Kipoi Tonny Nsubuga

Bisangiddwa ku Wikipedia

Kipoi Tonny Nsubuga (yazaalibwa nga 26 Ogwomukaaga 1978), era amanyikiddwa nga Tony Kipoi, era mubaka wa paalamenti mu paalamenti ya Uganda okuva mu mwaka gwa 2011 okutuuka mu mwaka gwa 2014, akiikirira ekitundu kya Bubulo West Constituency mu Manafwa District.[1] Era nga mmemba w'ekibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement (NRM), era nga yafuna obululu ebitundu nsanvu mu bibiri ku buli kikumi (72%). Okuva mu Gwokuna gwa 2018, abadde awerennemba n'emisango mu kkooti y'amagye ng'avunaanibwa emisango gy'okulya mu nsi olukwe wamu n'emisango emirala.[2]

Obuto bwe[kyusa | edit source]

Kipoi yazaalibwa mu ggombolola y'e Bunefule–Bugobero. Kitaawe yali musajja mupoliisi eyafa nga Kipoi akyali mulenzi muto nnyo, ate ye maama we yali mukyala asiiba ewaka okukola emiri gy'awaka. Bwe yali ng'akyali muto yatambula nga olutata ng'ava e Mbale, Nairobi ne Kampala. Alina bato be abalenzi basatu (3) okuli Michael, Robert ne Joseph. Kipoi erinnya lye lyasalibwangako era n'ayitibwa TK era erinnya lye ery'ekika ye Kipoi.[3]

Kipoi ye mutandisi w'ekibiina ky'omukago gw'abasuubuzi ekya Coalition of Market Venders of Uganda (COMAVU), ekibiina ekiriwo okulwanirira eddembe ly'abasuubuzi abatalinaako mwasirizi mu Uganda. Era alina kkampuni z'amawulire ez'enjawulo mu ggwanga lya South Africa, Botswana ne Netherlands. Okuva mu Gwokutaano gwa 2006 okutuuka mu 2009, yakomawo ku butaka era n'atandika okukolera wano emirimu gye ng'essira aliteeka ku byobulamu, ebyenjigiriza, n'okuyamba bamulekwa.

Emirimu[kyusa | edit source]

Kipoi yalayizibwa ng'omubaka wa paalamenti akiikirira ekitundu kya Bubulo West nga 17 Ogwokutaano 2011,  oluvannyuma lw'okuwangula Fred Bukeni eyali mu kifo kino, n'eyaliko minisita Wanzusi Wasieba ne bannakibiina kya NRM abalala bangi mu kamyufu ka NRM.[4] Amangu ddala ennyo, yafuna okuwakanyizibwa ku buwanguzi bwe bwe waavaayo abantu lunaana (800), ne beekubira enduulu mu kkooti ejulirwamu era kkooti ejulirwamu n'eragira okulonda kuddibwemu.[5][6] Mu mwe yalondebwa, Kipoi ye yali omubaka wa paalamenti eyali asinga obuto mu paalamenti ya Uganda nga yalina emyaka asatu mu ebiri (32). 

Kipoi yaweereza ku kakiiko ka paalamenti akakola ku nsonga z'ebyokwerinda n'obutebenkevu, akakiiko k'ensonga z'omunda mu ggwanga Committee on Commissions, n'akakiiko akakola ku kulondoola nsaasaanya z'ensimbi mu bitongole bya gavumenti.(COSASE).

Kipoi yakwatibwa mu mwaka gwa 2012[7] mu mwezi gwa Ntenvu era n'aggulwako emisango gy'okulya mu nsi olukwe ku bigambibwa nti yali awandiisa abantu okuva muUganda ne mu Congo ng'abayeekera nga kiteeberezebwa okuba nti yali ateekateeka okuvuunika gavumenti.[8] Mu Gwomukaaga gwa, yaddamu n'akwatibwa ku musango emirala nga gino gyali gyekuusa ku bubbi bw'emmotoka, bwe yali tannagenda mu ggwanga lya Democratic Republic of the Congo (DRC) ng'ateereddwa ku kakalu ka kkooti.[9] Emisango gy'okulya mu nsi ye olukwe gwamuggyibwako mu Gwokubiri gya 2014, era emisango gino gyawulirwa mu kkooti y'amagye. Kigambibwa nti yali akwatiddwa mu ggwanga lya DRC mu Gwekkumi n'ogumu gwa 2013, naye yatwalibwa okubeera "omugenyi w'eggwanga".[10] Oluvannyuma ate yaddamu n'akwatibwa mu Gwokubiri gwa 2014 oluvannyuma lw'okuzzibwa mu Uganda, anye mu Gwekkumi n'ogumu gwa 2014 yali tannazzibwa mu Uganda asibibwe wano. Mu Gwokubiri gwa 2018, Kipoi yakwatibwa mu ggwanga lya Botswana, ku misango gy'okufuna ssente mu lukujjukujju era n'azzibwa asibibwe mu Uganda mu mwezi Gwokusatu nga gwakatandika.[11]

Mu Gwokubiri gwa 2014, Kipoi yagobebwa mu Paalamenti olw'okwosa entuula za paalamenti kkumi na ttaano (15) nga talina nsonga ya ssimba.[12]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. "Archive copy". Archived from the original on 2017-09-24. Retrieved 2022-12-11.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. http://observer.ug/news/headlines/57081-botswana-deports-former-ugandan-mp-kipoi.html
  3. https://nilepost.co.ug/2018/03/04/former-bubulo-mp-tony-kipoi-detained-at-nalufenya/
  4. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1283296/wanjusi-wasieba-loses-bubulo-mrm-poll
  5. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1300625/bubulo-west-mp-retains-seat
  6. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1300625/bubulo-west-mp-retains-seat
  7. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1311800/mp-kipoi-arrested
  8. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1314175/mp-kipoi-sent-luzira
  9. http://www.monitor.co.ug/News/National/Former-MP-Kipoi-s-treason-case-transferred-to-military-court/688334-2302434-rj668u/index.html
  10. "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-11. Retrieved 2022-12-11.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  11. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1472393/-bubulo-west-mp-kipoi-extradited
  12. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1337871/parliament-kicks-absent-tony-kipoi