Kasooli yara 42

Bisangiddwa ku Wikipedia

Mu by'obulimi, ebipya bizuulwa buli lunaku. Ku luno, abakugu batuleetedde ekika kya kasooli ekipya kye bayita YARA 42. Aba kkamuni ya Victoria Seeds Limited be bakireese mu katale ka Uganda. Bwosimba ekika kino, mu kwota ya yiika, osobola okukungula kilo lunaana be ddu! Kino kitegeza nti ebbeeyi bweba nga nnungi , tugambe nga kilo egula shilingi lukumi, omulimi aba afuna emitwalo kinaana!!! Ono kasooli muyitirivu! Wabula okumulima, otekeddwa okusimba mu mabanga amatuufu ate nga buli kinnya mulimu ekigimusa.[1]

  1. Bukedde Newspaper, Monday 10th February,2014