Jump to content

Kiraabu ya Vipers SC

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Infobox football club Vipers SC kiraabu y'omuzannyo gw'omupiira gw'ebigere esangibwa mu Kampala, Uganda. Baakazibwako erinnya ly'obusaggwa oba Nyokas (mu Luswayiri kitegeeza misota). 

Vipers 2017

Ebyafaayo bya kiraabu eno

[kyusa | edit source]

Kiraabu y'omupiira eno yatandikibwawo nga Bunamwaya FC mu 1969.[1]

Vipers SC ezannye mu liigi ya Uganda ey'ababinywera okuva mu 2006 oluvanyuma lw'okuwangula liigi ya Wakiso Disitulikiti ne liigi y'okusunsulamu eya Super Mini League promotion mu 2005.[2] Baamalira mu masekkati g'ekimeeza mu sizoni ez'omuddiŋŋanwa 2006–07.

Nga bayambibwako pulezidenti Lawrence Mulindwa, kilaabu y'asayininga abazannyi eb'enjawulo ab'omugaso mu sizoni ya 2010, ga mw'alimu abazanyi musanvu abaali ku ttiimu y'eggwanga ey'omupiira mu biseera ebyo. Bunamwaya bawangula ekikopo ky'abwe eky'asooka mu liigi y'ababinywera nga bongera kw'ekyo ky'abaali balina.[3][4] Tebaasobola kwetaba mu mpaka za liigi ya CAF mu 2011 olw'ensonga z'eby'ensimbi.[5]

Bunamwaya tebaasobola kukuuma buwanguzi bw'abwe nga bamalira mu kifo ky'akusatu mu 2011 n'emu ky'okubiri mu liigi ya 2012.

Nga 21 Ogwomunaana 2012, Bunamwaya y'akyusibwa eriinya n'efuuka Vipers SC n'ekigendererwa "eky'okulinyisa omutindo gwa kilaabu" era n'okubafuula ab'enkizo mu Ggwanga lyonna.[6]

Vipers bawangulwa mu mpaka ez'akamalirizo ez'omupiira gwa Uganda mu 2013 mu ngeri eyali emenya omutima. Oluvannyuma lw'okukulembera eddakiika 78 nga balina goolo eyali eibiddwa Joseph Mprade mu penati, Ssettendekero wa Victoria University yateeba goola mu mu saawa ey'akamalirizo era nebawanglwa mu penati 5–3.[7]

Obuwanguzi mu liigi bw'ajja oluvannyuma mu sizoni ya 2014–15 oluvanyuma lw'akalulu akakubwa nti Vipers yali yawangulwako omulundi gumu gwokka.[8] Bakulemberwamu Edward Golola. Kiraabu eno erina enkolagana y'amaanyi n'essomero lya St. Mary's mu Kitende, ng'abazanyi 17 abaali ku tiimu eyawangula mu 2015 baava mu ssomero eryo.[9]

Obuwanguzi bw'asanga aba Vipers bali mu mpaka za ssemazinga wa Afrika omulundi ogwasookeraddal. Mu liigi ya 2016 CAF Champions League, baawangulwa omulundi gwaabwe ogwasooka mu mpaka za ssemazinga wa Afrika 2–1 eri ttiimu ya Enyimba FC ey'e Nigeria mu mpaka z'okusunsulamu.

Vipers yamalira mu ky'okubiri mu sizoni ya 2015–16 era obuwanguzi bwaabwe mu kikopo kya Uganda Cup, nga bawangula Onduparaka FC 3–1.[10] Obuwanguzi buno bw'abasanyiza okwetaba mu mpaka za 2017 CAF Confederation Cup gy'ebakubira tiimu ya Volcan Club okuva mu Comoros 1–1 mu kukyala kwabwe mu lawundi y'okusunsulamu wabula bakubibwa tiimu ya South Africa Platinum Stars ku mulundi ogw'asooka 3–2 okuva ku penati eyaweebwa mu ddakiika eya 90.

Aba Vipers beetaba mu liigi ya 2018-19 CAF Champions League ng'eno bawangulwa aba CS Constantine okuva mu Algeria 3–0 nga bawandulwa ku mulundi ogusooka okuva mu kibinja.

Mu Gwokutaaano 2020, Vipers sc balangirirwa ng'abawanguzi ba liigi ya Uganda ey'ababinywera mu 2019/2020 nga baakulembera n'obubonero 54 okuva mu mipiira 25 omulundi ogw'okuna mu byafaayo oluvanyuma lwa FUFA okusazaamu liigi olw'okubalukawo kw'ekirwadde kya COVID19.

Mu Gwokuna 2022 Vipers yawangula KCCA FC ku kisaawe ky'e Lugogo 2-1 nga balumba okuva emabega nga bakozesa Kaputeeni waabwe Halid Lwaliwa ne Milton Marisa. Vipers SC era bawanika ekikopo oluvanyuma lw'okukuba Express FC 3-0 ku kisaawe kya St. Mary's n'emipiira ena egisigaddeyo ku sizoni ya 2021-2022

Ekisaawe kya Vipers

[kyusa | edit source]

Bazannyira mu kisaawe kya St. Mary's-Kitende, ekituuza abantu 25,000.[11] Ekisaawe kino kyamalirizibwa okuddabirizibwa mu 2018 ne kisaawe kya kapeti.[12]

Obuwanguzi bwe batuukako

[kyusa | edit source]
2010, 2015, 2017–2018, 2019–2020, 2021-2022
2016, 2021
2015
2019

Abazannyi abali mu ttiimu kati

[kyusa | edit source]

Mu Gwokutaano 25, 2022[13]  

No. Pos. Nation Player
1 GK Uganda UGA Fabien Mutombora
2 DF South Sudan SSD Joseph Dhata
3 DF Uganda UGA Dissan Galiwango
4 DF Uganda UGA Livingstone Mulondo
5 DF Uganda UGA Asiku Bashir
6 DF Uganda UGA Siraje Ssentamu
7 FW Uganda UGA Orit Ibrahim
8 MF Uganda UGA Jamil Kalisa
9 FW Democratic Republic of the Congo COD César Lobi Manzoki
10 FW Uganda UGA Ibrahim Ndugwa
11 FW South Sudan SSD Umar Kyebatala
12 FW South Sudan SSD Yunus Sentamu
13 FW Uganda UGA Dan Sserunkuma
14 FW Uganda UGA Paul Mucureezi
15 DF Uganda UGA Paul Willa
16 FW Uganda UGA Denis Mwemezi
17 MF Uganda UGA Allan Kayiwa
18 MF Uganda UGA Bobosi Byaruhanga
19 GK Uganda UGA Ssekagya Bashir
20 MF Uganda UGA David Bagoole
21 DF Uganda UGA Halidi Lwaliwa (C)
23 DF Uganda UGA Aziz Kayondo
25 MF Uganda UGA Abdul Karim Watambala
22 DF Uganda UGA Okao Jacob
26 FW Uganda UGA Najib Yiga
27 DF Uganda UGA Wasswa Geoffrey
28 FW Uganda UGA Muhammad Shaban
29 FW Uganda UGA Milton Karisa
30 GK Uganda UGA Kigundu Denis
31 MF Kenya KEN Innocent Wafula
32 DF Uganda UGA Ahmed Amayo
35 DF Uganda UGA Rashid Toha

Olukiiko olukulembera ttiimu ya Vipers SC

[kyusa | edit source]
Omuyambi w'omutendesi Jose Rodrigues Marcelo cardoso
Omuyambi w'omutendesi Male Daniel
Omutendesi w'omukwasi wa Goolo Ibrahim Mugisha
Omusawo wa ttiimu Lule Micheal
Physical Trainer Kato Ibrahim
Diyilekita w'omuzannyo Charlse Masembe
Akwasaganya ebikozesebwa mu kutendekebwa Edward Ssentongo

Former managers

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

[kyusa | edit source]
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-03. Retrieved 2022-11-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. http://rsssf.com/tableso/oeg05.html
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2018-06-18. Retrieved 2022-11-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. http://rsssf.com/tableso/oeg2010.html
  5. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1276644/bunamwaya-caf-cash-woes
  6. https://web.archive.org/web/20120825154114/http://www.newvision.co.ug/news/634357-bunamwaya-fc-renamed-vipers-sc.html
  7. https://www.kawowo.com/2013/05/26/scvu-edge-vipers-sc-to-claim-the-2013-uganda-cup/
  8. http://rsssf.com/tableso/oeg2015.html
  9. https://www.monitor.co.ug/Sports/Soccer/Golola-role-can-t-be-ignored/690266-2742734-14i7b54z/index.html
  10. https://upl.co.ug/vipers-claim-maiden-cup-to-end-onduparaka-fairytale/
  11. https://web.archive.org/web/20070622024032/http://www.fifa.com/associations/association=uga/nationalleague/standings.html
  12. https://web.archive.org/web/20070622024032/http://www.fifa.com/associations/association=uga/nationalleague/standings.html
  13. https://viperssc.co.ug/players/first-team/
  14. https://espndeportes.espn.com/futbol/nota/_/id/7139267/javier-martinez-entrenador-mexicano-africa-anecdotas-entrevista-vipers-uganda