Kabakumba Masiko

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Princess Kabakumba Labwoni Masiko munabyabufuzi Omunayuganda. Yeeyaliko Minisita kunsonga z'obwa Pulezidenti mu Kabineeti ya Uganda. Yaweebwa ekifo kino nga 27 Ogwokutaano mu 2011. Yadira Beatrice Wabudeya eyasulibwa okuva mu kabineeti.[1] Mungeri y'emu, yawerezaako nga Minisita w'ekitongole ekivunaanyizibwa ku by'emirimu mu kibuga kya Kampala. [2] Yalekulira okuva mu bifo bino byombi nga 14 Ogwekumineebiri mu 2011, oluvannyuma olw'okuberawo abaali bamulumiriza olw'okukozesa obubi ofiisi, nga abba n'okutwala ebitali bibye, ekyali kiviriddeko okubulawo kwa ssente za gavumenti, wamu n'okuberawo kw'akabinja akaalina entegeka ez'okugya ssente mu gavumentu nga kayita mu makubo amakyamu.[3][4][5] Yalondebwa n'okubeera Omubaka wa Paalamenti, nga yakiikirira esaza lya Bujenje, wabula nebamuwangula mu 2016, mu Disitulikiti ye Masindi.[6]

Obulamu bwe n'okusoma kwe[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Masindi nga 20 Ogwekumi mu 1966. Kabakumba Masiko yasomera ku Gulu High School fng'eno gyeyamalira S4, olwo n'agenda ku Nabisunsa Girls' Secondary School gyeyatuulira S6. Yayingira Yunivasite y'e Makerere, yunivasite ya gavumenti esinga obukadde n'obunene mu ggwanga, n'atikirwa mu 1990, ne Diguli ya Sayaansi mu By'enfuna. Alina Dipulooma mu by'okuteekateeka pulojekiti wamu n'okuzidukanya, gyeyafuna okuva ku Uganda National Chamber of Commerce and Industry, mu 1998. Alina ne Dipulooma mu munteekateeka za pulojekiti wamu n'okuzidukanya, nga yagifuna mu 200, okuva kutendekero lya Uganda Management Institute (UMI). Mmu 2009, yaweebwa aba UMI Diguli mu by'enjigiriza mu by'okudukanya embeera z'abantu by UMI. Dipulooma mu by'okukola amateeka yauweebwa ab'etendekero lya International Law Institute mu 2003.[6] Mu Gwokuna mu 2018, Kabakumba yatikirwa ne Dipulooma mu by'okwenyigira mu mateeka, okuva mutekero eribangula banamateeka erya Law Development Centre mu Kampala.[7]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Okuva mu 1986 okutuuka mu 1996, yali akola nga vunaanyizibwa ku by'emikolo gy'ekibiina kya National Resistance Movement ekiri mu buyinza. Mu 1996, yeesimbawo ku kifo ky'okubeera omubaka akiikirira Disitulikiti y'e Masindi, era n'awangula ekifo kino kyeyawerezaamu okutuuka mu 2001.Mu 2001, oluvannyuma lw'ekyuka kyuka ezaali zikolebwa mu Disitulikiti, yeesimbawo ku kifo ky'okukiikirira esaza lya Bujenje, nga lisinganibwa mu Disitulikiti y'e Masindi, n'awangula ekifo kino era n'awereza nga Omubaka wa Paalamenti okutuuka mu 2006. Mu 2006, baddamu nebamulonda okuddayo mu Paalamenti ya Uganda. Mu mwaka ogwo gwegumu, yaweebwa omulimu gwokubeera Minisita eyali avunaanyizibwa ku by'ensonga za Paalamenti, wamu n'okubeera kalabalaba wa Gavumenti, ekifo kyeyali okutuusa weyalondebwa nga Minisita w'eby'obubaka mu Gwokubiri mu 2009.[8] Nga 16 Ogwokubiri, mu 2009, yalondebwa okubeera Minisita w'obubaka n'obubaka mu ggwanga, n'awereza mukifo kino okutuusa nga 27 Ogwokutaano mu 2011.[9]

Mu kaseera ka 2016, ak'okulonda kw'ababaka ba Paalamenti, Kabakumba Masiko yeesimbawo nga talina kibiina okukiikirira Munisipaali y'e Masindi, naye n'awangulwa Ernest Kiiza, ng'no ye Minisita aliko kati Omubeezi Ow'ensonga za Bunyoro.[10]

Ebimukwatako[kyusa | edit source]

Kabakumba Masiko yafumbirwa Maj.Gen Henry Masiko, nga ye Chief Political Commissar w'amagye g'eggwanga aga Uganda People's Defence Force (UPDF).[11]

Emivuyo ku mukutu gwa Uganda Broadcasting Corporation[kyusa | edit source]

Mu Gwekuminoogumu mu 2011, abasirikale okuva mu poliisi ya Uganda nga babaguddwako, baawamba ekyuma ekitambuza amaloboozi n'omunaala okuva mu kifo ewasinganibwa omukutu gwa Kings Broadcasting Sercvice (KBS), mu kibuga ky'e Masindi mu Bugwanjuba bwa Uganda. Ebyuma bino kyali kigambibwa nti byali bya mukutu gwa Uganda Broadcasting Corporation (UBC), omukutu gwa leediyo ne ttivi, ng'era byali byabibwa okuva ku UBC mu 2009 oba 2010, Kabakumba bweyali akyali Minisita w'obubaka n'obubaka, era nga y'avunaanyizibwa ku UBC. KBS, nga kati yava kumpewo, yali evunaanyizibwa Kabakumba Masiko nga nannyini yo, era nga agirinamu ebitundu 75 ku 100 ate akulira ekifo ng'alinamu ebitundu 25 ku 100. Era baamutekako ogw''okwenyigira mu kutunda oba okuta ettaka eryali lrya UBC, erisinganibwa e Bugoloobi, ebimu kubifo by'omu Kampala.[3][12][13] Poliisi yawaayo okunoonyereza kwaayo eri omuwaabi wa gavumenti okubeerako ne ky'aba akola.[14] Omuwaabi wa gavumenti weyasalawo okubagulawo musango eri Masiko, wabula n'atanza eyali adukanya omukutu gwa leediyo eno yekka, babaka bane mu paalamenti nebakiwakanya.[15]

Ebifanannyi[kyusa | edit source]

Laba ne bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwaamu[kyusa | edit source]

  1. Uganda State House (27 May 2011). "Comprehensive List of New Cabinet Appointments & Dropped Ministers". Facebook.com. Retrieved 25 February 2015.
  2. Musoke, Cyprian (27 June 2011). "Kabakumba Tipped To Be Kampala Minister". New Vision (Kampala). Archived from the original on 7 August 2011. Retrieved 25 February 2015.
  3. 3.0 3.1 Mmali, Joshua (14 December 2011). "Uganda Minister Masiko Resigns After Radio Theft Claim". BBC News. Retrieved 25 February 2015.
  4. Masiko, Kabakumba (16 December 2011). "To Err Is Human, Kabakumba Says: Her Resignation Speech". Daily Monitor (Kampala). Archived from the original on 18 September 2018. Retrieved 25 February 2015.
  5. https://web.archive.org/web/20150226032938/http://www.newvision.co.ug/news/314859-
  6. 6.0 6.1 http://parliamentwatch.ug/mp/mrs-kabakumba-masiko-labwoni-princess/
  7. Kasanga, Kyetume (25 June 2006). "Masiko Celebrates Appointment". New Vision (Kampala). Archived from the original on 26 February 2015. Retrieved 25 February 2015.
  8. Kasanga, Kyetume (25 June 2006). "Masiko Celebrates Appointment". New Vision (Kampala). Archived from the original on 26 February 2015. Retrieved 25 February 2015.
  9. https://web.archive.org/web/20150211174529/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/671729
  10. Muzoora, George (20 February 2016). "Kabakumba Rejects Poll Results". Kampala: Uganda Radio Network. Retrieved 15 October 2016.
  11. Odongo, James (14 December 2015). "Minister Kabakumba Resigns". Uganda Radio Network (URN). Retrieved 25 February 2015.
  12. Nalugo, Mercy (15 December 2011). "Kabakumba Resigns, Named in Land Row". Daily Monitor (Kampala). Archived from the original on 19 April 2019. Retrieved 25 February 2015.
  13. Njoroge, John (14 December 2011). "Is The Downfall of Princess Kabakumba Inevitable?". Daily Monitor (Kampala). Retrieved 25 February 2015.
  14. Obore, Chris (18 December 2011). "Police Charge Former Minister Kabakumba With Theft". Daily Monitor (Kampala). Retrieved 25 February 2015.
  15. Sekanjako, Henry (13 July 2012). "Clearing Kabakumba of Transmitter Theft A Joke – MPs". New Vision (Kampala). Retrieved 25 February 2015.

Ewalala w'oyinza okubigya[kyusa | edit source]