Lady Doves FC
Lady Doves FC kiraabu yabakyala ebazannya omupiira mu ggwanga Uganda. Kiraabu eno ezannyira mu kibinja ekyokuntiko ekiyitibwa FUFA Women Super League era nga eno esibuka mu kibuga Masindi mu bugwanjuba bwa Uganda. [1]
Ebyafaayo
[kyusa | edit source]Lady Doves FC erina enkolagana mu ngeri ey'omukago ne kiraabu ezannyira mu kibinja ekyokuntikko ki Uganda Premier League eya Kitara FC . Endagaano eyasaawo enkolagana wakati wa kiraabu zino yatekeebwako emikono abakungu okwali pulezidenti wa Kitara FC Deo Kasozi ne Nsingwire Godfrey, owa Lady Doves FC ku mukolo ogwali ku wooteri ya Golden Castle mu kibuga Hoima . [2] Oluvannyuma lw'endagano eno Lady Doves yafuuka kiraabu ey'abakyala eya Kitara FC okusobozesa Kitara okutuukiiriza ebisaanyizo bya CAF ekibiina ekitaba ebibiina by'omupiira ku lukalu lwa Afirika[3][4]
Lady Doves FC yakwata ekifo kyakusatu era bwetyo neewangula kavu wa mutwalo gwa doola za Amerika mulamba ($10000) n'omudaali ogw’ekikomo mu mpaka z'okusunsula kiraabu ez'okwetaba mu mpaka za kiraabu empanguzi ku lukalu lwa Afirika ezabakyala eziyitibwa CAF Women’s Champions League empaka zino zaayindira Kenya mu kibuga Nairobi .[5] [6] [7] [8]
Mu 2022, Lady Doves FC yakuba kiraabu ya She Corporates ggoolo 5:0 ku kisaawe kya Katusabe stadium mu kibuga Masindi bwetyo n'ekomekerezza olugendo lwa Corporates lweyaliko nga tekubwa [9]
Obuwanguzi
[kyusa | edit source]Omutendera | Empaka | Ekifo | Sizoni |
---|---|---|---|
CAF | CAF Women's Champions League | kifo kya kusatu | 2021 |
Ebiwandiiko ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/score/dove-fc-something-special-is-brewing-in-masindi-1745648
- ↑ https://kitarafc.co.ug/kitara-fc-and-lady-doves-fc-enter-partnership/
- ↑ https://sports.mtn.co.ug/2024/06/18/kitara-enters-a-partnership-with-lady-doves/
- ↑ https://nbssport.co.ug/2024/06/16/kitara-and-lady-doves-forge-strategic-partnership/
- ↑ https://www.cafonline.com/caf-womens-champions-league/news/caf-women-s-champions-league-cecafa-qualifiers-semis-set/
- ↑ https://www.fufa.co.ug/lady-doves-wins-10000-for-finishing-3rd-at-caf-women-champions-league/
- ↑ https://www.newvision.co.ug/category/ebyemizannyo/lady-doves-fc-yeesozze-semi-za-cecafa-e-kenya-BUK_106812
- ↑ https://kawowo.com/2021/08/31/lady-doves-ready-for-stern-test-against-simba-queens/
- ↑ https://www.fufa.co.ug/fufa-women-super-league-lady-doves-end-she-corporate-unbeaten-run-as-kampala-queens-earn-point-off-uganda-martyrs-to-go-joint-top/