Jump to content

Kilembe Mines FC

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Infobox football clubKilembe Mines Football Club, nga bakisalako nekibeera Kilembe Mines FC, kiraabu ya mupiira mu Uganda esinganibwa mu Kasese mu Nsozi za Rwenzori. Kiraano eno yali ezaanyira mu kibinja kya liigi ya Uganda mu myaka gya 1970 gyonna.

Ebigikwatako

[kyusa | edit source]

Kilembe Mines FC ensangi zino ezaanyira mu kibinja ekisooka ekya Disitulikiti ya Kasese nga kino kitundu ku kibinja eky'okuna ekya sisitiimu ya liigi za Uganda. Kiraabu eno erina akakwate ku kibiina ekidukanya omupiira mu disitulikiti y'e Kasese mu zooni 11 mu bitundu bya Kitara mu kitundu kya Tooro mu bitundu ebidukanyizibwa ekibiina ekivunaanyizibwa omupiira mu Uganda.[1]

Kilembe Mines FC yali evugirirwa kampuni ya Kilembe Mines Limited mu by'ensiimbi era nefuuka kiraabu okubeera nga yali esibuka mu bitundu bw'ebweru wa Kampala okuzannyira mu kibinja kya Uganda ekyawagulu, Ekibinja ky'eggwanga ekisooka kyaliwawo mu 1969.[2] Mu mupiira gwebasooka okuzannya mu kibinja kyawagulu, kiraabu eno baagikuba ggoolo 14-0 webaali bakyalidde Express FC ku kisaawe ky'e Nakivubo. Wabula mu gw'okudingana e Kilembe mu mupiira ogwaali gusembayo mu sizoni eyo ttiimu y'ewaka yasobola okubeesasuza oluvannyuma lw'okukuba Express 1-0 omupiira ogwagabira Prisons FC ekikopo.[3] Kiraabu eno yavuganya okumala sizoni mwenda ku ddaala erya wagulu okutuusa mu 1979 webaabasalako nebaddayo mu kibinja kya wansi. Abaaliko abazannyi ba ttiimu y'eggwanga The Cranes okwali Mike “Computer” Kiganda, Hussein Matovu ne Emmy Kalanzi beebamu kubaali emunyeenye za kiraabu eno.[2]

Okusembegerera kwa kiraabu eno kwali kwekuusa ku ky'obugagga ekyali kisimibwa kampuni ya Kilembe Mines. Okutuusa mutandikwa y'emyaka gya 1980 eky'obugagga ekyali kisimibwa okuva mu birombe bino mu Uganda kyekimu ku byaali bisinga okuyingiza ssente mu ggwanga. Wabula olutalo lw'ebyenfuna olwa Pulezidenti Idi Amin lwalina ekirubirirwa kimu kya nga kyakwongera Banayuganda bamu nabamu maanyi.Kampuni okuva mu Canada eyali edukanya ebirombe bino yawerebwa, nga mu byavaamu kwekubeera nga ebeeyi y'eky'obugagga ekiyitibwa copper ekyali kisimibwa neegwa. Okusima Copper kyayimirizibwa mu 1982, nga kino kyali kitegeeza nti banabyamizannyo bya kampuni eno okwali aboomupiira, ebikonde n'abadusi bafiirwa okubeera nga baali bakwasibwaako wamu n'okubeera nga baali tebakyalina mirimu.[2]

Wadde nga ebirombe byali tebikyasimibwaamu wamu n'okubeera nga waaliwo ebizimbe ebyali byononese, mu Kilembe, tkiraabu y'omupiira ekyadukanyizibwa era mu sizoni ya 2006-2007 Kilembe Mines FC yatuuka ku luzannya oludirira olwakamalirizo mu mpala za liigi y'omu Bugwanjuba ezaali ziyitibwa ''Western Zone Mini League'' mu Bushenyi nga Biharwe FC tebanakubwa 4-0.[4] Singa kiraabu eno yawangula empaka za ''Western Zone Mini League'' baandibadde basumusibwa okugenda mu kibinja kya Uganda ekyababinyweera mu kifo kya Biharwe FC.

Mu 2013, kyali kigambibwa nti kampuni ya Kilembe Mines Ltd iyali egenda kuddamu emirimu gy'okusima oluvannyuma lw'emyaka 30 nga ebirombe bino bigaddwaawo. Kino kyali kiva ku kubeera nti gavumenti ya Uganda yali eyagala okubeera ng'obuyinza obudukanya ebirombe ebisima copper ebukwasa kampuni y'abachina. Enkulakulana eno yali eyinza okuvirako okuzza Kilembe Mines FC nga amaanyi mu mupiira gwa Uganda.[5]

Likodi zebalina mu kibinja kya wagulu

[kyusa | edit source]
Sizoni Ekibinja Liigi Ekifo Emipiira gyebaazannya Emipiira gyebaawangula Emipiira gyebaalemagana Emipiira gyebaabakuba Ggoolo zebateeba Ggoolo zebaabateeba Obubonero Ensenvula
1969 1 Liigi ya Uganda eyababibyweera eyasooka 7th 18 5 2 11 34 61 12
1970 1 Liigi ya Uganda eyababibyweera eyasooka 6th 10 5 1 4 14 3 11
1971 1 Liigi ya Uganda eyababibyweera eyasooka 8th 14 2 2 10 23 34 6
1972 Empaka tezaazannyibwa
1973 Empaka tezaazannyibwa
1974 1 Liigi ya Uganda eyababinyweera 8th 14 0 4 10 9 30 4
1975 1 Liigi ya Uganda eyababinyweera 10th 18 0 3 15 9 50 3
1976 1 Liigi ya Uganda eyababinyweera 10th 19 4 4 11 16 34 12 Three matches were not completed.
1977 1 Liigi ya Uganda eyababinyweera 7th 26 9 6 11 28 33 24
1978 1 Liigi ya Uganda eyababinyweera 10th 28 7 7 14 35 51 21
1979 1 Liigi ya Uganda eyababinyweera 12th 26 6 3 17 23 47 15 Relegated

Abakozi abatazannya

[kyusa | edit source]
Erinya Emirimu
Alex Kwatampola Ssentebe
Innocent Masumbuko Muwandiisi
Hassan Harry Basiisa By'ensiimbi

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | edit source]
  1. http://www.fufa.co.ug/fufa-voters-register-zone-11/
  2. 2.0 2.1 2.2 https://web.archive.org/web/20140203190012/http://www.newvision.co.ug/mobile/Detail.aspx?NewsID=628923&CatID=5
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2014-02-01. Retrieved 2024-09-17.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://www.rsssf.org/tableso/oeg07.html
  5. https://web.archive.org/web/20140203081033/http://chimpreports.com/index.php/business/11201-kilembe-mines-to-resume-production.html

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | edit source]