Juliet Bashiisha Agasha

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Juliet Bashiisha Agasha Munnayuganda, Munnabyabufuzi aweereza mu Paalamenti ya Uganda okuva mu 2021. Agasha akiikirira Disitulikiti y'e Mitooma ng'ava mu kibiina kya National Resistance Movement.

Emirimu gye egy'ebyobufuzi[kyusa | edit source]

Mu kalulu ka bonna aka 2011, Agasha y'aketabamu ngaKandideeti atalina kibiina mu Paalament ya Uganda mu kifo ky'omukyala akiikirira Disitulikiti y'e Mitooma. Agasha y'enganga Jovah Kamateeka ow'ekibiina kya National Resistance Movement. Agasha yawangulwa Kamateeka, nga yafuna obululu 19,971 ng'ate ye Kamateeka yafuna obululu 29,263.[1] Mu kalulu k'awamu aga 2016 mu Uganda, Agasha yaddamu n'eyesimbawo nga talina kibiina era nga ali ne Kamateeka. Newankubadde Agasha yawangulwa nate, ku mulundi guno yamuwangulira watono nnyo nga yafuna obululu 32,032 okusinzira ku kwa Kamateeka obwali 37,949.[2]

Mu kalulu ka wamu aka 2021, Agasha yaddamu n'avuganya Kamateeka omulundi ogw'okusatu. Agasha yawangula Kamateeka mu kalulu k'ekibiina kya NRM nga yafuna obululu 25,228 ku 23,227. Ensonga enkulu eyawanguza Kamateeka gyali myaka ng'anabalonzi baali betaaga okulaba ku muntu omulala omuto okubakiikirira mu Paalamenti.[3] Okugyako okuwangulwa kwa, Kamateeka mu kalulu k'ekibiina, yasalawo okwetaba mu kalulu k'awamu nga talina kibiina. Obuwanguzi bwa Agasha bwali mu Konsityuwensi y'Obukiikaddyo bwa Ruhinda, Kamateeka yalemererwa okukungaanya obuwagizi olwa Rebecca Kyarampe atalina kibiina, nga kino kyakutulamu obululu bwa Kamateeka mu bitundu by'eyali asuubiramu obuwanguzi. Ku nkomekerero Agasha yamala n'awangula Kamateeka ne Kyarampe mu kalulu k'abonna nga yafuna obululu 34,736 okusinzira ku Kamateeka eyafuna obululu 16,148 ne Kyarampe 13,974.[3][4]

Mu kisanja kye mu Paalamenti, Agasha asiimiddwa olw'okutereza embeera y'ebyensimbi mu Disitulikiti y'e Mitooma, saako n'okulwanirira okulinyisa omutindo gw'abakyala n'abavubuka. Aweereza ku kakiiko k'eby'obugagga eby'ensibo ne ku kakiiko k'omwenkanonkano.[5]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. https://www.yumpu.com/id/document/read/5896404/women-representatives
  2. https://visiblepolls.org/ug/2016-election/candidates/agasha-juliet-bashiiisha-313/
  3. 3.0 3.1 "Archive copy". Archived from the original on 2022-09-03. Retrieved 2024-03-27.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/agasha-juliet-bashiisha-10557/
  5. https://parrotsug.com/evaluating-365-days-of-hon-juliet-agasha-bashiisha-in-parliament/