Katumba Wamala
Edward Katumba Wamala yazaalibwa ng'ennaku z'omwezi 18 omwezi ogw'ekkumi n'ogumu mu mwaka gwa 1956.General wa Uganda era nga ye minisita w'eby'emirimu n'eby'entambula, ekifo ky'abaddemu okuviira ddala mu mwaka gwa 2019.[1]
Nga tanajja mu kifo ekyo,Katumba Wamala yasooka kuweereza nga minisita omubeezi ow'eby'emirimu okuva mu mwezi gw'olubereberye okutuuka mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri omwaka gwa 2019[2]. Mu ngeri y'emu yasooka n'aweereza mu kifo ekisinga okubeera eky'eddaala eryawaggulu mu magye nga kye kya kalabaalaba w'eggye ekkulu erya Uganda (UPDF) okuva mu mwaka gwa 2001 okutuuka 2005. Katumba Wamala era yaweerezaako nga ssaabaduumizi wa police ya Uganda (IGP) okuva mu mwaka gwa 2001 okutuuka mu mwaka gwa 2005, era nga kino ky'ekifo eky'okuntikko mu police ya Uganda. Wamala ye munnagye eyasooka okuweereza ng'omukulu wa police mu Uganda ate nga yali akyaweereza mu ggye lya Uganda ekkulu. Ng'ennaku z'omwezi 1 omwezi ogw'omukaaga omwaka gwa 2021, Katumba yasimattuka okuttibwa abatemu ab'emmundu abaamukolako obulumbaganyi mu bitundu by'eKisaasi mu Kampala ne bamaliriza nga basse muwala we gwe yali naye bw'atyo ye General ne bamuleka n'ebisago eby'amaanyi ku bibegaabega bye byombi.[3]
Ebimukwatako
[kyusa | edit source]Yazaalibwa nga 19 omwezi ogw'ekkuminoogumu mu mwaka gwa 1956 e Bweeza mu bizinga by'eSsese mu disitulikiti y'eKalangala.[4]
Kusoma kwe.
[kyusa | edit source]Katumba Wamala alina ebbaluwa mu by'obulimi. Mu mwaka gwa 2007 yafuna diguli esooka mu International relations and diplomacy okuva mu Nkumba University. Alina ne masters diguli mu science in strategic leadership gye yafunira mu United States Army War College[5][6]. Alina amabaluwa okuva mu matendekero g'ekinnamagye gano wammanga; Uganda Military Academy, Tanzania Military Academy. waliwo n'ebbaluwa gye yafuna okuva tendekero ly'amagye erya Soviet Union, endala yagifunira mu Nigerian Command and staff College, ne mu United States Army command and staff College, ssaako ne gye yafunira mu United States Army War College.[7]
By'akoze/ Ebufo by'aweerezzaamu.
[kyusa | edit source]Wamala yali offiisa mu ggye lya Uganda National Liberation Army.(UNLA). Kyokka eggye lya National Resistance Army(NRA) bwe lyawangula UNLA mu mwaka gwa 1986. Bw'atyo yeekyusiza mu kiti nga mbazzi n'adda mu NRA.[8]
Wakati wa 1999 ne 2000, Katumba yali muyizi mu ssomero lya U.S Army War college mu Carlisle, mu Pennsyvania. Wakati wa 2000 ne 2001,ng'ali ku ddaala lya Major General yaduumira eggye ly'eggwanga mu ggwanga lya Congo. Yalondebwa mu kifo ky'obwa ssaabaduumizi wa police ya Uganda mu mwaka gwa 2001 ekifo kye yaweerezaamu okutuusa mu mwaka gwa 2005. OLwo no nasuumusibwa okutuuka ku kitiibwa kya luteenanti general era n'aweebwa n'obukulu bw'okuduumira amagye g'eggwanga ag'okuttaka. Yafuulibwa ofiisa omukulu ennyo mu magye ga Uganda era nga yali atuula Balakisi y'amagye e Bombo. Mu buweereza bwe ng'omuduumizi w'amagye g'okuttaka, Katumba yeetaba mu minsoni yamagye g'eggwanga eyali atakabanira okuzza emirembe mu ggwanga lya Somalia. Minsoni eno yali eyitibwa AMISON. Ng'ennaku z'omwezi 23 omwezi ogw'omukaagaomwaka gwa 2013,Katumba yasuumusibwa okutuuka ku ddaala lya four star general era n'alondebwa okukulira amagye ga Uganda.
Olukwe lw'okutta Katumba wamala.
[kyusa | edit source]Ng'ennaku z'omwezi lumu omwezi 1 omwezi ogw'omukaaga omwaka 2021, Katumba Wamala bwe yali atambuddeko mu kibuga Kampala, abasajja bana abaali babagalidde emigemerawala baasindirira mmotoka ya Katumba Wamala bwe yali atuuse okumpi n'ewaka we e Kisaasi mu Kampala.Wamala yasobola okusumattuka naye nga yafuna ebisago eby'amaanyi ku kibegaabega bw'atyo naddusibwa mu ddwaliro. Eby'embi dulayiva we Haruna Kayondo ne muwala we Brenda Wamala Nantongo be yali nabo mu mmotoka bo tebaasobola kusumattuka era baafiirawo mbulaga.[9][10]
- ↑ https://www.monitor.co.ug/News/National/Museveni-shuffles-Cabinet-drops-Muloni-Nadduli-Ssekandi/688334-5386130-139sq4lz/index.html
- ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1443700/muhoozi-replaces-katumba-cdf
- ↑ https://news.yahoo.com/katumba-wamala-uganda-mp-shot-095221152.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20151223092033/http://www.newvision.co.ug/D/8/459/463676
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/United_States_Army_War_College
- ↑ http://allafrica.com/stories/200704230693.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20151223092033/http://www.newvision.co.ug/D/8/459/463676
- ↑ https://web.archive.org/web/20150623073507/http://www.newvision.co.ug/D/8/26/454351
- ↑ https://chimpreports.com/gen-katumba-wamala-attacked-by-gun-men-driver-reported-dead/
- ↑ https://www.dw.com/en/assassination-attempt-on-ugandan-minister-kills-2/a-57736189