Juliet Kyinyamatama Suubi

Bisangiddwa ku Wikipedia


SUUBI JULIET KYINYAMATAMA

Obuzaale Munnayuganda

Obutuuze Munnayuganda

Gye yasomera: Uganda Christian University, University of Geneva

Emyaka mw'akyaakidde: 2011 - okutuusa leero

Ekifo: Mmemba wa Paalamenti

Juliet Kyinyamatama Suubi (yazaalibwa nga 22 Ogwekkumineebiri / December 1988) Munnayuganda, munnabyabufuzi era nga mmemba wa Paalamenti. Mu 2011, yalondebwa okubeera omubaka omukazi owa Disitulikiti y'e Rakai mu Paalamenti ya Uganda, n'addamu okulondebwa mu kifo kye kimu mu kulonda kwa bonna okwa 2016 era bwe yeesimbawo omulundi ogwokusatu ku kifo kye kimu yalondebwa mu kwa 2021 n'addayo mu Paalamenti ng'omubaka omukazi owa Disitulikiti y'e Rakai mu Paalamenti ya Uganda.[1][2]

Yavuganya ku bwannamunigina oluvannyuma lw'okuwangulwa mu kamufu k'ekibiina kya National Resistance Movement.[3][4]

Ebyobuyigirize bwe[kyusa | edit source]

Yatuulira ebigezo bye ebya Pulayimale (PLE) mu Ronald Ruta Primary School e Lyantonde mu 2001. Mu 2005 yatuula S4 ye ku ssomero lya Valley College erisangibwa e Bushenyi, era ng'eno gye yatuulira n'ebya S6 mu 2008.[5] Mu 2012 yatikkirwa Ddiguli ye esooka eya Bachelor's degree of Social Work and Social Administration ku Uganda Christian University. Oluvannyuma yasoma satifikeeti mu byobulamu eya Global Health okuva mu University of Geneva mu 2013 .[6]

Obuvunaanyizibwa obulala bw'akoze[kyusa | edit source]

Obuvunaanyizibwa Ekitongole Ebbanga mwe yakolerayo
Maneja mu kuddukanya emirimu gy'okuyamba abanaku Partners in Health 2013-2014
Mubeezi wa Maneja Partners in Health 2012-2013
Mmemba wa Paalamenti Paalamenti ya Uganda 2011 okutiisa leero

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

Ezenyongeza[kyusa | edit source]

  1. "Archive copy". Archived from the original on 2016-11-07. Retrieved 2021-04-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. https://www.independent.co.ug/tag/juliet-kyinyamatama/
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2016-11-07. Retrieved 2021-04-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/losers-in-nrm-polls-vow-to-return-as-independents-1934442
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2016-11-07. Retrieved 2021-04-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2016-11-07. Retrieved 2021-04-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)