Kamaanya owa Buganda
Template:Infobox monarchKamaanya Kadduwamala yali Kabaka w'Obwakabaka bwa Buganda okuva mu 1814 okutuusa mu 1832. Yali Kabaka wa Buganda ow'abiri mw'omunaana (28th).
Okutuuzibwa ku Nnamulondo
[kyusa | edit source]Ye yali mutabani omukulu owa Kabaka Semakookiro Wasajja Nabbunga, Kabaka wa Buganda, eyafugira wakati w'omwaka 1797 ne 1814. Maamawe yali Abakyala Nansikombi Ndwadd'ewazibwa, Kaddulubaale, ow'ekika ky'e Nseenene (Grasshopper). Yali mukyala wa Kabaka omukulu. Taatawe yawasa abakyala kkuminabataano. y'atuuzibwa ku Nnamulondo oluvanyuma lwa Kitaawe okuseerera mu 1814, kwe kufuna elinnya lya Kamaanya. Amakanda yasalawo kugasimba mu Nsujjumpolu.
Obulamu bwe obw'obufumbo
[kyusa | edit source]Nga kitaawe, Kabaka Kamaanya yalina abakyala bangi.Kigambibwa nti yawasa abakyala abawera asatu mw'omunaan (38):
- Baakuyiira, muwala wa Lule, ow'ekika ky'e Ngonge
- Basiima Mukooki, muwala wa Kateesigwa, ow'ekika ky'e Nkima
- Gwowemukira
- Kayaga, muwala wa Kiwaalabye, ow'ekika ky'e Kkobe
- Kisirisa, muwala wa Walusimbi, ow'ekika ky'e Ffumbe
- Naabakyaala Saamanya, Kaddulubaale, muwala wa Walusimbi, ow'ekika ky'e Ffumbe. Yattibwa ku biragiro bya Bba.
- Ky'osiby'omunyolo, muwala wa Jjumba, ow'ekika ky'e Nkima
- Kyot'owadde, muwala wa Kiyaga, ow'ekika ky'e Mamba
- Kyowol'otudde, muwala wa Lutalo, ow'ekika ky'e Ndiga
- Lubadde, muwala wa Majanja, ow'ekika ky'e Ngeye
- Mpozaaki, muwala wa Kateesigwa, ow'ekika ky'e Nkima
- Mubyuwo?, muwala wa Nakatanza, ow'ekika ky'Olugave
- Muteezi, muwala wa Nakato, ow'ekika ky'e Mbogo
- Mukwaano, muwala wa Mugema, ow'ekika ky'e Nkima
- Nambi, muwala wa Lutaaya, ow'ekika ky'e Ngonge
- Naabakyaala Nabikuku, the Kabejja, muwala wa Jjumba, ow'ekika ky'e Nkima
- Nabirumbi, muwala wa Kisuule owa Busoga, ow'ekika ky'e Ngabi (Reedbuck)
- Nabiswaazi, muwala wa Jjumba, ow'ekika ky'e Nkima
- Nabyonga, muwala wa Mwamba?, ow'ekika ky'Olugave
- Nabbowa, muwala wa Kafumbirwango, ow'ekika ky'e Lugave
- Nakaddu, muwala wa Kamyuuka, ow'ekika ky'e Kkobe
- Nakanyike, muwala wa Senfuma, ow'ekika ky'e Mamba
- Nakkazi Kannyange, muwala wa Ssambwa Katenda, ow'ekika ky'e Mamba
- Nakkazi, muwala wa Lutalo, ow'ekika ky'e Mamba
- Nakku, muwala wa Walusimbi, ow'ekika ky'e Ffumbe
- Nakyekoledde, muwala wa Gabunga, ow'ekika ky'e Mamba
- Nalumansi, muwala wa Walusimbi, ow'ekika ky'e Ffumbe
- Namale, muwala wa Kiwalabye, ow'ekika ky'e Kkobe
- Namukasa, muwala wa Nankere, ow'ekika ky'e Mamba
- Namawuba, muwala wa Sempala, ow'ekika ky'e Ffumbe
- Nambi Tebasaanidde, daughter of Mugula, ow'ekika ky'e Mamba
- Namwenyagira, muwala wa Kamyuuka, ow'ekika ky'e Kkobe
- Nannozi, muwala wa Gomottoka, ow'ekika ky'e Nvubu
- Nankanja, muwala wa Terwewalwa, ow'ekika ky'e Nvubu
- Nzaalambi, muwala wa Natiigo,ow'ekika ky'OLugave
- Siribatwaalira, ow'ekika ky'e Nkima
- Tebeemalizibwa, muwala wa Mwamba?, ow'ekika ky'Olugave
- Nanteza
Ensonga
[kyusa | edit source]Kiri ku likodi nti yazaala abaana abalensi nkaaga mu omu (61) n'abawala abawerako. Mutabani we Suuna II, yatemula baganda be abalenzi ataano mu munaana (58) ku mulembe gwe. Abaana ba Kabaka Kamaanya:
- Omulangira Kiggala I, maamawe yali Baakuyiira
- Omulangira Nakibinge Bawuunyakangu, nga maamawe yali Saamanya. Yattibwa nga ayokebwabwokebwa ku biagiro bya kitaawe mu Busonyi, Ssaza ly'e Busujju.
- Omulangira Kimera, maamawe yali Gwowemukira
- Omulangira Ndawula, maamawe yali Gwowemukira
- Omulangira Lule, nga maamawe yali Gwowemukira
- Omulangira Kiggala II, nga maamawe yali Gwowemukira
- Omulangira Kitereera, nga maamawe yali Gwowemukira
- Omumbejja Babirye, nga maamawe yali Kayaga. Omulongo n'Omumbejja Nakato
- Omumbejja Nakato, nga maamawe yali Kayaga. Omulongo n'Omumbejja Nakato
- Prince (Omulangira) Kaggwa, whose mother was Kisirisa
- Omulangira Bagunyeenyamangu, nga maamawe yali Saamanya
- Prince (Omulangira) Mbajjwe, whose mother was Ky'osiby'omunyolo).
- Omulangira Bamweyana, nga maamawe yali Kyootowadde
- Omulangira Twaayise, nga maamawe yali Mpozaaki
- Omulangira Kyomubi, nga maamawe yali Mukwaano
- Omulangira Luwedde, nga maamawe yali Nabiswaazi
- Omulangira Kimera, nga maamawe yali Nabbowa
- Omulangira Lumansi, nga maamawe yali Nakaddu
- Omulangira Tebandeke, nga maamawe yali Nakanyike
- Omulangira Suuna Kalema Kansinjo, eyasikila Kabaka Suuna II Kalema Kansinjo Mukaabya Ssekkyungwa Muteesa I Sewankambo Walugembe Mig'ekyaamye Lukeberwa Kyetutumula Magulunnyondo Lubambula Omutanda Sseggwanga, nga maamawe yali Nakkazi Kannyange
- Omulangira Wasajja, nga maamawe yali Nakkazi. Yasimatukka okusanjagibwa kwa mugandawe, Suuna II.
- Omulangira Ndawula, nga maamawe yali Nakyekoledde
- Omulangira Mutebi, nga maamawe yali Nakyekoledde
- Omulangira Mugogo, nga maamawe yali Kyotowadde. Naye y'asimatukka okutibwa mugandawe, Suuna II.
- Omulangira Kigoye, nga maamawe yali amale
- Omumbejja Ndagire I, nga maamawe yali Namukasa
- Omulangira Waswa, nga maamawe yali Nambi Tebasaanidde. Mulongo ne Babirye.
- Omumbejja Babirye, nga maamawe yali Nambi Tebasaanidde. Twin with Babirye
- Omulangira Kajumba, nga maamawe yali Nambi Tebasaanidde
- Omumbejja Ndagire II, nga maamawe yali Nannozi
- Omulangira Kizza, nga maamawe yali Nzaalambi
- Omumbejja Tajuba, nga maamawe yali Lubadde. Yafa oluvanyuma mu 1927.
- Omumbejja Nassolo, nga maamawe yali Mubyuwo?
- Omumbejja Nambi, nga maamawe yali Muteezi
- Omumbejja Nakayenga, nga maamawe yali Kyowol'otudde
- Omumbejja Namayanja, nga maamawe yali Lubadde
- Omumbejja Nabaloga, nga maamawe yali Mpozaaki
- Omumbejja Kagere, nga maamawe yali Mubyuwo
- Omumbejja Mwannyin'empologoma Nassolo, nga maamawe yali Nabikuku
- Omumbejja Nalumansi, nga maamawe yali Nabirumbi
- Omumbejja Nakku, nga maamawe yali Nabyonga
- Omumbejja Nakalema, nga maamawe yali Nalumansi
- Omumbejja Nakangu, nga maamawe yali Nambi
- Omumbejja Namika, nga maamawe yali Nakaddu
- Omumbejja Nakabiri, nga maamawe yali Namwenyagira
- Omumbejja Katalina Nabisubi Mpalikitenda Nakayenga, nga maamawe yali Siribatwaalira. Yazaalibwa mu 1814. y'afa nga 27 Ogusooka 1907.
- Omumbejja Lwantale, nga maamawe yali Siribatwaalira. Yali Naalinnya wa Kabaka Suuna II. Yafa mu Gwokusatu 1881.
- Omumbejja Nagaddya, nga maamawe yali Tebeemalizibwa
- Omumbejja Nassuuna Kyetenga, nga maamawe yali Nankanja
Obukulembeze bwe
[kyusa | edit source]Kabaka Kamaanya yagenda mu maaso n'olutalo olw'okuwamba Obwakabaka obw'okumuliraano ekyaleetawo okugaziya amatwale g'Obwakabaka bwa Buganda. Yawamba Essaza lya Buweekula, okuva ku Bunyoro era n'aligatta ku lya Buganda.
Emyaka gye egy'asembayo
[kyusa | edit source]Kabaka Kamaanya yasererera ku Lutengo 1832. Yaterekebwa e Kasengejje, mu Busiro.[1]
Ebiwandiiko
[kyusa | edit source]Kigambibwa mbu elinnya lya Kamanya etuufu ly'ali Kanakulya Mukasa. Naye olw'okuba yali w'attabu nnyo, abaamuli ku lusegere batandiika okumugerageranya ku muntu w'obungu obw'ettumbizi era ow'enkola ey'okuyigannya abalala (nga mu kukikusika eri Kabaka) kwe kumutuuma kamanya.
- MM Semakula Kiwanuka, Ebyafaayo bya Buganda, 1971[2]
Olukangagga lw'abakabaka abasikira Nnamulondo
[kyusa | edit source]Template:S-start Template:Succession box Template:S-end
Laba na bino
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya
[kyusa | edit source]- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2013-06-15. Retrieved 2024-04-21.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ Kiwanuka, MM Semakula, A History of Buganda: From the foundation of the Kingdom to 1900. London: Longman, 1971