Kizza Besigye

Bisangiddwa ku Wikipedia


  Warren Kizza Besigye Kifefe (yazalibwa nga 22 Ogwokuna 1956), amanyikiddwa nga Colonel. Dr. Kizza Besigye, Munnayuganda omusawo, munnabyabufuzi, era munnamagye eyawummula mu Ggye lya Uganda erya Uganda People's Defence Force. Yaweerezako nga omukulembeze w'ekibiina ky'ebyobufuzi ekya Forum for Democratic Change (FDC) era teyali w'amukisa mu kalulu k'obwa Pulezidenti mu Uganda okuva mu 2001, 2006, 2011, ne 2016, nga awangulwa Yoweri Museveni, abadde omukulembeze wa Uganda okuva nga 26 Gatonnya 1986. Ebyava mu kulonda kwa 2006 bawakanyizibwako mu kkooti. Yakkiriza okulonda kw'omunda okwamagu okw'oyo an'esimbawo ku bwa Pulezidentu ku lw'ekibiina kya FDC era nga kuno okulonda kwaliwo nga 24 Ogwekkuminogumu 2012.

Obuto bwe ne famile ye[kyusa | edit source]

Warren Kizza Besigye Kifefe yazaalibwa mu Rwakabengo, mu munisipalite y'e Rukungiri, Disitulikiti y'e Rukungiri, mu Bukiikaddyo bwa Uganda,nga 22 Ogwokuna 1956. Ye mwana ow'okubiri mu Famire y'abaana mukaaga, bazadde be bombi baafa ng'atannamaliriza pulayimale ye. Kitaawe y'ali mukwasi wa mateeka. Yasomera ku Kinyasano Primary School ne Mbarara Junior School mu kusoma kwe okwa Pulayimale. Oluvanyuma y'egatta ku Kampala's Kitante High School ku misomo gye egya Ordinary Levels era oluvanyuma Kigezi High School mu Disitulikiti y'e Kabale ku misomo gye egya Advanced Level.

Besigye yeegattaku Ssetendekero wa Makerere mu 1975 era natikkirwa Diguli mu Ddagala ly'abantu mu 1980. Ng'ali mu nsiko ku buyeekera, yafuuka musawo wa Yoweri Museveni ow'omubuntu. Ekibiina kya National Resistance Movement era Eggye (NRM/A) bwe lyaggya mu buyinza mu Gatonnya 1986, yalondebwa nga Minisita ow'ensonga z'omunda ku myaka 29. Era yafuna ekifo kya Minisita omubeezi mu ofiisi y'obwaPulezidenti era omuwi w'amagezi ku nsonga z'ebyobufuzi bw'eggwanga. Mu 1991, omuduumizi w'akabndo k'abayekera mu Masaka, masekati ga Uganda.

Nga 7 Ogwomusanvu 1999, Besigye yawasa Winnie Byanyima, omubaka mu Paalamenti ya Uganda, mu Nsambya, Kampala.[1]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Oluvanyuma lw'okutikkirwa, Besigye yakolerako mu ddwaliro ly'e Mulago. Oluvanyuma yagenda mu buwangaanguse ku muliraano e Kenya. ng'ali eyo, yasaba akakiiko k'abasawo akakulu okuwandikibwa nga omusawo omukugu. Oluvanyuma lw'okuwandikibwa, yasaba omulimu ku ddwaliro lya Aga Khan Hospital era gwamuweebwa, yatandiika okukola nga omusawo omukugu era oluvanyuma yeegatta ku Kenyatta National Hospital - nga gombi gaali m kibuga ekikulu ekya Nairobi mu Kenya- nga tannegatta ku bayeekera ba Museveni aba National Resistance Movement/Eggye(NRM/A) mu 1982.

Obulamu bwe by'obufuzi[kyusa | edit source]

Mu 1999, Besigye yawandiika ekiwandiiko ekivumaganya Gavumenti eky'atuumibwa "An Insider's View of How the NRM Lost the Broad Base". Ekiwandiiko kino kyalumiriza ekibiina kya NRM okufuuka ekinyaguluzi saako n'enkola ye ffugabbi ery'omuntu omu. Besigye yavunanibwa mu kkoti y'amagye "olw'okufulumya endowooza ye mu nkola enkyamu". Oluvanyuma yatuuka ku nzikiriziganya mu 2000 omwali okumugyako emisango era nga yali wa kwetonda olw'okufulumya ekiwandiiko ekyo.

Mu Gwekkumi 2000, Besigye yalangirira nti yali wakuvuganya ne Museveni mu kalulu 2001. Yawummula okuva mu ggye lya Uganda erya (Uganda People's Defence Forces) mu 2001, oluvanyuma lw'okulinyisibwa ku ddaala lya Koloneeli (colonel0. Mu biseera bya kakuyege we, Besigye, eyali ow'amaanyi ennyo mu kuvuganya Museveni, yavunaana Gavumenti olw'okubunya obuli bw'enguzi era n'alwana okuteeka ekkomo ku "kisinde" kya Museveni n'enkola ye, kyeyagamba nti ky'ali kimaze okuweereza ng'ekyokulwanisa mu kukyusa eby'obufuzi bya Uganda okudda mu Demokulasiya ow'ebibiina eby'enjawulo.

Yawangulwa mu kalulu, wabula nga kino ky'awerekerwa ebyali bigambibwa nti mwali mwetobesemu okubba obululu, okutulugunya abantu n'okugulirira abalonzi. Mu mwezi Gwokusatu 2001 Besigye yawaayo okusaba kwe mu kkooti ensukkulumu okusazaamu eby'ali bivudde mu kulonda. Akakiiko akatuulako abalamuzi 5, abataano balonda nti waaliwo okubba mu kalulu wabula 3–2 basalawo akalulu obutasazibwamu.

Mu Gwomukaaga 2001, Besigye yakwatibwa era n'abuuzibwa ku by'ali bigambibwa okulya mu nsi ye olukwe. Gavumenti yamuvunaana okubeera emabega w'ekibinja ky'abayekera ba People's Redemption Army (PRA) - ekyali kigambibwa okubeera mu Democratic Republic of the Congo (DRC). Abawagizi ba Besigye bagamba nti Gavumenti y'akyupula okubeerawo kw'ekibinja ky'abayekera n'ekigendererwa eky'okuttatana obuganzi bwe mu Bannayuganda n'amawanga g'ebweru.

Mu Gwomunaana 2001, Besigye yava mu Ggwanga nga agamba nti yali atulugunyizbwa mu ggwanga lye. Yagamba nti yali mu kutya olw'obulamu bwe. y'abeera mu South Africa okumala emyaka ena, era nga emyaka egyo yagimalako nga avumilira Gavumenti ya Museveni. Besigye yakomawo mu Uganda nga 26 Ogwekkumi 2005, mu kaseera ak'okwewandiisa nga omulizi mu kalulu ka 2006. Yayanirizibwa enkumi n'enkumi z'abantu era n'akolerawo kakuyege mweyakungira abawagizi be okuva mu ggwanga lyonna. Mu Gwekkuminogumu 2005, William Lacy Swing, eyali asindikiddwa okukiikilira Ekibiina ky'amawanga amagate yakakasa okubeerawo kw'ekibinja ky'abayekera ekya PRA, nga y'akituuma ekabondo k'abayekera akakolera mu Buvanjuba bwa DRC.

Kakuyege wa Besigye yakomekerezebwa mu bwangu nga 14 Ogwekkuminogumu oluvanyuma lw'okukwatibwa ku misango gy'okulya mu nsi ye olukwe n'ogwobuliisa maanyi. Omusango gw'okulya mu nsi ye olukwe gw'ali gwekusiza ku by'ali bigambibwa ku kibinja kya PRA n'obuyekera bwa Lord's Resistance Army obwali bumaze emyaka 20 mu Bukiikakkono bwa Uganda. Omusango gw'obuliisa maanyi gw'azimbibwa okuva ku by'ali bimuvunaanibwa mu 1997 okuva eri muwala w'omugenzi eyali mukwano gwabwe. Okukwatibwa kwe kw'aviirako lokwekalakaasa mu Kampala ne mu Ggwanga lyonna. Kyagambibwa nti Museveni ajjweteka emisango ku eyali amuvuganya n'ekigenderera eky'okw'onoona erinnya lya Besigye ob'olyawo n'okumulemesa okwesimbawo mu kalulu. Abantu babulijjo saao n'abo ab'ebulaaya atandika okuwakanya obukulembeze n'enkola ya Museveni, nga bamulagira okuta Besigye ku kakalu ka poliisi. Gavumenti ensongs y'agyanukuza n'akuwera kakuyege yenna, enkungaana, obw'eguguungo saako n'emisomo gyonna egyali gy'ekuusa ku misango gya Besigye. Oluvanyuma y'akugira emikutu gy'amawulire okukubaganya ebirowoozo ku misango gya Besigye n'okutiisatiisa okubagyako layisinsi zaabwe singa baali bakugezaako okugyemera ekiragiro.

Ng 25 Ogwekkuminogumu, kkooti ya Uganda enkulu y'akkiriza Besigye okuteebwa ku kakalu ka poliisi naye oluvanyuma y'addizibwayo mu kkomera ku misango gy'amagye egy'obuyeekera, n'okusangibwa n'ebyokulwanyisa ebitali mu mateeka. Besigye emisango yagyegaana nga agamba nti nga eyawummula amagye , talina ku vunaanibwa newankubadde okuwozesebwa mu kkooti y'amagye. Yateebwa ku kakalu ka poliisi nga 6 Ogusooka. Newankubadde emisango egyali gimuvunanibwa gikyaliyo, Besigye yagenda mu maaso n'ekiluubirirwa kye eky'okufuuka Pulezidenti addako owa Uganda.

Akalulu k'omu Gwokubiri 2006[kyusa | edit source]

Mu kalulu ka wamu aka 2006 k'alaba FDC ng'ekibiina ekikulu eky'ali kivuganya Gavumenti era ne Besigye ng'eyali avuganya Museveni mu kifo ky'obwa Pulezidenti. Yayimilira ne Miria Kalule Obote, omukyala eyasooka okwesimbawo ku bwa Pulezidenti okuv mu kibiina kya Uganda People's Congress (UPC), Abed Bwanika, ng'ono yesowolayo ku bwannamunigina nga tayina kibiina, John Ssebana Kizito ow'ekibiina kya Democratic Party (DP). Museveni yalondebwa ku kisanja ekirala ky'amyaka etaano nga yawangulira ku bitundu 59 ku bulikikumi nga Besigye yafuna ebitundu 37 ku buli kikumi. Besigye y'awakanya eby'ava mu kulonda era kkooti ensukkulumu eya Uganda oluvanyuma y'akinogaanya nti akululu kaali k'etobeseemu okutiisibwatisibwa, okutulugunya abantu, okutyobola eddembe ly'abalonzi n'ebirala eby'ali bikontana n'amateeka. Wabula kkoti 4–3 yakakasa ebyali bivudde mu kulonda.[2]

Akalulu k'omu Gwokubiri 2011 n'ebyava mu kulonda[kyusa | edit source]

Mu kulonda kwa 2011 omulundi ogw'okusatu Besigye yawangulwa Yoweri Museveni ng'ono ye yali mu bukulembeze nga yamusingira waggulu nnyo okuva ku kulonda okwaggwa nga yalemelerwa n'okuwangula mu kitundu ekimu. Newankubadde okulonda kw'omulundi guno kwakungirizibwa nnyo olw'okubaamu obw'enkanya okusinzira ku byafaayo bya Uganda,  Besigye yagaba nti gweyali avuganya naye yakozesa okutiisatiisa okuwangula ekisanja eky'okuna mu affiisi.

Okugoberera okuwangulwa mu kulondo kwa Pulezidenti okwa 2011, Besigye yalagira ba mmemba b'ekibiina kye abaali balondeddwa mu Paalamenti ey'omwenda okweddiima. Kino ky'aganibwa ababaka abapya abaali balondeddwa nga bagamba nti obuwanguzi bw'abwe bw'ava ku maanyi gaabwe so ssi Besigye oba ekibiina ky'abwe, ekintu eky'ayongera obunkenke mu kibiina kya FDC. 

Besigye yakwatibwa omulundi ogw'okuna nga 28 Ogwokuna, mu kediimo akaliwo olw'emiwendo gy'emmere n'amafuta okulinyisiwa era nga kano katuumibwa "walk-to-work". Yafuuyirwa omuka gwa (pepper spray)[3] era aba poliisi nebamuwalula okuva mu mmotoka ye.[4] Kino ky'ayongera okukuma omuliro mu bw'egugungo n'okwekalakaasa okwetoloola Kampala, nga mu kwekalakaasa kuno kwalekanga abantu babiri battiddwa n'abalala 120 n'ebagendera ku bisago, nga n'abamu abali mu muwendo gwa 360 nga bakwatiddwa.[5]

Ebbago ly'etteeka eliwakanya obuli bw'ebisiyaga[kyusa | edit source]

Besigye yawakanya okwanjulibwa kw'etteeka lya Uganda eriwakanya omuze gw'okulya ebisiyaga mu Paalamenti ya Uganda ey'omwenda eryeleetebwa omubaka David Bahati. Besigye okuwagira eddembe ly'abasiyazi kwaleetawo enkayana mu Uganda, songa omuze gw'okulya ebisiyaga gw'ali gwafuuka dda omusango wansi w'amateeka/ akawaayiro akali mu Konsititusoni aka (Gender References Amendment Act).

Okukwatibwa kwe mu 2012[kyusa | edit source]

Besigye yakwatibwa nga 1 Ogwekkumi 2012 oluvanyuma lw'okugezaako okwogerako eri abasuubuzi b'omukatale k'ewa kisekka mu Kampala, Uganda. Yatwalibwa ku Poliisi y'omukibuga eya CPS.[6] Ku makya g'olwo, Poliisi yali eyiye abasirikale baayo mu maka ga Besigye n'ekigendererwa eky'okumutangira obutagenda mu kibuga mu raale gy'eyali ategese, naye yasobola okwemulula okuva ku poliisi ng'ayita mu kifo eky'ekusifu okutuusa lw'eyakwatibwa mu katale oluvanyuma lw'esaawa emu.[6]

Kulonda kwa 2016[kyusa | edit source]

Mu kulonda kwa 2016, Besigye era y'esimbawo ku bwa Pulezidenti ku bbendera ya FDC, nga avuganya abaali bamanyikiddwa ennyo omw'ali Amama Mbabazi ne Yoweri Museveni, Pulezidenti wa Uganda okumala ebisanja bisatu. Besigye era yawangulwa Museveni, nga yafuna obululu ebitundu 34 ku kikumi ng'ate Museveni yawangulira ku bitundu 62 ku buli kikumi.[7]

Oluvanyuma lw'okulonda, yasaba abawagizi be okwekalakaasa mu ddembe olw'ebyo eby'ava mu kulonda nga agamba okulonda kw'alimu emivuyo mingi nga " okutiisatiisa abalonzi, abavuganya okusibibwa,okugootanya enkungaana, ebikozesebwa mu kulonda outuuka ekikeerezi, okulwawo okuggulawo ebifo awalondebwa, okugingaginga obululu, obunyazi n'ebikolwa ebirala bingi eby'ekuusa ku kubba obululu."[8][9]

Mu mwezi Gwokutaano nga 11, 2016 yelayiza mu ky'ama nga Pulezidenti wa Uganda, olunaku ng'okulayizibwa okutongole okw'omukulembeze w'eggwanga Yoweri Museveni tekunnabaawo. Yakwatibwa abamagye ga Uganda mu kaseera nga tannaba kwelayiza. Oluvanyuma yatandikawo "Gavumenti y'abantu" era n'alangirira gavumenti ye nga bweyali akkiriza nti ye yali omuwanguzi w'akalulu ka 2016.[10][11][12]

Okulonda kwa 2021[kyusa | edit source]

Besigye yasalawo obutesimbawo ku kifo ky'obwapulezidenti nga agamba nti agyakukulemberamu abawakanya gavumenti mu nteekteeka gyeyatuuma (plan ‘B’) ng'eno yali y'akusaawo nkyukakyuka mu ggwanga.[13][14] Yasalawo okwegatta ku muvuganya wa Museveni Bobi Wine okumuyambako okuwangula akalulu ka 2021.[15] Oluvanyuma lw'okulonda, Besigye y'atongoza ekibiina kya people's front for transition, wansi wa manvuli ng'ekisinde ekirina ebilubirirwa ebifaanagana mu kukyusa Uganda.[16][17][18]

Okukwatibwa kwe mu 2022[kyusa | edit source]

Mu Gwokutaano 2022, Besigye yakwatibwa mu kwegugunga kweyakola olw'emiwendo gy'ebintu okupaalusibwa mu Uganda.[19] Yateebwa ku kakalu ka polisi okuva mu kkooti ya Buganda Buganda Road Court Grade One Magistrate Siena Owomugisha ku kakwakkulizo nti yali wakusasula obukadde bwa Uganda silingisi30,000,000/= nga akakalu ka kkooti. Mu kwekalakaasa olw'emiwendo emingi, Besigye yagaana okukola kooti ky'ayali emusaba era n'alondawo okusibibwa nu kkomera.[20] Bannamateeka be nga mukulembeddwamu Erias Lukwago basaayo okusaba kw'abwe akakalu okukendezebwa era kkooti y'akkiriza nga Besigye yali w'akusasula obukadde 3,000,000/=.[21] Oluvanyuma yateebwa okuva mu kkomera ku kakalu ka poliisi.

Ennaku ntono nnyo nga y'akava mu kkomera ku kakalu ka kkooti, Besigye yaddamu okwekalakaasa ku nguudo za Kampala era bunnambiro y'addamu okukwatibwa poliisi ya Uganda.[22] Yakwatibwa wamu ne munne Samuel Lubega Makaku, era n'ebatwaliwa mu kkomera. Amaanyi g'okusaba okuteebwa ku kakalu ka poliisi tegavaamu makulu olw'okuba nti obudde bwa kkooti obw'okukola bw'ali buyiseeko era bannamateeka be bawalirizibwa okusaba olunaku olw'ali luddako. Bannamateeka ba Besigye bawakanya embeera eyali mu kkooti nga bagamba nti abawawabirwa bakolebwako omuwaabi wa Gavumenti ng'obudde kkooti mwekolera buweddeko. Akakalu akasabibwa nako kagaanibwa era n'ekugobebwa omulamuzi wa kkooti ya Buganda road court grade one Magistrate Asuman Muhumuza eyagamba nti tewaali kikakasa nti Besigye teyali w'akuddamu kuzza misango gyegimu nga awereddwa akakalu.[23]

Laba n'ebino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

 1. {{cite news}}: Empty citation (help)
 2. http://news.bbc.co.uk/2/hi/africa/4750040.stm
 3. https://www.bbc.co.uk/news/world-africa-13255025
 4. https://www.bbc.co.uk/news/world-africa-13222227
 5. https://www.theguardian.com/world/2011/apr/29/uganda-riots-kampala-museveni
 6. 6.0 6.1 https://en.wikipedia.org/wiki/Allafrica.com
 7. http://www.cnn.com/2016/02/20/africa/uganda-election/index.html
 8. https://web.archive.org/web/20160223023648/http://www.ugandadiasporap10.org/
 9. http://www.aljazeera.com/news/2016/02/uganda-elections-besigye-held-march-planned-160222065601088.html
 10. https://thetowerpost.com/2019/02/15/besigye-unveils-peoples-government-cabinet-assembly/
 11. https://www.youtube.com/watch?v=3qPYdLK66Nk
 12. https://www.youtube.com/watch?v=3qPYdLK66Nk
 13. https://www.newvision.co.ug/news/1535901/lose-hope-elections-dr-besigye-tumukunde-tells-ugandans
 14. https://www.independent.co.ug/will-fdc-maintain-grip-on-teso-without-besigye/
 15. https://www.europapress.es/internacional/noticia-principal-candidato-opositor-uganda-suspende-campana-morir-guardaespaldas-manos-policia-20201228135651.html
 16. https://www.newvision.co.ug/articledetails/120836
 17. https://www.newvision.co.ug/articledetails/120836
 18. https://www.independent.co.ug/peoples-front-for-transition-to-kick-off-countrywide-mobilization-next-week/
 19. https://www.monitor.co.ug/uganda/pictorial/besigye-arrested-in-downtown-kampala-3826206
 20. https://softpower.ug/besigye-refuses-to-pay-shs30m-bail-sent-to-luzira/
 21. https://softpower.ug/court-revises-besigyes-bail-from-shs30m-to-shs3m/
 22. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/besigye-arrested-again-for-protesting-high-commodity-prices--3848008
 23. https://www.ntv.co.ug/ug/news/court-denies-kizza-besigye-bail-sends-him-to-luzira-3851552

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]


 1. https://twitter.com/kizzabesigye1