Jump to content

Laeticia Kikonyogo

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Laetitia Eulalia Mary Mukasa Kikonyogo (2 Ogwomwenda 1940 – 23 Ogwekkuminogumu 2017), yali Munnayuganda munnamteeka era Mulamuzi. Nga tannaba kunyuka mirimu gye, yali mmemba mu Kkooti ya Uganda ejjulirwamu, era nga ekola nga Kkooti etaputa Ssemateeka. Ngali mu kifo ekyo, yaweereza nga omumyuka wa Ssabalamuzi wa Uganda. Elinnya lye ebiseera ebimu lisomebwa nga Leticia oba Letitia.[1]

Obufunze ku byeyakola

[kyusa | edit source]

Nga mumyuka wa Ssabalamuzi wa Uganda, Omulamuzi Kikonyogo yaweebwa ekifo kya 6 ng'omuntu asinga mu Uganda. Abantu omukaaga (6) abakukunavu mu Uganda mulimu:[2]

  1. Pulezidenti – aliko, Yoweri Museveni
  2. Eyali, Omumyuka wa PulezidentiEdward Ssekandi
  3. Eyali, Sipiika wa PaalamentiRebecca Kadaga
  4. Eyali,SsaabalamuziBart Magunda Katureebe
  5. Eyali, Omumyuka wa Sipiika mu PaalamentiJacob Oulanyah
  6. Eyali Omumyuka wa SsaabalamuziAlfonse Chigamoy Owiny-Dollo.[3]

Yalina ebifo ebyenjawulo n'obuvunanyizibwa mu Keleziya ne ttabi ly'abalamuzi. Ye mukyala eyasooka okukola ng'omulamuzi ng'akwasaganya emisango emitonotono mu 1971–1973; ye mukyala eyasooka okuweereza ng'omulamuzi wakati wa 1973 ne 1986; omukyala eyasooka okulondebwa ng'omulamuzi mu Kkooti enkulu mu 1986 era ng'atuula mu Kkooti ejulirwamu.[4]

Oluvanyuma yalondebwa era nga ye omukyala eyasooka ku bw'omumyuka Ssabalamuzi wa Uganda. Mu Keleziya, yalondebwa mu kifo kya Papal Dame nga yalondebwa Pope Benedict XVI. Yali omu ku bakyala abasooka okulondebwa ku bwa papal knights mu byafaayo bya Ekeleziya mu Africa.

Bwe yakomawo okuva m eBungereza ng'amaliriza emisomo gye, yasomesa okumala akabanga ku "Ttendekero lya Public Administration", nga yasookera ku Uganda Management Institute mu Kampala.[5]

Emisomo gye

[kyusa | edit source]

yasomera ku Busuubizi Girls’ Primary School, disitulikiti y'e Mityana, okuva mu 1948 okutuusa mu 1952. Oluvanyuma yakyusibwa n'atwalibwa ku Trinity College Nabbingo mu misomo gye egya O-Levo, okuva mu 1953 okutuusa mu 1958. Emisomo gye egya S.6 yagimalira ku King's College Budo, gye yasomera okuva mu 1959 ppaka 1960, era ebigezo bye eby'akamalirizo y'abiyita bulungi.

Mu 1964 yegatta ku Makerere Yunivasite, nga yatikirwa mu 1968 ne Diguli esooka eya Bachelor of Arts (BA). Mu kaseera ako, Makerere yali wansi wa University of London. Yeyongerayo mu Bungereza okusoma Diguli ey'okubiri mu nneyisa y'abantu. Oluvanyuma lw'omwaka gumu nga ali ku Somerville College, Oxford, yatikkirwa Dipuloma mu nneyisa y'abantu.

Yasomera ku Inner Temple, nga yatikkirwa Diguli esooka mu mateeka. Yeyongerayo n'emisomo gye ku Council of Legal Education era yayitibwa okwegata ku kibiina ky'abannamateeka mu Bungereza mu 1968.

Okufa kwe

[kyusa | edit source]

Omulamuzi Kikonyogo yafa nga 23 Ogwekkuminogumu 2017 nga yafa kikutuko mu kaseera bwe yali atwalibwa mu ddwaliro. Mu kaseera weyafiira, yalina emyaka 77 egy'obukulu. Joseph Kyagulanyi Kikonyongo, omwami w'omugenzi yagamba nti mukyala we yali talwalangako kirwadde nga entunnunsi. Okusinzira ku bba we, Omulamuzi Kikonyogo yali mulwadde okumala emyaka etaano emabega era abadde mu kwekennenyezebwa saako n'obujjanjabi obw'ekirwadde kya parkinsonism.[4]

Ebirala ebikulu

[kyusa | edit source]

Laeticia Kikonyogo ye mukyala eyasooka okuweereza ng'omulamuzi w'emisango emitono mu Uganda ku ddala lya Grade 1, okuva mu 1971 okutuusa 1973. Ye mukyala eyasooka okuweereza ng'omulamuzi omukulu wakati wa 1973 ne 1986. Yalondebwa okwegatta ku Kkooti enkulu mu 1986, era nga ye mukyala eyasooka okuweereza mu kifo ekyo. Oluvanyuma ng'amaze okulondebwa okwegatta ku Kkooti ya Uganda ejulirwamu era etaputa Ssemateeka, ye mukyala eyasooka okuweereza mu buyinza obwo. Era ye mukyala eyasooka okuweereza ng'omyuka wa Ssabalamuzi wa Uganda.[6]

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

[kyusa | edit source]