Ken Lukyamuzi
John Ken Lukyamuzi, nga amanyikiddwa nnyo nga Ken Lukyamuzi, munnayuganda, munnabyabufuzi era munnamateeka nga ye mukulembeze w'ekibiina ky'ebyobufuzi ekya [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Conservative%20Party%20(Uganda) Conservative Party] ekya Uganda.[1] Yaweerezako mu Paalamenti ya Uganda ey'omusanvu (2001–2006) ng'omubaka omulonde akiikirira konsitityuwensi y'obukiikaddyo bwa Lubaga (Rubaga South).[2] Yakiikirira ekitundu ky'ekimu mu Paalamenti y'omwenda (2011–2016)[3]
Obuyigirize bwe
[kyusa | edit source]Mu mwaka gwa 2013, Ken Lukyamuzi yaweebwa ekifo mu ssetendekero wa Makerere University mu ssomero ly'amateeka.[4] Oluvanyuma lw'emyaka mukaaga egy'okusoma nga mwemuli n'okuddamu ebigezo, yaweebwa Diguli mu mateeka eya Bachelor of Laws mu Gusooka 2019.[5]
Emirimu gye ng'omubaka mu Paalamenti
[kyusa | edit source]Ken Lukyamuzi yakiikirira konsityuwensi y'obukiikaddyo bwa Lubaga mu Paalamenti ya Uganda okuva mu mwaka gwa 2001 okutuusa mu 2006.[2] Wabula olw'okulemererwa okwangya eby'obugagga bye nga amateeka bwegalagira, Ken yafuumulwa okuva mu Paalamenti mu mwezi Ogusooka 2006.[6] Suzan Nampijja Lukyamuzi, muwala wa Ken Lukyamuzi yalondebwa okudda mu kifo kya kitaawe okukiikirira Konsityuwensi ye mu Paalamenti y'omunaana (2006–2011).[7]
Ken Lukyamuzi yawabira kaliisoliiso wa Gavumenti (IGG) olw'okozesa olukwesikwesi okumugoba mu Paalamenti for wrongful dismissal from parliament. Kkooti ya Yuganda ensukkulumu yakkiriziganya ne Lukyamuzi era neragira okuliyirirwa era n'okuggya envumbo ey'obuteetaba mu by'abufuzi eyali emutereddwako Kalisoliiso wa Gavumenti (IGG).[8]
Mu Paalamenti y'omwenda(2011–2016), Ken Lukyamuzi yaddamu n'alondebwa ogw'okubiri okukiikirira Konsityuwensi y'aBukiikaddyo bwa Lubaga.[3] Mu kalulu ka 2016, Ken Lukyamuzi yawangulwa omubaka gw'eyali avuganya naye Kato Lubwama, Munnabyabufuzi atalina kibiina era ng'amulimu gwe omulala Munnakatemba[9]
Ebirala eby'enkizo
[kyusa | edit source]Ken Lukyamuzi mulwanirizi obutonde bw'ensi era kigambibwa okuba nti yeyatandikawo Wildlife Club of Uganda, ng'ali wamu n'omugenzi Ponsiano Semwezi era n'omugenzi Professor Eric Edroma.[10]
Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ https://www.monitor.co.ug/OpEd/Commentary/Government-losing-Constitution-direction-that-is-absurd/689364-4752996-6hwhlnz/index.html
- ↑ 2.0 2.1 https://en.wikipedia.org/wiki/New_Vision
- ↑ 3.0 3.1 https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1416009/lukyamuzi-discharged-hospital
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-01-19. Retrieved 2022-11-23.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-04-17. Retrieved 2022-11-23.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://ugandaradionetwork.com/story/lukyamuzi-expelled-from-parliament-rubaga-south-seat-declared-vacant
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/The_Observer_(Uganda)
- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1293123/lukyamuzi-nambooze-win
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-04-17. Retrieved 2022-11-23.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.campustimesug.com/wildlife-conservationist-and-educationist-prof-eric-edroma-dies-at-74/
Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya
[kyusa | edit source]- Ba Lukyamuzi bazalibwa bakulemeze Okuva nga 8 Ogwokubiri 2006.