Kampala Capital City Authority FC
Kampala Capital City Authority Football Club (mu bufunze ye KCCA FC), era eyayitibwanga Kampala City oba KCC. Eno kiraabu ya mupiira mu Liigi y'omupiira eya babinywera mu Uganda ng'esangibwa mu Kampala. Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu era ekisinga obunene mu Uganda. Ekitongole ekiddukanya ekibuga Kampala bwe kyakyusibwa erinnya ne kituumibwa Kampala Capital City Council Authority,[1] kyavaako okukyusa n'erinnya lya kiraabu yaakyo eno. [2] Newankubadde erya Kampala City Council Football Club oba KCC lye lyali lyasinga okunnyikira mu kamwa k'abantu nga n'okutuusa kati wakyaliwo abagiyita bwe batyo.
Ebyafaayo bya KCCA
Kiraabu eno yatandikibwawo Samuel Wamala nga 12 - Ogwokuna - 1963 nga ye yali akulira ekitongole ekyali kivunaanyizibwa ku kuyoola kasasiro mu Kampala, nga Uganda yaakeefuga. Mu ntandikwa, kiraabu eno yali esinga kubeeramu bakozi ab'ekitongole kino, kyokka yagenda egaziwa n'eyingira mu bitongole ebirala munda mu Kampala City Council okukkakkana ng'efuuse kiraabu ya kitongole kya KCC kyonna (kati KCCA).[3][4]
Mu 1965, KCC yeegatta ku liigi eyitibwa Kampala and District Football League (KDFL) ey'ekibinja ekyokusatu (eyayawulwamu emirundi ebbiri) wansi w'omutendesi Bidandi Ssali ne Samuel Wamala eyali ssentebe n'ekula. Oluvannyuma lw'okumalira mu kifo eky'omukaaga mu sizoni eyasooka eya 1966, baasuumusibwa okuva mu kibinja ekyokusatu ekyomubukiikakkono nga bamalidde mu kifo ekyokubiri.[3][4]
We baatuukira mu 1968, KCC yali ezannya ne kiraabu nga Express FC, Army FC, KDS (Kampala District Bus Services), Railways, UEB ne Nsambya mu kibinja ekisooka ekya KDFL. Kyokka mu 1971 baasalibwako ne baddayo mu kibinja ekyokubiri. Mu kaseera kano, KDFL yali eddukannyizibwa wamu ne liigi y'omupiira ey'eggwanga, nga yaggibwawo, okusobola okugaziya empaka z'eggwanga nga ziri wamu n'ebibinja eby'enjawulo. KCC yafuuka mmemba w'ekibinja ekyokubiri ekyali kitandikiddwawo ekipya, ekya liigi y'eggwanga, nga mulimu Nsambya ne NIC.[3][4], kino kye kyali kikulembera.
We baatuukira mu 1974, KCC yali esuumuusiddwa okugenda mu kibinja kya liigi y'eggwanga gye baamalira mu kifo ekyokubiri mu sizoni yaabwe eyasooka n'eyookubiri mu kibinja kyawagulu nga Express FC abaali ba kyampiyoni ng'ebasinga akabonero kamu kokka. Sizoni eyagoberera mu1976, KCC yawangula ekikopo kyayo ekyasooka nga bamalidde akabonero kamu mu maaso ga Express. Baddamu okuwagula ekikopo mu 1977 mu ngeri ey'enjawulo nga wadde mu sizoni eyo Express yali yawerebwa nga bagirumiriza okwenyigira mu bikolwa ebisekeeterera Gavumenti eyaliko.[3][4]
Simba FC (kiraabu y'eggye lya Uganda) yamaliriza nga kyampiyoni mu 1978, nga KCC ekutte kyakubiri kyokka n'ewangula ekikopo ekyetabibwamu kiraabu z'omubuvanjuba ne mu masekati ga Afrika, n'efuuka Kiraabu ya Uganda eyasooka okukiwangula. Pulezidenti Idi Amin ye yakwasa Sam Musenze eyali kapiteeni wa KCC ekikopo kino. Abazannyi abaakiikirira KCC kwaliko; Phillip Omondi, Jimmy Kirunda, Jamil Kasirye, Hussein Matovu, Tom Lwanga, Sam Musenze, Yusuf Toyota, Peter Mazinga, Apolo Lumu, Billy Kizito, Hussein Matovu, Chris Dungu, Gerald Kabaireho, Ashe Muksa, Rashid Mudin, Moses Sentamu, Timothy Ayeieko, Angelo Dotte, Hassan Biruma ne Peter Wandyette.[3][4]
Ttiimu ya 1978 yasasika olw'abazannyi ab'amannya okugenda okuzannya omupiira gw'ensimbi, ng'abasinga baagenda mu United Arab Emirates. Wabula, oluvannyuma lw'okuleeta abazannyi abato nga Godfrey Kateregga, Sam Mugambe n'eyasinga okuteeba Davis Kamoga, kiraabu yakola eky'amaanyi n'ewangula Uganda Cup mu1979 oluvannyuma llw'okuweebwa obubonero ku fayinolo nga Uganda Commercial Bank FC terabiseeko.[3][4]
Kiraabu yanyumirwa ennaku ezaalimu amasanyu mu myaka gye 1980 nga baawangula Uganda Cup mu 1980, 1982, 1984 ne 1987 n'ekikopo kya liigi mu myaka egiddiringana mu 1981, 1983 ne 1985. Engeri Davis Kamoga gye ali ateebamu, kuba mu 1980 yalina ggoolo 21, ne Frank Kyazze yalina 18 mu 1984, nga mu 1985 yalina ggoolo 28, kyakola kinene nnyo mu buwanguzi bwa kiraabu eno.[5]
Akaseera akataalimu kuwangula kaagoberera nga wadde KCC yawangula ekikopo kya liigi mu 1991 ne 1997, ne Uganda Cup mu 1990 ne 1993. Oluvannyuma lw'okuwangula ekikopo kya 1997, wajjawo akaseera k'ebizibu mu bukulembeze n'enkyukakyuka ez'omuggundu omwali n'okuleeta abatendesi abapya abakadde ne bagobwa mu ngeri ey'omuddiringanwa.
Mu 2007–08 KCC yawangula ekikopo kya liigi omulundi ogwali gusoose mu myaka 10 nga Brian Umony eyateeba ggoolo 15 yavaawo n'agenda okusamba omupiira gw'ensimbi mu SuperSport United ey'e South Africa. Mu 2012–13 yaddamu okutuuka ku kkula ly'obuwanguzi bwe yamalira obubonero musanvu mu maaso ga Uganda Revenue Authority SC. Obuwanguzi obulala bwe baatuukako mu myaka 10 bwali bwa Uganda Cup mu 2004, 2017 ne 2018.
Ku mutendera gw'ensi yonna, KCCA yatuuka ku luzannya olukulembera oluddirira olw'akamalirizo (quarter) mu African Cup of Champions Clubs mu 1978 ne 1982 ne batuuka mu kifo ekyokubiri mu 1977, 1984, 1986 ne 1992.[6] Mu kwongerako, baakiika emirundi esatu mu mpaka za kiraabu empanguzi ez'okulukalo lwa Afrika mu1998, 2009 ne 2018; emirundi ena mu CAF Cup mu 1995, 1997, 2001 ne 2002; emirundi esatu mu CAF Confederation Cup mu 2005, 2009 ne 2017; nga mu kusembayo emirundi musanvu mu CAF Cup Winners' Cup mu 1980, 1981, 1983, 1985, 1988, 1991 ne 1994.[7]
Awamu omugatte, KCC (nga kati emannyikiddwa nga KCCA FC) ewangudde ebikopo bya liigi ya Uganda 13, ng'ekyasembayo kyaliwo mu 2019, ne Uganda Cup 10 nga kwe kuli n'ebikopo bbibiri mu 1978 ne 2019 eby'empaka ezeetabibwamu kiraabu z'omu buvanjuba ne mu masekkati ga Afrika ku mutendera gwa ligyoni.
Akabonero [8]
-
Old logo
-
Former logo
Likodi n'ebibalo [9]
[kyusa | edit source]Likodi mu liigi yawagulu [10]
[kyusa | edit source]Sizoni | Ekibinja | Liigi | Pos. | Pl. | W | D | L | GS | GA | Pts | |
---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|
1974 | 1 | Uganda National League | 2nd | 14 | 10 | 1 | 3 | 29 | 16 | 21 | |
1975 | 1 | Uganda National League | 2nd | 18 | 11 | 4 | 3 | 37 | 11 | 26 | |
1976 | 1 | Uganda National League | 1st | 22 | 15 | 5 | 2 | 55 | 16 | 35 | Champions
|
1977 | 1 | Uganda National League | 1st | 26 | 21 | 3 | 2 | 74 | 17 | 45 | Champions
|
1978 | 1 | Uganda National League | 2nd | 28 | 19 | 4 | 5 | 76 | 23 | 42 | |
1979 | 1 | Uganda National League | 2nd | 26 | 15 | 6 | 5 | 56 | 28 | 36 | |
1980 | 1 | Uganda National League | 3rd | 30 | 16 | 8 | 6 | 51 | 26 | 40 | |
1981 | 1 | Uganda National League | 1st | 32 | 21 | 6 | 5 | 87 | 28 | 48 | Champions
|
1982 | 1 | Uganda Super League | 2nd | 17 | 11 | 3 | 3 | 30 | 19 | 25 | |
1983 | 1 | Uganda Super League | 1st | 28 | 22 | 4 | 2 | 75 | 22 | 48 | Champions
|
1984 | 1 | Uganda Super League | 2nd | 30 | 21 | 7 | 2 | 67 | 19 | 49 | |
1985 | 1 | Uganda Super League | 1st | 26 | 18 | 5 | 3 | 54 | 24 | 41 | Champions
|
1986 | 1 | Uganda Super League | 4th | 28 | 15 | 7 | 6 | 44 | 29 | 37 | |
1987 | 1 | Uganda Super League | 3rd | 21 | 13 | 2 | 6 | 43 | 20 | 28 | |
1988 | 1 | Uganda Super League | Not available
| ||||||||
1989 | 1 | Uganda Super League | 3rd | 22 | 12 | 6 | 4 | 32 | 12 | 30 | |
1990 | 1 | Uganda Super League | 3rd | 22 | 14 | 4 | 4 | 32 | 18 | 32 | |
1991 | 1 | Uganda Super League | 1st | 19 | 16 | 3 | 0 | 44 | 11 | 35 | Champions
|
1992 | 1 | Uganda Super League | 4th | 26 | 11 | 9 | 6 | 37 | 28 | 31 | |
1993 | 1 | Uganda Super League | 3rd | 27 | 17 | 7 | 3 | 45 | 8 | 41 | |
1994 | 1 | Uganda Super League | 3rd | 28 | 14 | 9 | 5 | 45 | 22 | 51 | |
1995 | 1 | Uganda Super League | 6th | 28 | 7 | 15 | 6 | 21 | 23 | 36 | |
1996 | 1 | Uganda Super League | 2nd | 30 | 20 | 5 | 5 | 56 | 19 | 65 | |
1997 | 1 | Uganda Super League | 1st | 30 | 24 | 4 | 2 | 59 | 19 | 76 | Champions
|
Sizoni | Ekibinja | Liigi | Pos. | Pl. | W | D | L | GS | GA | Pts | ||
---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|
1998 | 1 | Uganda Super League Nile SL Serie A |
4th | 21 | 8 | 6 | 29 | 21 | 31 | |||
1999 | 1 | Uganda Super League | 4th | 38 | 21 | 11 | 6 | 68 | 30 | 74 | ||
2000 | 1 | Uganda Super League | 2nd | 30 | 23 | 1 | 6 | 76 | 23 | 70 | ||
2001 | 1 | Uganda Super League | 2nd | 28 | 18 | 9 | 1 | 68 | 20 | 63 | ||
2002 | 1 | Uganda Super League | 3rd | 28 | 20 | 4 | 4 | 47 | 20 | 64 | ||
2002–03 | 1 | Uganda Super League | 3rd | 27 | 16 | 5 | 6 | 52 | 25 | 53 | ||
2004 | 1 | Uganda Super League | 2nd | 29 | 17 | 7 | 5 | 50 | 25 | 58 | ||
2005 | 1 | Uganda Super League Group B |
3rd | 8 | 4 | 2 | 2 | 18 | 9 | 14 | Qualified for KO phase
- reached semi-finals | |
2006 | 1 | Uganda Super League | 4th | 28 | 15 | 8 | 5 | 34 | 17 | 53 | ||
2006–07 | 1 | Uganda Super League | 4th | 32 | 17 | 6 | 9 | 51 | 33 | 57 | ||
2007–08 | 1 | Uganda Super League | 1st | 34 | 22 | 8 | 4 | 61 | 23 | 74 | Champions
| |
2008–09 | 1 | Uganda Super League | 2nd | 34 | 24 | 6 | 4 | 60 | 21 | 78 | ||
2009–10 | 1 | Uganda Super League | 4th | 34 | 14 | 15 | 5 | 41 | 14 | 57 | ||
2010–11 | 1 | Uganda Super League | 2nd | 26 | 14 | 6 | 6 | 26 | 14 | 48 | ||
2011–12 | 1 | Uganda Super League | 7th | 28 | 12 | 8 | 8 | 32 | 22 | 44 | ||
2012–13 | 1 | Uganda Super League | 1st | 30 | 17 | 12 | 1 | 50 | 16 | 63 | Champions
| |
2013–14 | 1 | Uganda Premier League | 1st | 30 | 18 | 6 | 6 | 60 | 24 | 60 | Champions
| |
2014–15 | 1 | Uganda Premier League | 3rd | 30 | 16 | 7 | 7 | 42 | 18 | 55 | ||
2015–16 | 1 | Uganda Premier League | 1st | 30 | 16 | 9 | 5 | 39 | 21 | 57 | Champions
| |
2016–17 | 1 | Uganda Premier League | 1st | 30 | 20 | 6 | 4 | 59 | 25 | 66 | Champions
| |
2017–18 | 1 | Uganda Premier League | 2nd | 30 | 17 | 10 | 3 | 54 | 21 | 61 | ||
2018–19 | 1 | Uganda Premier League | 1st | 30 | 19 | 9 | 2 | 61 | 23 | 66 | Champions
|
|
2019–20 | 1 | Uganda Premier League | 2nd | 25 | 15 | 5 | 5 | 42 | 21 | 50 | League ended prematurely
|
|
2020–21 | 1 | Uganda Premier League | 4th | 27 | 14 | 6 | 7 | 56 | 22 | 48 | League ended prematurely
|
|}
Bwe bazzebakola mu bikopo by'oku lukalo lwa Africa
[kyusa | edit source]Abazannyi[13]
[kyusa | edit source]Ttiimu eriwo[14]
[kyusa | edit source]
|
|
Abazannyi abaagizannyirako[11]
[kyusa | edit source]Okufuna olukalala olujjuvu olw'abazannyi abaliwo n'abaaliko mu Kampala City Council FC n'ebiwandikiddwa, laba
Obubaka obulala: Ensengeka: Abazannyi ba Kampala Capital City Authority FC
Abakozi abatali bazannyi[16]
[kyusa | edit source]Ensengeka y'abakungu [17]
[kyusa | edit source]Ekifo Erinnya
[kyusa | edit source]- Ssentebe:Martin Ssekajja
- Amyuka ssentebe:Aggrey Ashaba
- Omuwandiisi w'akakiiko: Davis Othieno
- Memba w'akakiiko: Nusula Sematimba Nagawa
- Memba w'akakiiko: Tom Lwanga
- Memba w'akakiiko: Kayanja Dumba Kyaterekera
- Memba w'akakiiko: Ali Kasirye Nganda
- Memba w'akakiiko: Moses Kataabu
- Memba w'akakiiko: Kennedy Okello
- Memba w'akakiiko: Joseph Kirimanyi
Abagiddukanya[18]
[kyusa | edit source]Ekifo Erinnya
- Akulira; Anisha Shahir Muhoozi
- Avunaanyizibwa ku bikolebwa n'okugudukanya: Moses Kaddu Ssekiti
- Ow'eby'ensiimbi: Michael Kirunga
- Omwogezi: Moses Mwanje Magero
- Agidukanya: Fathirat Kadala Zahara
- Avunaanyizibwa ku by'okulakulanya ebya bizineensi: Joshua Nagenda
- Kituunzi:Lorna Akeu
- Amyuka kituunzi:Patricia Munguryek
- Omw'eby'amawulire oba ebifanannyi: Robert Mulamule
- Ow'eby'amawulire/ vidiyo/ eby'emikutu: Ivan Turyatunga
- Omukwanaganya w'abawagizi: Gloria Nakisige
- Amyuka ow'eby'ensiimbi: Babaze Eunice
- Akulira abafumbi: Peter Olinga
- Amyuka akulira abafumbi: Lydia Babirye
- Abeera ku kisaawe: Juma Ssemanda
- Abeera ku kisaawe: Adrian Lumala
- Abeera ku kisaawe: Ali Kafeero
- Abeera ku kisaawe: Brian Barasa
Ttiimu y'abali ku kakiiko k'ebyekikugu[19]
[kyusa | edit source]Ekifo Erinnya
- Maneja: Sergio Traguil
- Omumyuka wa maneja: Badru Kaddu Mukasa
- Omutendesi w'aba kkipa: Moses O Oloya
- Omumyuka w'omutendesi/ Omutendesi akulira akademi y'omupiira: Richard Malinga
- Amyuka omutendesi / Omumyuka w'atandeka akademi y'omupiira:Saka Mpiima
- Atendeka okubeera fiiti n'okusigala mu mbeera enungi:Felix Ayobo
- Anoonya abazannyi:Fahad Yahaya Walugembe
- Omusawo wa ttiimu: Ivan Ssewanyana
- Omusawo wa ttiimu: Emmanuel Tusuubira
- Omusajja avunaanyizibwa ku mijoozi:Abbey Mwanje
- Omukyala avunaanyizibwa ku mijoozi:Betty Nantale
Obwannannyini n'obuvujjirizi[20]
[kyusa | edit source]Kampala Capital City Authority Football Club Limited, kkampuni ya bwannannyini wabula nga mulimu abagirinamu emigabo. Kiraabu eno ab'ekitongole kya Gavumenti ekya Kampala Capital City Authority be bagirinako obuvunaanyizibwa obw'enkomeredde. Kiraabu ensimbi eziggya mu Gavumenti, abavujjirizi ab'enjawulo ssaako ebintu ebirala nga: okupangisa abantu ekisaawe kyayo, okutunda ebyamaguzi bya ttiimu, abazannyi, ne ssente ze babeera bawangudde ng'ebirabo. .Abavujjirizi kuliko; MTN Uganda (kampuni y'amasimu), Vivo Energy (kkampuni y'amafuta), Britam Insurance (kyampuni ya yinsuwa) n'endala.
Ekisaawe[21]
[kyusa | edit source]Amaka ga KCCA FC e Lugogo, Kampala gamannyikiddwa nga MTN Omondi Stadium okuva mu 2020 olw'ensonga z'obuvujjirizi. Ekisaawe kino mu kusooka kyali kitumiddwa Startimes Stadium (2017-2020) ne Phillip Omondi Stadium nga bakibbula okuva ku muzannyi waabwe eyali ow'amaanyi Phillip Omondi eyafa. Enteekateeka y'okugaziya ekisaawe kino weeri nga ya myaka etaano. Mu kiseera kino ekisaawe kino kituuza abantu 10,000.
Bye batuuseeko[22]
[kyusa | edit source]- Ugandan Cup: 10
- 1978, 2019
- 2013, 2014, 2016, 2017, 2018, 2019
- Super 8: 1
- 2018
Bwe bakoze mu mpaka ezitegekebwa ekibiina ekifuga omupiira ku semaziga wa Africa ekya CAF[23]
[kyusa | edit source]1998- Lawuundi esooka
2009-Lawuundi ey'okubiri
2014-Lawuundi esooka
2017-Oluzannya lw'okusunsula
- African Cup of champions Clubs: Emirundi 6
1977-Lawuundi ey'okubiri
1978-Luzannya lwa 'quarter'
1982-Luzannya lwa 'quarter'
1984-Lawuundi ey'okubiri
1986-Lawuundi ey'okubiri
1992-Lawuundi ya kubiri
- CAF Cup: Emirundi 4
1995-Lawuundi ey'okubiri
1997-Oluzannya lwa oludirira olwakamalirizo
2001-Lawuundi esooka
2002-Lawuundi esooka
- CAF Confederation Cup: Emirundi 4
2005- Lawuundi esooka
2009- Lawuundi ey'okubiri eya ttiimu 16
2017- Bibinja
2019- Luzannya lw'okusunsula
- CAF Cup Winners' Cup: Emirundi 7
1980-Lawuundi ey'okubiri
1981-Lawuundi esooka
1983-Lawuundi ey'okubiri
1985-Oluzannya lwa 'quarter'
1988-Lawuundi esooka
1991- Lawuundi ey'okubiri
1994-Lawuundi esooka
Ebijuliziddwa [24]
- ↑ http://www.kcca.go.ug/
- ↑ https://www.facebook.com/pages/Kampala-Capital-City-Authority-FC/544426115652441
- ↑ 3.0 3.1 3.2 3.3 3.4 3.5 https://web.archive.org/web/20140221132350/http://soccer256.com/KCC%20F.html
- ↑ 4.0 4.1 4.2 4.3 4.4 4.5 https://web.archive.org/web/20110521041054/http://www.kccfootballclub.com/index_more.php
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Kampala_Capital_City_Authority_FC#cite_note-RSSSF1-5
- ↑ https://www.rsssf.org/tablesa/af1.html
- ↑ https://www.rsssf.org/tablesa/af2.html
- ↑ https://en.wikipedia.org/w/index.php?title=Kampala_Capital_City_Authority_FC&action=edit§ion=2
- ↑ https://en.wikipedia.org/w/index.php?title=Kampala_Capital_City_Authority_FC&action=edit§ion=3
- ↑ https://en.wikipedia.org/w/index.php?title=Kampala_Capital_City_Authority_FC&action=edit§ion=4
- ↑ 11.0 11.1 https://en.wikipedia.org/w/index.php?title=Kampala_Capital_City_Authority_FC&action=edit§ion=8
- ↑ http://scoreshelf.com/rmbb/en/Kampala_City_Council
- ↑ https://en.wikipedia.org/w/index.php?title=Kampala_Capital_City_Authority_FC&action=edit§ion=6
- ↑ https://en.wikipedia.org/w/index.php?title=Kampala_Capital_City_Authority_FC&action=edit§ion=7
- ↑ "KCC FC". FUFA. 9 February 2014.
- ↑ https://en.wikipedia.org/w/index.php?title=Kampala_Capital_City_Authority_FC&action=edit§ion=9
- ↑ https://en.wikipedia.org/w/index.php?title=Kampala_Capital_City_Authority_FC&action=edit§ion=10
- ↑ https://en.wikipedia.org/w/index.php?title=Kampala_Capital_City_Authority_FC&action=edit§ion=11
- ↑ https://en.wikipedia.org/w/index.php?title=Kampala_Capital_City_Authority_FC&action=edit§ion=12
- ↑ https://en.wikipedia.org/w/index.php?title=Kampala_Capital_City_Authority_FC&action=edit§ion=13
- ↑ https://en.wikipedia.org/w/index.php?title=Kampala_Capital_City_Authority_FC&action=edit§ion=14
- ↑ https://en.wikipedia.org/w/index.php?title=Kampala_Capital_City_Authority_FC&action=edit§ion=15
- ↑ https://en.wikipedia.org/w/index.php?title=Kampala_Capital_City_Authority_FC&action=edit§ion=16
- ↑ https://en.wikipedia.org/w/index.php?title=Kampala_Capital_City_Authority_FC&action=edit§ion=17