Khalid Aucho
Khalid Aucho yazaalibwa nga 8, Ogwomunaana mu 1993, nga munayuganda azannya omupiira gw'ensiimbi ng'omuwuwuttanyi azibira mu kiraabu ya liigi y'e Tanzania eyababinywera eya Young Africans ne ttiimu ya Uganda ey'eggwanga.[1][2]
Aucho azannye omupiira mu kiraabu eziwerako ng'eya Jinja Municipal Council F.C okuva mu 2009 paka 2010, Water F.C eya Uganda, okuva mu 2010 paka mu 2012, Simba FC eya Uganda, Tusker ey'e Kenya, Gor Mahia ey'e Kenya, ne Baroka ey'e South Afrika mu liigi y'omupiira eyababinywera. Yali omu kubaali ku ttiimu ya Uganda eyakiika mu mpaka ez'etabibwamu Amawanga g'okulukalo lwa Afrika omulundi ogwali gusooka mu myaka 38.
Obulamu bwe
[kyusa | edit source]Aucho yazaalibwa Jinja mu Uganda. Pulayimale yagisomera ku Namagabi Primary School e Kayunga, St Thudus gyeyatuulira siniya ey'okuna, ne Iganga Mixed School gyeyatulira siniya ey'omukaaga.[3]
Kiraabu za zannyiddemu
[kyusa | edit source]Gor Mahia F.C.
[kyusa | edit source]Aucho yazannyira liigi yababinywera ey'e Kenya gyebyita Gor Mahia F.C okuva mu 2015 paka Ogwokutaano mu 2016.[4] Yeegata ku Gor Mahia ng'ava mu Tusker, nga baamwanjula nga 8, Ogwolubereberye mu 2015 ku kisaawe kya Nyayo.[5] Yateeba ggoolo ye eyasooka mu GorMahia nga 22, Ogwokusatu mu 2015 mu ddakiika eya 41 nga bazannya Chemilli Sugars F.C, gyebaawangula 3–1.[6] Aucho yazannya omupiira gwe ogwali gusembayo mu Gor Mahia, nga 25, Ogwokutaano mu 2016 ku kisaawe kya Moi e Kisumu nga battunka ne Sofapaka F.C, bweyatomera omutwe ku lw'aba kyampiyoni ba Kenya mu ddakiika ey'omukaaga, nga Gor Mahia emalako oluzannya olusooka nga yeekulembedde ekimeeza n'obubonero 29.[7]
Mu 2016 Ogwomusanvu, Aucho yagenda okugezesebwa mu liigi y'e Scotland mu Aberdeen.[8][9] Wabula okugendakwe mu Aberdeen kwagaana oluvannyuma lwa kiraabu zombi okulemererwa okukirizganya ku ssente omuzannyi zeyali alina okutundubwa, oba okugulibwa.[10] Oluvannyuma lw'okugezesebwa okwagaana mu Scotland, Aucho yaweebwa endagaano aba Baroka F.C okuva mu South Afrika ku muwendo ogugambibwa okubeera 200,000 mu ssente z'e South Afrika, nga mu z'e Kenya 1,600,000.[11]
Baroka F.C.
[kyusa | edit source]Nga 24, Ogwomunaana mu 2016, Aucho yakansibwa Baroka FC ey'ekibinja kyababinywera eky'e South Afrika .[12] Yazannya omupiira gwe ogusooka nga 15 Ogwekumi mu 2016, mu mupiira gwa liigi yababinywera ku kisaawe kya Cape Town Stadium mu ddakiika eya 50 bweyava ku katebe okudira Chauke Mfundhisii eyali agibwayo.[13]
Serbia
[kyusa | edit source]Mu Gwokubiri mu 2017, munaku ezaali zisembayo mu kukyusa kyusa abazannyi mu biseera eby'obutiti, Aucho yagenda mu Red Star Belgrade oluvannyuma lw'okweyimirirwa omutendesi wa ttiimu lya Uganda Milutin Sredojević. Red Star mu bunaambiro yamusindika ku baanja mu OFK Beograd okutuusa sizoni bweyagwaako.[14] Olw'ebizibu ebyali mu badukanya eby'emirimu, ne viza eyali emubuzeeko, Aucho yateeka omukono kundagaano ya myezi mukaaga ne OFK Beograd.[15] Ekyaddako kiraabu kusalibwako nedayo mu kibinja kyawansi ekya Serbian League Belgrade, Aucho yatendekebwa nga ne Red Star Belgrade okumala akabanga mu 2017,[16] oluvannyuma n'ayabulira kiraabu eyo mu Ogwomukaaga mu mwaka gwegumu.[17]
Mu Buyindi
[kyusa | edit source]Aucho yeegata ku East Bengal February mu mipiira egisembayo mu 2017 ne 2018 mu I-league ne mu mpaka za Indian Super Cup. Yeetaba mu mipiira gyonna enna egya kiraabu eno mu 2018 mu Indian Super Super Cup Yateebwa oluvannyuma lw'empaka okugwa.
Mu Gwomwenda mu 2018, yeegata ku kiraabu endala mu Buyindi eya Churchill Brothers.[18][19] Yazannya omupiira gwe ogwa liigi ogwali gusooka nga 28, Ogwekumi mu 2018, nga yazannya edakiika zonna 90 nga balemagana ne 0–0 ne Minerva Punjab gyebaali bagenze ku bugenyi.[20] Yateeba ggoolo ye mu kiraabu eno eya liigi eyali esooka nga 9 Ogwekumineebiri 2018 webaali ewaka nga bawangula Aizawl F.C. 4-1. Ggoolo ye eyayambibwako Israil Gurung, yateebwa mu ddakiika eya 23 negubeera 1–0 ku ludda lwa Churchill Brothers.[21]
Makkasa SC
[kyusa | edit source]Mu 2019 Ogwomusanvu, Aucho yeegata ku Misr Lel Makkasa SC kundagaano ya myaka ebbiri [22] Mu sizoni ye eyali esooka mu kiraabu eno, yabazannyira emipiira 21, n'ateeba emirundi ebbiri,[23] ate mu sizoni ye ey'okubiri yabazannyira emipiira 13.[23]
Young Africans S.C.
[kyusa | edit source]Aucho yagenda mu kiraabu ye Tanzania gyebayita Young Africans S.C. mu Ogwomunaana mu 2021.[23]
Bw'akoze ku mutendera gw'ensi
[kyusa | edit source]Aucho yatandika okuzannyira ttiimu y'egwanga lya Uganda eya "Cranes" nga battunkja ne Rwanda gwebakuba 1–0 mu 2013 mu mpaka ez'etabwamu amawanga okuva mu masekati ne mu buvanjuba bwa Afrika. Yateeba ggoolo ye eyasooka ku mutendera gw'ensi mu mupiira gwbaali bazannya Sudan gyebawangula 1–0 mu mupiira gw'ekibinja mu mpaka zezimu.[24]
Mu 2016 Ogwomukaaga, Aucho yateeba omupiira okuva mu ntabwe ya bokisi ya ttiimu ye ogwayita ku mitwe gy'abazannyi bwebaali bawangula Botswana gyebakuba 2-1 nga bagikyalidde mu mupiira ogwali ogw'okusunsula abaali bagenda mu mpaka ezeetabibwamu amawanga ga Afrika mu 2017.[25]
Aucho yaliko ku ttiimu ya Uganda eyakiika mu mpaka ez'etabibwamu amawanga ga Afrika omulundi ogwali gusooka mu myaka 38 nga 4 Ogwomwenda mu 2016.[26][27]
Aucho yayitibwa omutendesi Milutin Sredojević tn'amuteeka ku ttiimu y'a Uganda eyali egenda okuzannya empaka za 2017 ez'etabibwamu amawanga ga Afrika.[28] Yasubwa omupiira ogwali gusooka nga battunka ne Ghana nga 17 mu Gwolubereberye mu 2017 olw'okuba yali ali kukibonerezo.[29]
Ebibalo gy'azze azannyira omupiira
[kyusa | edit source]M unsi
[kyusa | edit source]Ttiimu y'egwanga | Omwaka | Emirundi gy'azannye | Ggoolo z'ateebye |
---|---|---|---|
Uganda | 2013 | 4 | 1 |
2014 | 8 | 0 | |
2015 | 6 | 0 | |
2016 | 10 | 1 | |
2017 | 5 | 0 | |
2018 | 6 | 0 | |
2019 | 6 | 0 | |
Omugatte | 45 | 2 |
- Emirundi gy'ateebye n'ebivuddemu, biri kulukalala lwa Uganda olulaga ggoolo, n'ennyiriri eziraga okuteeba buli luvannyuma lwa buli ggoolo ya Aucho.[1]
No. | Enaku e'omwezi | Ekifo | Gwebaali bazannya | Gwa gwa gutya | Ebivuddemu | Empaka |
---|---|---|---|---|---|---|
1 | Nga 5 Ogwekumineebiri mu 2013 | Afraha Stadium, Nakuru, Kenya | Sudan | 1–0 | 1–0 | Mu mpaka za 2013 ez'etwabibwamu amawanga okuva mu masekati ne mubuvanjuba bwa Afrika |
2 | Nga 4 Ogwomukaga 2016 | Francistown Stadium, Francistown, Botswana | Botswana | 2–1 | 2–1 | Emipiira z'okusunsula abaali bagenda okwetaba mu mpaka z'amawanga ga Afrika eza 2017 |
Engule
[kyusa | edit source]Gormahia
Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ 1.0 1.1 1.2 1.3 https://www.national-football-teams.com/player/54276.html Cite error: Invalid
<ref>
tag; name "nft" defined multiple times with different content - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-09-15. Retrieved 2022-12-07.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.kawowo.com/2013/12/02/orphan-status-inspires-cranes-player-khalid-aucho/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2018-10-04. Retrieved 2022-12-07.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://bigeye.ug/khalid-aucho-joins-kenyas-gor-mahia/
- ↑ https://www.whoscored.com/Matches/932518/Live/Kenya-Premier-League-2015-Gor-Mahia-Chemelil-Sugar
- ↑ http://www.goal.com/en-ke/match/gor-mahia-vs-sofapaka/2213853/report
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2018-10-04. Retrieved 2022-12-07.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2018-10-04. Retrieved 2022-12-07.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://web.archive.org/web/20161222152705/http://www.ultimatesports.co/2016/08/04/khalid-aucho-aberdeen-deal-flops/
- ↑ http://www.standardmedia.co.ke/m/article/2000215862/gor-mahia-cash-in-on-aucho-s-transfer
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2018-10-04. Retrieved 2022-12-07.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2018-10-04. Retrieved 2022-12-07.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://www.zurnal.rs/fudbal/zvezda/45221/zvezda-dovela-reprezentativca-ugande-i-odmah-ga-poslala-na-pozajmicu-video?lang=lat
- ↑ "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2017-03-17. Retrieved 2022-12-07.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://www.crvenazvezdafk.com/scc/vest/5909/kalid-auco-prikljucen-ekipi
- ↑ http://www.mozzartsport.com/vesti/nije-debitovao-a-vec-ide-rastali-se-zvezda-i-kalid-auco/170883
- ↑ https://www.goal.com/en-us/news/churchill-brothers-sign-khalid-aucho-retain-dawda-ceesay-hussein-/1xd0zyn4s3pe01neh2ofdz9snj
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-04-05. Retrieved 2022-12-07.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://int.soccerway.com/matches/2018/10/28/india/i-league/india-minerva-fc/churchill-brothers-sc/2928125/
- ↑ https://int.soccerway.com/matches/2018/12/09/india/i-league/churchill-brothers-sc/aizawl-fc/2928162/
- ↑ https://kawowo.com/2019/07/07/uganda-cranes-midfielder-aucho-seals-deal-at-egyptian-top-flight-side/
- ↑ 23.0 23.1 23.2 https://www.kingfut.com/2021/08/11/aucho-signs-for-young-africans/
- ↑ http://www.newvision.co.ug/news/650232-aucho-inspires-cranes-past-sudan.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2017-03-30. Retrieved 2022-12-07.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://kawowo.com/2016/03/24/burkina-faso-vs-uganda-who-is-who-in-the-cranes-squad-afcon-2017-qualifiers/
- ↑ https://kawowo.com/2016/09/04/uganda-cranes-qualify-for-afcon-after-38-years/
- ↑ http://www.fufa.co.ug/total-africa-cup-nations-2017-uganda-cranes-23-man-squad-gabon-named/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2018-08-09. Retrieved 2022-12-07.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)
Ewalala w'oyinza okubigya
[kyusa | edit source]- Khalid Aucho ku mukutu gwa Soccerway
- Khalid Aucho ku mukutu gwa National-Football-Teams.com