Jump to content

Lake Nakuwa Wetland System

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Lake Nakuwa Wetland System lutobazi olusangibwa mu Bukiikaddyobwobuvanjuba bw'ennyanja Kyoga system nga lutambula mu Disitulikiti nga Disitulikiti y'e Kamuli, Disitulikiti y'e Pallisa ne Disitulikiti y'e Soroti mu Buvanjuba bwa Uganda. Olutobazi luno lusangibwa Kilomita 25 (16 mi) okuva mu kibuga ky'e Pallisa.[1][2][3]luli ku bugazi bwa 911.5 km².[4]

Olutobazi luno luliko enyanja eziwerako n'ekitoogo ekiriko ebiwempe ebikozesebwa mu kuluka emikeeka saako n'ebyenyanja eby'enjawulo.[5] Olutobazi luno lukola kinene mu kutangira amataba saako n'okusengejja amazzi wamu n'okukuuma ettaka ng'alirina amazzi agamala.[6] era wakunganirawo n'ebinyonyi eby'enjawulo.[7]

Endagiriro n'ekula y'alwo[kyusa | edit source]

Olutobazi lwa Nakuwa lusangibwa mu Distulikiti omuli Kamuli (Kagulu, Nawaikoke, Bumanya, Gudumire, n'amagombololo ga Namwiwa), Pallisa (Gogonyo, Apopong, Buseta, n'eGgombolola y'e Pallisa), ne Soroti (Pingire n'amasaza ga Kateta) mu Buvanjuba bwa Uganda, mu Buvanjuba bwa Ssemazinga wa Africa. Lli ku bipimo bya latitude 01° 15′ ne longitude 33° 31′.[6] Lwetoloddwa ennyanja ez'enjawulo nga Budipa, Nawampasa, Murlu ne Nkodokodo.[8]

Emirimu egikolebwawo[kyusa | edit source]

Olutobazi lwa Nakuwa lumu kw'ezo ezivamu amazzi b'omugga Nile, luwagira eby'obuvubi eri abantu abawangalirawo, lutereka amazzi agetagibwa ettaka era kifo ky'abyabulambuzi.[9] Olutobazi luno era luliko ebitonde nga ebinyonyi naddala Shoebill Balaeniceps rex ne Papyrus Gonolek Laniarius mufumbiri.[10][11]

Enjawulo eluliko[kyusa | edit source]

Olutobazi lwa Nakuwa lukiko ekiddo ekyakiragala ekitengejera kungulu kw'alwo era na ekiddo kino kisangibwa ne ku mugga gwa white Nile. Ekiddo kino kilemesa engege okugyamu wabula nga kisobozesa eby'enyanja ebirala n'addala ebiwangalira mu lutobazi okusengamu lutobazi luno.[12][13]

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. https://www.africa-wilderness-safaris.com/uganda/lake-nakuwa/
  2. https://www.junglesafarisuganda.com/attractions/ramsar-sites-in-uganda.html
  3. http://www.africa-wilderness-safaris.com/uganda/lake-nakuwa/
  4. https://www.protectedplanet.net/902979?locale=en
  5. https://www.kagerasafaris.com/ramsar-sites-in-uganda/
  6. 6.0 6.1 https://rsis.ramsar.org/ris/1635
  7. https://www.ugandabirdguides.org/places/ramsar-sites/
  8. https://datazone.birdlife.org/site/factsheet/lake-nakuwa-iba-uganda
  9. http://www.africa-wilderness-safaris.com/uganda/lake-nakuwa/
  10. http://www.africa-wilderness-safaris.com/uganda/lake-nakuwa/
  11. https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
  12. https://www.volcanoesnationalparkrwanda.com/ramsar-sites-in-uganda-wetland-conservation/
  13. https://www.ugandabudgetsafaris.com/blog/ramsar-sites-in-uganda/