Kookolo w’Emimiro
Kansa w'emimiro[[1]] ye Kookolo (kansa) akwata omumiro omuntu mw'ayisa emmere. Obumu ku bubonero bw'obulwadde buno kuliko omuntu okufuna obuzibu mu kumira, okukogga, okukolola ekifuba ekikalu, okukololakolola olutatadde n'okusesema.
Ebimu ku bika bya kookolo ono ebikulu kuliko, Squamous-cell-carcinoma era nga buno businga kulabibwa nnyo mu nsi ezikyakula. Waliwo ne Adenorcinoma nga buno bwo businga kulabibwa mu nsi ezaakula edda. Ebimu Ku biviirako Squamous -cell- cancer kuliko okunywa sigala, omwenge, okunywa ennyo ebintu ebyokya n'endya embi. Ekiviirako kookolo ow'ekika kya Adenocarcinome kuliko ebintu nga okunywa sigala, omugejjo n'ebirala.
Obulwadde buno busobola okwewalibwa ng'abantu bakendeeza ku kunywa sigala, okulya ebyokya wamu n'endya ennungi. Obujjanjabi obuweebwa omuntu businziira ku ddaala kookolo oyo kw'ali, ekifo ky'azuuliddwamu n'embeera omuntu gy'alimu. Kookolo ow'ekika kya Squamous-cell-cancer bw'abeera nga tannakula, omuntu ayinza okulongoosebwa. wabula singa omuntu abeera tali mu mbeera nnungi emusobozesa kulongoosebwa, ateekebwa ku bujjanjabi obw'enjawulo obw'omulembe.
Mu 2012, kyazuulibwa nti Kansa w'emimiro ali mu kifo kya munaana mu nsi yonna mu kukwata abantu era nga buli mwaka akwata abantu 456,000. Mu mwaka gwe gumu ogwo, obulwadde buno bwaviirako abantu 400,000 okufa okuva ku bantu 345,000 abaafa mu 1990. Obulwadde buno businga nnyo mu basajja era nga bukubisaamu emirundi esatu ku obwo obuli mu bakazi.