Jump to content

Justine Nabbosa

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Justine Nabbosa
Gye yazaalibwa
Disitulikiti y'e Kamuli, mu Buvanjuba bwa Uganda
Eggwanga Munnayuganda
Obutuuze Munnayuganda
Obuyigirize Diguli eya Bachelor's of Organizational and industrial psychology okuva ku Yunivasite y'e Makerere
Emirimu gye Muyimbi w'annyimba ezirwowa emyoyo era musumba
Muganzi we Jonathan Muwaganya

Justine Nabbosa Munnayuganda, muyimbi w'ennyimba ezirwowa emyoyo, akulemberamu abayimbi abatendereza, era ayambako mu kusumba ne Pastor Wilson Bugembe ku Worship house.[1] Yawangula eky'omuyimbi w'omwaka asinze mu nnyimba z'okutendereza mu 2021 mu Awaadi za Royal Gospel music awards 2021.[2] Mu 2016, yawangula Awaadi mu ttuluba ly'oluyimba lw'okusinza n'okutendereza olusinga mu mpaka za VIGA Awards.[3]

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Kamuli mu Buvanjuba bwa Uganda eri abafumbo ababiri Mr. James ne Mrs. Tappi Kiyingi nga mwana wa mwenda. Yatikkirwa okuva ku Ssettendekero wa Makerere ne Diguli mu Organizational and industrial psychology.[1][4]

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Okuyimba kwe kwatandiikira mu siniya ey'okuna lweyasisinkana Pasita Wilson Bugembe edda mu 2002 mu kivvulu kye ekyasooka. Yali mugenyi mu kkanisa ya Christian life church mu Bwaise ng'eno gyeyagwira ku kipande ekiranga ekivvulu kya Bugembe Olw'okuba kitaawe yali musumba, Justine yakula ng'asomesa abaana b'okukanisa ku sande, ng'ayimba mu kibiina ky'abayimbi b'omukkanisa n'okukulemberamu okusaba kw'abayizi.[5] Emirimu gye egy'okuyimba yagitandiika ng'omuyimbi ayanukula Wilson Bugembe. Nga 24,Ogwokuna 2017, Nabbosa yakola ekivvulu kye.[1][6]Okuva kw'olwo, ennyimba ze zikyusizza bangi, era z'eyambisiddwa mu kubuulira enjiri okuyita mu nnyimba. Y'akulira ekibiina kya Next Girl Champion, olukungaana ttabamiluka olutuula buli mwaka okutumbula bawala n'abakyala mu Uganda.[7]

Ennyimba ze yayimba

[kyusa | edit source]

Ezimu ku nnyimba ze.[8]  

Ennyimba ze yayimbiramu nga[9]

 

Awaadi ze yafuna

[kyusa | edit source]

Justine Nabbosa yali omu ku betaba mu mpaka za Royal Gospel Music Awards 2024 mu ttuluba lya Awaadi y'omuyimbi omukyala asinze ow'omwaka.[10]

Ebimukwatako eby'omunda

[kyusa | edit source]

Mufumbo eri Jonathan Muwaganya,[11] munnamateeka mu kibuga nga naye mulokole. Abafumbo bano balina omwana omu.

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]