Kiara Kabukuru

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Kiara Kabukuru yazaalinwa nga ye Alice Kabukuru,[1] mu Gwomusanvu nga 31 mu 1975, nga Munayuganda eyazaalibwa mu Amerika nga omwolesi w'emisono.[2][3] Kabukuru asina kumannyikwa kubeera ku butabo kungulu ng'ayolesa emisono.

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Kabukuru yaaalibwa nga ayitibwa Alice Kabukuru e Kampala mu Uganda, nga bazadde be ye Moses Kabukuru ne Erinah Kasabiti nga omu kubaana abana.[4] Wadde bajjajja bbe baasenguka okuva mu Rwanda nebayingira mu Uganda mu 1920, yeetwala okubeera Omunyankole.[5] Nga ayambibwako ab'ekibiina ekirwanirira abantu abatulugunyiziddwa entalo wamu ne United Way, Kabukuru ne famire ye bagenda okugenda mu California olw'obutabanguko obwali buva ku by'obufuzi mu ggwanga lyabwe ery'obuzaale. Kabukuru yazuulibwa omukubi w'ebifannanyi Bill Bodwell mu kifo webatunda ebintu mu Los Angeles, bweyalina emyaka 16. Yakyusa erinya okutandika okweyita Kiara, nga kiva ku eyali kituunzi we mu kampuni y'aboolesi b'emisono, eya Ford Models.[1]

Mu 2000, Kabukuru, yafuna akabenje bweyali avuga akagaali ne mu kibuga kya New York, loole y'emipiira 18 bweyamutomera. Yali yeetaaga okulongosewaba nadala mu feesi okuddamu okugizimba btuo, wamu n'omubiri gwe okugujanjaba. Kabukuru yakomawo akatono mu by'okwolesa emisono mu 2008, bweyali mu All Black issue of Vogue Italia.[6] Mu 2012, yakomawo mu by'okwolesa emisono mu bujuvu.[7][1]

Kabukuru mukwano nnyo owa Gisele Bündchen nga ono ayolesa misono, ng'era amwebaza nnyo olw'okumuyamba okukomawo mu by'okwolesa emisono. Kabukuru yeeyeyimirira mutabani wa Bündchen, amannyikiddwa nga Benjamin.[8]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Kabukuru akiikiriddwa kampuni ez'olesa emisono ez'amannyi munsi yonna, nga muno mwemuli; Women Management, Trump Model Management, wamu n'eya Why Not Model Agency,[9] Okutuuka mu Gwokubiri mu 2011, akiikirirwa ekitibwa Silent models mu New York wamu ne mu kibuga Paris.[10] Kabukuru akoleddeko kampuni ezivunaanyizibwa ku by'emisono nga Dior, Versace, Calvin Klein, Chanel, wamu ne Balmain.[9] Emirimu gye egisinga okumannyikwa mu by'okusunsula kwekuli okubeera kungulu kw'akatabo ka Vogue mu Spain ne mu ggwanga lya Amerika, wamu ne mu Amica Yitale. Akoleddeko kampuni ezikola mu by'okukuba obulango nga Dolce & Gabbana, Moschino, L'Oréal, Calvin Klein, Yves Saint Laurent, Gucci, wamu n'okubeera kubizogo eby'enjawulo.[9]

Yatekebwaako ku kalenda ya Pirelli eya 1998, ng'era yayolesaako n'emisono ku mukolo gwa Victoria's Secret Fashion Show mu 1999.[11][12]

Ebiwandiiko[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 1.2 Lustig, Jessica. "Back in the Picture". W Magazine (in Lungereza). Retrieved 2019-06-05.
  2. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1105079/kiara
  3. https://www.huffpost.com/entry/kiara-kabukuru-cr-fashion-book_n_2664218
  4. https://crfashionbook.tumblr.com/post/42873081258/kiara-kabukuru
  5. Magazine, Ladybrille (2009-09-07). "Kiara Kabukuru, Ugandan American Supermodel". Ladybrille® Magazine (in American English). Retrieved 2019-06-05.
  6. https://www.vogue.it/en/vogue-black/spotlight-on/2010/10/kiara-kabukuru
  7. https://www.huffingtonpost.ca/entry/top-nineties-model-kiara-_n_2715668?ri18n=true
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2023-03-23. Retrieved 2024-04-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. 9.0 9.1 9.2 Kiara Kabukuru at Fashion Model Directory
  10. http://www.silentmodels.com/
  11. Uwumarogie, Victoria (2016-12-05). "All The Black Models Who've Walked In A Victoria's Secret Fashion Show Since 1995". MadameNoire. Retrieved 2019-06-05.
  12. https://satisfashionug.com/kiara-kabukuru-on-her-major-fashion-comeback-and-close-friend-gisele-bundchen/

Ewalala w'oyinza okubigya[kyusa | edit source]