Judith Tukahirwa
Judith Tukahirwa Tumusiime (née Judith Tukahirwa) Munayuganda, mukugu mu ey'ebuuzibwako ku nsonga z'e by'obutonde bw'ensi, amazzi n'obuyonjo, era yali management executive. Ye yali Omumyuka w'akulira ekitongole kya Kampala Capital City Authority (KCCA). yalondebwa mu kifo ekyo mu Gwekkuminebiri 2012.[1] Yawummula nga 31 Ogwekkumi 2016, bweyatandiika okutaataganyizibwa okuva mu bannabyabufuzi n'ebitongole ebikuuma ddembe.[2]
Obuto bwe n'emisomo gye
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu Uganda mu myaka gya 1970. Tukahirwa yasomera ku Shimoni Primary School mu kibuga wakati ne Trinity College Nabbingo mu misomo gye egya O ne A-Levo. Yasomera ku Makerere Yunivasite, gye yatikkirwa Diguli eya Bachelor of Science Education in biology and chemistry. Oluvanyuma y'afuna Master of Science mu butonde bw'ensi n'ebyobugagga eby'ensibo nga nayo yagigya Makerere. Diguli mu by'obuyonjo n'okukwasaganya kazambi eya doctorate in urban sanitation and solid waste management yagifunira ku Wageningen University mu Netherlands. Essomo ekkulu eryali mu Diguli ye ey'okusatu ly'ali ku mulimu gw'ebitongole bya Gavumenti mu kuyonja ebibuga n'okukungaanya kazaambi mu East Africa.[3] Oluvanyuma yafuna okutendekebwa okuva mu John F. Kennedy School of Government ku Harvard University.[4][5]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 1998, yatandiika okusomesa amasomo ga biology ne chemistry ku St. Mary's College Kisubi. Oluvanyuma lw'emisomo gye, yaweereza ng'akola eby'okunoonyereza ku pulojekiti y'ebyobutonde bwensi ku Nnyanja Nnalubaale mu Minisitule y'eby'ettaka n'amayumba nga yali evugirirwa Bbanka y'ensi yonna. Okutuuka okwetaba n'aba KCCA yali apangisiddwa ng'eyebuuzibwako ku nsonga z'okukwasaganya kazambi. Oluvanyuma y'alondebwa nga Dayilekita w'obujajjabi bw'abantu n'obutondebwensi. Mu Gwekkuminebiri 2012, Pulezidenti Yoweri Museveni yamulonda nga akulira ekitongole kya KCCA. Mu Gwekkumi 2016, yawummula okuva mu kifo ekyo.[6]
Obuvunaanyizibwa obulala
[kyusa | kolera mu edit source]Mufumbo eri Edmund Tumusiime omukugu mu by'okuzimba era balina abaana bana. Tukahirwa era aweereza nga mmemba ku Kakiiko k'aba Dayilekita b'ekitongole ekikwasaganya okusengejja amazzi n'okugabunyisa ekya National Water and Sewerage Corporation, ekitongole kya Uganda ekisinga obunene.
Laba na bino
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Meet KCCA deputy executive director". Monitor (in Lungereza). 2021-01-17. Retrieved 2026-10-29.
- ↑ "Musisi's deputy resigns, cites political interference in KCCA work". Monitor (in Lungereza). 2021-01-17. Retrieved 2026-10-29.
- ↑ "PhD Theses". library.wur.nl. Archived from the original on 2025-02-21. Retrieved 2026-10-29.
- ↑ Reporter, Vision. "Musisi's deputy speaks out on graft, disputes". New Vision. Retrieved 2026-10-29.
- ↑ "Judith Tukahirwa". www.nwsc.co.ug (in British English). Archived from the original on 2019-05-14. Retrieved 2026-10-29.
- ↑ Reporter, Vision. "Musisi hails departing KCCA chief". New Vision. Retrieved 2026-10-29.
Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya
[kyusa | kolera mu edit source]- Website of Kampala Capital City Authority
- Website of National Water and Sewerage Corporation
- The Mills College, Women in Public Service Project Institute Delegates