Jump to content

Kookolo W’omu musaayi (Leukemia)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Acute leukemia

Enfaanana y’obulwadde buno

[kyusa | edit source]

Kino kika kya kookolo (cancer)[[1]] womumusaayi ow’enjawulo atandikira mu busomyo era n’akyankalanya obutaffaali bw’omubiri obukola omusaayi. Obumu ku bubonero bwa kookolo ono kuliko; okuvaamu omusaayi, okulumizibwa omubiri gwonna, okuba n’omubiri omunafu, omusujja era n’okuba nga kyangu nnyo okufuna obulwadde. Embeera eno ejjawo lwa nsonga nti obutaffaali obukola omusaayi tebuli mu mbeera ya bulijjo.

Engeri gye bukwata

[kyusa | edit source]

Leukemia ono akeberebwa mu musaayi oba mu busomyo. Ekireeta kookolo ono tekimanyiddwa, naye nga waliwo ensonga ezeekuusa ku buzaale wamu n’ebyo ebitwetoolodde (environment) ebirowoozebwa nti birina omukono mu kuleeta kookolo ono. Bino kuliko, okunywa (okufuuweeta) ebintu nga ssigala,okuteeka omuntu mu byuma nga mu kifaananyi (x-ray),kkemiko ez’obulabe gamba nga “Benzene” n’ebirala. Kyokka n’abantu abava mu lulyo, awaali wabadde omulwadde wa kookolo ono ow’omusaayi kyandiba ekyangu nabo okubakwata.

Obujjanjabi

[kyusa | edit source]

Obujjanjabi bwa kookolo ono bulimu engeri ez’enjawulo, gamba nga: okukozesa eddagala erijjanjaba kookolo (cancer), okuteeka omulwadde mu byuma ebitta obuwuka bwa kookolo, enzijanjaba ya kookolo ekozesa eddagala n’ebirungo ebimunafuya, ssaako okukyusa obusomyo ne bateekamu obulala.

Kookolo ono asobola okuwona?

[kyusa | edit source]

Okuwona kw’obulwadde era kusinziira ku kika kya kookolo w’omu musaayi ono ekiba kikukutte, ate n’emyaka gy’omulwadde, naye ng’ekyokumuwona kyo kikakasiddwako mu mawanga agaakula edda nga Amerika. Ebibalo biraga nti mu mwaka 2012, abantu obukadde busatu mu emitwalo ataano mu enkumi bbiri (352000) baakwatibwa endwadde eno, era 2650,000 ne bafa. Era ono y’omu ku kookolo asinga okukwata abaana.