Kansai Plascon FC
Template:Infobox football clubKansai Plascon FC nga mukusooka yali emannyikiddwa nga Sadolin Paints FC kiraabu ya Uganda ey'omupiira okuva mu Bugembe, Uganda. Baasalibwaako okuva mu kibinja kya Uganda ekyababinyweera mu sizoni ya 2016-2017 nga ensanzi zino bazannyira mu kibinja kya Uganda eky'okubiri.[1]
Baasumusibwa okuva mu Kibinja kya Uganda eky'okubiri mu 2013-14 nebamala emyaka esatu mu Kibinja kya Uganda ekisooka.[2] Sadolin Paints baatuuka ku luzannya oludirira olw'akamalirizo mu mpaka za Ugandan cup mu sizoni ya 2016–2017, gyebaakubibwa ttiimu y'ekibinja eky'okubiri eyali eyitibwa Paidha Black Angels ku mugatte gwa ggoolo 3–2.[3]
Mu 2015, baali batendekebwa Omudaalo Jacques Van der Walt, oeyali maneja ow'okubiri omugwiira mu Kibinja kya Uganda ekyababinyweera. Bamuzaayo wansi mu 2015.[4]
Erinya
[kyusa | edit source]Kiraabu yali emannyikiddwa nga Sadolin Paints FC mu biseera byebaamala nga bali mu Kibinja kya Uganda ekyababinyweera nga bayita mu kuvugirirwa. Wabula laangi ya Sadolin mu Uganda yafiirwa olukusa lwabwe olw'okukozesa erinya lino mu 2017, era nebagulibwa aba Kansai Plascon. Ttiimu yakyusa erinya nebatandika okugiyitwa Kansai Plascon okuva mu sizoni ya 2018.[5][6]
Ebijuliziddwaamu
[kyusa | edit source]- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1453503/sadolin-paints-relegated-uganda-premier-league
- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1432720/sadolin-paints-confirms-signings
- ↑ http://rsssf.com/tableso/oeg2017.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20180618002928/http://www.xinhuanet.com/english/2015-08/08/c_134493852.htm
- ↑ https://www.businessdailyafrica.com/corporate/companies/Sadolin-paints-lose-trade-name/4003102-4025058-k0qd0yz/index.html
- ↑ http://newz.ug/sadolin-paints-uganda-to-rebrand-to-plascon-paints/