Justina Geraldine Najjuka
Sr. Dr. Justina Geraldine Najjuka gwebatera okuyita Sister Doctor Justina Liliana Lucy Geraldine Najjuka munadiini omubiikira ng'era munayuganda, muwandiisi wa butabo ng'akola n'ogw'okulongoosa abantu n'abakyusa emibiri (plastic surgeon). Ye munaani omukatuliki eyasooka okuva mu balooma okufuuka omulongoosa mu muvanjuba ne masekati ga Afrika.
Obuvo n'eby'enjigiriza
[kyusa | edit source]Najjuka yemwana eyasooka mu 25 abaazalibwa Eli Canaan Sserwanga, eyali omupunta w'ettaka ne Maria Hellena Namazzi, omusomesa era omu kubatandikawoUganda Martyrs Secondary School Namugongo.[1]
Mu 1970, Najjuka yeegata ku kigo kya Little Sisters of St.Francis, Nkokonjeru Convent , nga mu mwezi gw'ekuminebiri nga 21 1975, yakuguka n'afuuka omunaani . nga yeeyongerayo mu kusoma kwe, yatuula ebibuuzo bya S.4 (O Level) mu 1980 ku Saint Joseph’s Girls School, Nsambya oluvannyuma n'agenda ku Mount Saint Mary's College, Namagunga gyeyatulira S.6 ( A Levels).[1]
Ng'atikiddwa ku Makerere University mu 1988 ne diguli mu dagala n'okulongoosa, Najjuka yafuuka omunaani omukatuliki okufuuka omulongoosa mu muvanjuba ne masekati. Obusawo yabuyigira ku ddwaliro ly'e Rubaga.[1]
Yaliko ne kutendekero lya Sri Ramachandra College mu India mu 1996 n'akuguka mu by'okulongoosa ebya plastic and reconstruction surgery.[2] Okuva kuUganda Martyrs University, Nkozi, Najjuka yafuna diguli ey'okubiri mu kudukanya eby'obulamu bw'abantu Health Service Management .[2]
Eby'emirimu
[kyusa | edit source]Obusawo
[kyusa | edit source]Ng'ayigirizibwa eby'obusawo mu ddwaliro ly'e Rubaga, , Najjuka yakola nga kalabalaba mu by'obujanjabi mu ddwaliro lya St.Francis Hospital Nkokonjeru. Yaliyo okumala emyaka 7 gyeyava oluvannyuma n'adayo kusomero. Yakolako ng'omukozi wa gavumenti mu ddwaliro ly'e Rubaga, oluvannyuma ng'avunaanyizibwa ku by'obujanjabi mu ddwaliro ly'e Tororo.[1] Yagibwayo n'atwalibwa mu ddwaliro ly'e Nsambya ng'omulongoosa wabuli kimu, oluvannyuma n'akulira ekitongole ky'okulongoosa . Yakolako ng'omulongoosa eyakyusa ng'endabika y'abantu plastic surgeon, oluvannyuma n'akulira ekitongole kya Plastics and Reconstructive Surgery ku ddwaliro lya Mbarara Regional Referral Hospital[1]
Mu by'obukugu, Najjuka memba w'ekibiina ekigata abalongoosa mu Uganda ekya Association of Surgeons of Uganda. Y'omu kuba "Fellow of the College of Surgeons, mu buvanjuva, masekati ne mu bukiika kono bwa Afrika"[3] ne "Fellow of the International College of Surgeons".[2]
Okuwumula
[kyusa | edit source]Mu 2007, Najjuka yafuuka munywanyi w'ekitongole kw'obwa nakyewa, Smile Train.[4]
Omukutu gw'ekitongole kino gugamba nti mu 2022, y'akulira gyebalongoseza "Head of Surgical Centre Smile Train Mbarara (SCSTM) ku at the Good Samaritan Village Helpers Centre mu Uganda". Wansi w'ekitongole kino, Najjuka akola gwakulongoosa babeera n'ebituli nadala mu mimwa (cleft surgeries) n'okuwa abaana abakazaalibwa ebiriisa nadala ababeera balina obuzito bwa wansi okusobola okubalongoosa obulungi (cleft surgery)".[4]
Ebirala
[kyusa | edit source]Najjuka atera okuwereza ku mukuto gwa, Radio Sapientia, ku bikwatagana n'eby'obulamu era wa lotale .
Ebifulumiziddwa
[kyusa | edit source]Laba ne
[kyusa | edit source]- ↑ 1.0 1.1 1.2 1.3 1.4
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://observer.ug/lifestyle/69123-sister-dr-najjuka-broke-all-glass-ceilings-to-become-plastic-surgeon - ↑ 2.0 2.1 2.2
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://docplayer.net/218380493-Association-of-surgeons-of-uganda-celebrating-women-surgeons-in-uganda-international-women-s-day-2021.html - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20220925173243/https://www.cosecsa.org/members-fellows-directory-2/ - ↑ 4.0 4.1
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.smiletrain.org/2022/03/15/sister-dr-liliana-najjuka-miracle-worker-smile-maker