ku bawandiisi b'ensi yonna ayakiika mu lukiiko lwa bawandiisi olwa Royal Court Theatre, gye yazimbira emizannyo gye omuli Just Me, You and the Silence, egyazanyibwa mu New Black Fest mu mwezi gwa Mukulukusabitungotungo 2011. Yayogerera omuzannyo gwe ku Old Vic Theatre mu Bungereza, mu 2012.[2] Era yali muyizi mu kibuga ekya New York ekikungirizibwa nga kyatandikibwa Robert Redford Sundance Institute mu pulogulaamu yaTheatre Program Lab ne Mira Nair's Maisha Film Lab (2008). Mu 2007, ye Munnuganda yekka eyaweebwa omulimu ku telefayina y'e Kenya eyasooka mu kulaga emizannyo eya M-Net, The Agency. Egimu ku mizannyo egizanyibwa ku Ladiyo mu mannya ge mulimu Rock Point 256 (2005), River Yei Junction (2007) ne Take My Hand (2011).[3]

Okuwandiika

[kyusa | edit source]

Mu mwezi gwa kafuumuulampawu 2011, yayitibwa insitituti y'abaSudani eya Sundance Institute Theater Program wamu n'enkolagana n'abazanyi ba 651 Arts, ekitongole ky'abanzannyo ekiwagira emboozi z'aBafirika, mu kugoberera olukyala lwe mu kibuga kya New York, gye y'enyigira mu misomo egyenjawulo ku nguudo zi mwasanjala ne ku nguudo entono. Akazannyo akatono akagibwa mu muzannyo gwe ogwaSilent Voices,[4][5] akazimbibwa ku mboozi eyali eyakafubo n'abantu abakosebwa mu lutalo olwali mu Bukiikakkono bwa Uganda, ogwa somebwa ku radio y'eGgwanga eya WYNC National Public Radio mu kawungeezi akatuumibwa "Meet the Artist", nga mu muzannyo guno, abawuliriza banyumyako ne Adong ku nsonga z'omuzannyo gwe. Adong yafuna sikaala eya Fulbright Scholarship mu kukola firimu mu Yunivasite yaTemple mu Philadelphia, gyabeera kaakano. Era yeyongeddeyo nga awandiika ku by'obufuzi n'obulamu bwa bulijjo n'okubunya eby'buwangwa ku terefayina ne laadiyo mu Uganda, Kenya n'oBukiikaddyo bwa Sudan mu lulimi olungereza ne nnimi enzaliranwa eza –Luo (Acholi).[6]

Mu 2018, yali muwandiisi era omuteesiteesi w'omuzannyo gwa Ga-AD!, ogw'alagibwa okuva nga 26-30 Mutunda ku Yunivasite y'e Illinois State University[7][8][9][10][11]

Emizannyo

[kyusa | edit source]
  • Just Me, You and the Silence
  • Silent Voices
  • Rock Point 256 (2005)
  • River Yei Junction (2007)
  • Take My Hand (2011)
  • GA-AD

Ebijuliddwamu

[kyusa | edit source]
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2017-10-18. Retrieved 2022-04-01.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. http://www.thesilenceplay.org/#!adong/c1rjs
  3. http://paf.mak.ac.ug/index.php?option=com_content&id=53&Itemid=5
  4. https://jackeebatanda.wordpress.com/tag/adong-judith/
  5. http://startjournal.org/2012/09/ugandan-voices-of-change-adong-judith-lucy/
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2022-05-17. Retrieved 2022-04-01.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. https://news.illinoisstate.edu/2018/09/visiting-playwright-and-director-adong-judith-gives-voice-to-the-silenced/
  8. https://www.ted.com/speakers/adong_judith
  9. https://news.illinoisstate.edu/2018/08/ugandan-playwright-adong-lucy-judith-directing-ga-ad/
  10. https://www.wglt.org/post/ugandan-playwright-talks-blackness-america
  11. https://www.pantagraph.com/entertainment/arts-and-theatre/on-stage-diverse-ga-ad-tells-universal-story/article_76c5cbc8-75a1-5aa8-a373-a066d3bb0cb9.html

Ebijuliziddwamu eby'ebweru

[kyusa | edit source]