Jump to content

Leah Kalanguka

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Leah Kalanguka (yazaalibwa 1991) muzannyi wa mizannyo, Munnayuganda, modo era y'e muwangzi w'engule y'obwa Nnalulungi eya Miss Uganda 2014 era yakiikirira Eggwanga lye mu mpaka z'obwannalulungi ku mutendera gw'ensi yonna eya Miss World 2014.[1]

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | edit source]

Leah yazaalibwa mu Busembatya, mu Disitulikiti y'e Iganga, mu myaka gya 1991, mu famire y'abaana mukaaga nga bonna bawala. Taatawe, Kayondo Kalanguka iMinisita w'ebyensimbi, okuteekateeka n'enkulakulana y'eGgwanga (Uganda), ne maamawe Jane Bagaya Kalanguka, asomesa ssomo ly'abulimi ku Makerere College School.[2]

Yasomera ku Nakasero Primary School nga tannaba kwegata ku Trinity College Nabbingo mu misomo gye egya pulayimale ne Ssekendule. Mu 2012, yagenda ku Ssettendekero wa Makerere okusoma essomo lya Computer Engineering, nga yatikkirwa mu 2015.

Empaka z'obwannalulungi

[kyusa | edit source]

Nnalulungi wa Uganda 2014

[kyusa | edit source]

Nga 26 Ogwekumi 2014, Leah Kalanguka, ng'akiikirira Disitulikiti y'e Iganga, yawangula engule y'obwannalulungi wa Uganda 2014, ku mikolo egyategekebwa ku Speke Resort, e Munyonyo, nga yawangula abakontanyi 19.[3] Newankubadde yali akiikirira Disitulikiti y'omu Buvanjuba bwa Uganda, teyasobola kwetaba mu mpaka z'omu kitundu kyeal search. Yali agense Tooro, okuyambako mukusomesa abavubuka okusimba emboga, ekintu maamawe eyali ava mu sub-region kyeyamusomesa. Yasobola okuyinga mu mpaka ng'ayita mu mpaka ezategekebwa mu Kampala, nga empaka zino zaali nzigule eri abawala abato abatazaalangako nga bali wakati w'emyaka 18 ne 24.[2]

Empaka z'obwannalulungi w'ensi yonna (Miss World) 2014

[kyusa | edit source]

Leah yakiikirira Uganda mu mpaka za Miss World 2014 ez'ategekebwa mu London, United Kingdom, mu Gwekkuminebiri 2014.[4][5]

Obuvunanyizibwa obulala

[kyusa | edit source]

Mu 2015 Leah yalabikako ng'omugenyi mu Sipi the Movie eya Dayilekitingibwa Jayant Maru, ng'erimu Stephen Kiprotich ne Munnayuganda omuzannyi wa Filimu Patriq Nkakalukanyi.[6]

Mu 2016, yetaba mu mpaka ng'omukontanyi mu mpaka za World Next Top Model 2016.[7] Mu mpaka, yalondebwa nga Miss People's Choice okuva ku bakontanyi amakumi ana mu bana. Yalina obululu obusinga mu kulonda okwali ku mikutu emigata bantu.[8]

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

[kyusa | edit source]

Template:Miss World 2014 delegates  

  1. http://www.chimpreports.com/leah-kalanguka-edges-closer-to-miss-world-crown/
  2. 2.0 2.1 https://en.wikipedia.org/wiki/The_Observer_(Uganda)
  3. http://www.news18.com/news/india/former-poultry-farmer-leah-kalanguka-crowned-miss-uganda-2014-722415.html
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2024-04-21. Retrieved 2024-04-21.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1316152/miss-uganda-kalanguka-london-miss-world-contest
  6. http://bigeye.ug/film-maker-jayant-maru-brings-kiprotich-in-new-movie/
  7. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1424760/kalanguka-leads-world-model-race
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2017-02-01. Retrieved 2024-04-21.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)