Jump to content

Julie Mukoda Zabwe

Bisangiddwa ku Wikipedia

Julie Mukoda Zabwe Munnayuganda kafulu mu bya Kompyuuta ebya ICT era munnabyabufuzi abadde omubaka omukyaala akiikirira Disitulikitti y'e Mayuge District ekiffo kyabademu okuva mu mwaka gwa 2016.[1]

Ebimukwaatako n'emisomo

[kyusa | edit source]

Yazaalibwa nga 2 Ogwokubiri mu 1980. Julie Mukoda yasomo gya siniya egya O level mu mwaka gwa 1996 mu somero lya Mengo Senior School ne A level mu mwaka gwa 1998 mu somero lya Mbogo High School. Yasoma Sayansi wa Kompyuuta mu Yunivasitte y'e Makerere natikibwa ne diguli ya Sayansi wa Kompyuta eya Bachelor of Computer Science mu mwaka gwa 2005. Yagenda mu maaso n'okufunadiguli ya Master of Public Administration okuva mu ttendekero lya Uganda Management Institute, muKampala mu 2016–2018. Mu 2014.

Obumanyirivu mu mirimu

[kyusa | edit source]

Wakati wa 2007 ne 2008 yakola nga Academic Registrar mu ttendekero lya Bethel Training Institute, Assistant Systems Administrator mu TASO, Jinja mu 2002–2004, Network Administrator mu MXN Technologies mu 2006–2007 ye Dayirekita ku United Helping Hands for Uganda okuva mu 2007 okutuusa kati, Patron wa Core Foundation 2012 okutuusa kati,[2] ye mubaka omukyaala akiikirira Distulikitti y'e Mayuge ekifo ky'abaddemu okuva mu 2016 okutuusa kati.

Mu kalulu ko mu Gwokubiri 2016 general election, Julie Mukoda yalondebwa nga omubaka omukyaala akikirira Disitulikitti y'e Mayuge mu mwaka gwa 2016.[3]

Emirimu gy'omu Paalamentti

[kyusa | edit source]

Ng'ojyeeko emirimu gye nga speaker wa Paalamenti ya Uganda, atuula ku buno obukiiko bwa Paalamentti:

  • The Parliamentary Commission – Yali mmemba
  • KAKIIKO KA PUBLIC SERVICE AND LOCAL GOVERNMENT – Mmemba

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=272
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2019-08-05. Retrieved 2024-04-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://web.archive.org/web/20200406103532/https://www.parliament.go.ug/mp_database/rpt_mps.php